settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kigera ki eky’omukwano kyetulina okweraga nga tetunafumbiriganwa? Biki abagalana byebatalina kukola nga tebanafumbiriganwa?

Okuddamu

Kigera ki eky’omukwano kyetulina okweraga nga tetunafumbiriganwa? Biki abagalana byebatalina kukola nga tebanafumbiriganwa?

Okuddamu:

Kigera ki eky’omukwano kyetulina okweraga nga tetunafumbiriganwa? Biki abagalana byebatalina kukola nga tebanafumbiriganwa?

Okuddamu: Abaefeeso 5:3 etugamba, “Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu.” Ekintu kyonna ekisonga “ekisonga” ku buseegu kikyamu eri Omukristaayo. Bayibuli tetuwa lukalala luli mu bintu ebitasaana oba ebintu byetusobola okukola ebitasaana nga tetunafumbiriganwa oba ebintu ebisaana oba ebikkirizibwa byetusobola okukola nga tetunafumbiriganwa. Wabula, newankubadde nga Bayibuli tetuwa bintu ebyo tekitegeeza nti Katonda akkiriza ebintu okwenyigira mu bikolwa by’omukwano nga tetunafumbiriganwa. Olw’omugaso gw’okwenonya(Okweweweeta, okwenywegera n’ebikolwa ebirala ebifaananako ng’ebyo), kulina kukolebwa nga abagalana beteekateeka okunyumya omukwano oba okwegata. Kitegeeza nti okwenoonya kulina kukolebwa bafumbo bokka. Ekintu kyonna ekikwatagana n’okwenoonya kilina kulekebwa okutuusa nga abantu bafumbiriganiddwa.

Bwewaba nga waliwo okubuusabuusa ku kikolwa kyoyagala okukola oba kituufu, kirungi okireke (Abaruumi 14:23). Buli kikolwa kyonna ekikwatagana n’okunyumya omukwano oba ekikola ekikolebwa nga abagalana bagenda okunyumya omukwano kirina okwewalibwa okutuusa nga abagalana bafumbiriganiddwa. Abagalana abatanafumbiriganwa balina okwewala ebikolwa byonna ebibakema okwegata, ebikolwa ebirabika nga eby’obukaba, oba ebirabika nga ebikolebwa abantu abagenda okwegatta mu mukwano. Abasumba bangi balabula abagalana obutagenda wala okusuka ku kukwatagana emikolo, okugwa mu kifuba, n’okunywegera okutono ennyo nga tebanafumbiriganwa. Ebintu abafumbo byebalina okukola wakati wabwe bokka ng’abafumbo gyebikoma okuba ebingi, enkolagana yabwe eva mu kunyumya omukwano gyekoma okuba ey’enjawulo era enungi.

English

Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kigera ki eky’omukwano kyetulina okweraga nga tetunafumbiriganwa? Biki abagalana byebatalina kukola nga tebanafumbiriganwa?
© Copyright Got Questions Ministries