settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ekkubo ly'obulokozi lyeliluwa?

Okuddamu


Oli muyala? Ssi Njala ya Mmere, naye olina enjala yekyo ekisiinga mu bulamu? Waliwo ekintu muggwe munda kyotakkuta? Bwekiba nga bwekityo bwekiri, Yesu lyekkubo! " Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono'(Yokaana 6:35).

Osobeddwa? Olemeddwa okufuna ekkubo oba omulamwa mu bulamu? Olabanga nga omuntu ajjeeko amatala nga swikyi(Soma switch) egazaako ekubuzze? Bwekiba bwekitwo, Yesu Ly'ekkubo, "Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu".

Owulira nga aggaliddwa wabweru w'obulamu? Ogezezaako enjijji nnyinji, naye nga buli lujji emabegga waalwo teri kiliyo era nga tebiteteggereka? Onoonya omulyaango ogukuyiingiza mu bulamu obujjudde? Bwekkiba kyekyo, Yesu lyekkubo.Yesu agaamba,"Nze mulyaango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro".

Abantu bakuyiwa? Enkolagana n'emikwaano olaba nga nkalu era temuli makulu? Olabanga buli muntu agezaako kukozessa olw'ebigendererwa bye? Bwekiba bwekityo, Yesu ly'ekkubo! Yesu yagamba nti," Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga..nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera,( Yokaana 10:11,14).

Webuuza kki ekituukawo ng'obulamu buno buwedde? Okooye okubeera mu bulamu n'ebintu ebivunda, era ebittalagga? Ebiseera ebimu obusabusa oba obulamu bulina amakulu ggona? Oyagala okusigala ngoli mulamu bwoffa? Bwekiba bwekityo, Yesu ;ly'ekkubo,"Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu."

Ekkubo lyeliluwa? Amazima gegaliwa? Obulamu bwebuliwa? Yesu yaddamu nti,"Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze."

Enjala gyowulira ya mwooyo, era esobola kukusibwa na Yesu. Yesu Yekka yasobola okujjawo ekizikizza. Yesu lwelugyi olukutwaala mu bulamu obw'okukkusibwa. Yesu ye Mukwaano era Omusumba gwobadde ononya. Yesu bwebulamu—mu nsi eno n'egya. Yesu, ly'ekkubo elyobulokozi.

Ensonga lwaki olina enjala, ensonga lwaki owulira ng'abuze mu kkizikiza, ensonga lwaki tosobodde kuffuna makulu mu bulamu, eri nti, oyawukannye nne Katonda wo. Bayibuli etugamba nti twononye, era twawukanye ne Katonda (Omubuliizi 7:20); (Abaruumi 3:23). Obukalu bwowulira mu mutima ggwo bwakuba Katonda tali mutima gwo. Twatondebwa okubeera n'enkolagana ne Katonda. Olw'ebibi byaffe twayawukanna n'enkolaggana eyo. Ekisiinga okuba ekibi ennyo, ekibi kyaffe kigya kutuletera okwawuukana ne Katonda emirembe gyona. Mu bulamu bunno, nno bujja.(Abaruumi 6:23; Yokaana 3:36).

Ekizibu kino kisobola kitya okuterezebwa? Yesu ly'ekkubo! Yesu yattika ebibi byaffe(2 Abakolinso 5:21). Yesu yaffa mu kiffo kyaffe. (Abaruumi 5:8), nasasulira ekibonerezo ekyaali kitugwaana. Ennaku sattu bwezaayiitawo, Yesu nazuukira okuva mu baffu, okulangirira obuwanguzi eri ekibi n'okuffa.(Abaruumi 6:4-5). Lwaki yakikola? Yesu yaddamu ekibuuzo ekyo yye yenyini. "Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwayo obulamu bwe olwa mikwano gye."(Yokaana 15:13). Yesu yaffa ffe tusobole okubeera abalamu. Bwetuteeka okukiriza mu Yesu, netukkiriza okuffa kwe ng'okwasasula okw'ebibi byaffe, ebibi byaffe bisonyiyibwa era nebitunaaziibwaako. Enjala eyomwoyo yona olwo nekusibwa. Amataala agaazikkira olwo negaddizibwako. Netulyooka tubeera n'obulamu obw'obuwanguzi obujjudde. Olwo netusobola nokumanya mukwano gwaffe owamazima era omusumba omulungi. Awo tusobola okumanya nobukakaffu nnti tulina obulamu bwetunaaffa—obulamu obw'okuzuukira mu Ggulu emirembe gyonna ne Yesu!

"Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwayo n'awayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo" (Yokaana 3:16).

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ekkubo ly'obulokozi lyeliluwa?
© Copyright Got Questions Ministries