settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala ebintu nga zi eriyeni oba ebintu ebitategerekeka ebitambulira mu banga gyebiri?

Okuddamu


Okusooka katunyonyole kki ekigambo okuba nga “ebiramu ebisobola okutegeera, era okusalawo nga bikozesa amagezi, endowoowoza n’okwagala” Ekiddako, katulabe ku Sayanzi kyagamba:

1. Abantu basindise ebyombo ku zi nnabisaaniiko mu nkulungo yaffe. Nga tumaze okwekeenenya nnabisaaniiko zonna, tulabye ng’enkulungo ya Musoke (Mars), Omwezi n’ enkulungo ya Kibuuka Omumbaale by’ebisobola okuwanirira obulamu.

2. Mu mwaka 1976, Amerika yasindika ebyuma bibiri mu nkulungo ya Musoke. Byombi byalina ebyuma ebisobola okusima musenyu gw’enkulungo eyo okulaba oba kuliko akabonero konna ak’obulamu. Tebyasangayo kabonero konna. Okwawukanako, bwewetegereza etaka okuva mu bifo ebisinga okuba eby’eddungu ku nsi oba ebifo ebijjudde omuzira mu mbambuka g’ensi, osanga wajjude ebiramu oba obuwuka obulamu. Mu mwaka 1997, Amerika yasindika ekamotoka ekyitibwa Munonya Kubo (Soma Pathfinder) nku nkulungo ya Musoke. Ekamotoka kano, katwala sampo mpitirivu era kakola okugezesa okuwerako. Tekasanga bubonero bwonna bulaga bulamu. Okuva ku kaseera ako, misoni eziwerako zikoleddwa ku nkulungo eno(Mars) wabula nga tewali bubonero bwonna bulaga nti wasobola okubaayo obulamu.

3. Abagenda mu bwengula bangera okuzuula nnabisaaniiko(Soma planets) mu nkulungo zetoloola (soma solar sysyem) endala. Abantu abamu bagamba ntu olw’okuba nti waliwo nabisaaniiko endala nyingi zizuuliddwa, kitegeeza nti walina okuba nga waliwo enkulungo endala okuli obulamu. Ensonga Eeri nti ku zino ezuuliddwa tekuli esangibwa na bubonero bulaga bulamu. Olw’okuba nti zi nabisaaniko zino ziri wala n’ensi kiretera okusalawo oba zirina obulamu oba nedda okuba ensonga etasoboka kutegeerebwa. Olw’okuba nti ensi yaffe yeyokka esobola okuwanirira obulamu kiretera abanonyereza okwagala okuzuula nabisaaniko endala esobola osobola okuwanirira obulamu. Mu nkulungo zetoloola (solar system) eno mwetuli.Waliwo nabisaaniiko endala nyingi wabula tetumanyi oba zisobola okuwanirira obulamu oba nedda.

Olw’ensong’eyo, Bayobuli agambaki? Ensi n’omuntu bitonde kya Katonda eby’enjawulo. Oluberyeberye esomesa nti Katonda yasooka kutonda nsi nga tanatonda njuba, mwezi oba munyenye. Ebikolwa 17:24, 26 egamba nti, “Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono, akola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:”

Mu ntandiikwa, omuntu yali talina kibi, era buli kimu ku nsi kyali “kirungi nnyo” (Oluberyebrye 1:31). Omuntu eyasaooka bweyayonoona (Oluberyeberye 3), ebyaddirira byali bizibu mu ngeri zonna, nga kwekuli endwadde, n’okufa. Newankubadde nga ensolo tezalina kibi kulwaazo, mumaaso ga Katonda, (tezimanyi kirungi na kibi), nazo ziboonaboona nezifa. (Abaruumi 8:19-22). Yesu yafa okujawo ekibonerezo ky’ekibi kyetwali tugwaana. Bwalidda, alikyusa ekikolimo ekibaddewo okuva ku Adamu (Okubikkulirwa 21-22). Manya nti Abaruumi 8:19-22 egamba nti ebitonde byonna birindiridde akaseera kano. Kikulu okumanya nti Kristu yajja okufiirira abantu bonna era nti yafa omulundi gumu. (Abaebulaniya 7:27; 9:26-28; 10:10).

Bwekiba nga ebintonde byonna bibonaaboona kakano olw’ekikolimo, buli bulamu bwonna wamu n’obutali ku nsi eno kwetuli bulina okubonaabona. Olw’okuwza ensonga eno, singa ku zi nabisaasiro zino kutandika okubako engeri ey’okwawula ekirungi n’ekibi, kitegeeza nti nazo ziba zirina okubonaabona, era bwekiba nga tezibonyebonye leero, zija kubonaabona ebintu byonna bwebonagwaawo olw’okubwatuka okunnene n’okusanuuka okuva mu muliro okuzikira. (2 Petero 3:10).Bweziba nga tezoonona nga. Awo Katonda aba ssi mwenkanya kuzibonyabonya. Wabula singa ziba nga zayonoona, Kristu aba yafa omulundi gumu (gweyafiira ku nsi), era kiba kitegeeza nti zigenda kulekebwa mu bibi byazo, ekintu ekikontana n’embala ya Katonda (2 Petero 3:9). Kino mu kakunizo— okujako nga waliwo enkola y’okwawula ekirungi ku kibi wabweru w’ensi eno gyetulimu.

Ate obulamu obutalimu kwawula kirungi ku kitali kirungi ku nabusaaniiko zino? Ddala kisobola okuba nti enkonge, oba embwa, oba kappa zeziri ku zi nabusaale zino. Osanga kisoboka wabula kino tekireeta buzibu bwonna ku byawandiikibwa. Wabula kiba kigenda kuba n’obuzobu okuddamu ebibuuzo nga “Olw’okuba nti ebitonde byonna biboonabona, Katonda olwo aba alina kigendererwa kki kutonda bintu bitayawula kirungi ku kibi era nabiteeka ku nabusaaniko ezo?”

Mu kumaliriza, Bayibuli tetuwa nsonga kukkiriza nti waliwo obulamu bwonna ewantu wonna. Bayibuli etuwa ensonga eziwerako lwaki kino tekisobola kubaawo. Yye, waliwo ebintu bingi ebitasobola kunyonyonyerebwa ebituusewo, Tewali nsonga yonna omuntu gyasobola kwesigamako kulaga nti waliyo zi eriyeni oba ebintu ebitategereka mu bwengula. Bwewaba nga tewali nsonga ewagira bino bituukawo ebitamanyikiddwa, kitegeza nti osanga ebintu bya mwoyo, oba biretebwa zi dayimoni nga gyebiva.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala ebintu nga zi eriyeni oba ebintu ebitategerekeka ebitambulira mu banga gyebiri?
© Copyright Got Questions Ministries