settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ntegeera ntya omusomesa ow’obulimba oba nnabi ow’obulimba?

Okuddamu


Yesu yatulabula nti “ bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba” begenda kugya era bagenda kugezaako okulimbalimba naabo abalonde a Mukama (Matayo 24:23-27); laba 2 Petero 3:3 ne Yudda 17-18). Engeri esinga gyosobola okukozesa okuwangla bannabbi ob’obulimba n’abasomesa ab’obulimba kwekumanya amazima. Okwawula ekicupuli, olina kwetegereza kituufu. Omukkiriza yenna “ayisa wakati ekigambo eky'amazima.” (2 Timmossewo 2:15) era eyekkenenya ebyawandiikibwa asobola okutegeera ensomesa etali ntuufu. Okugeza, omukkiriza asomye ku mirimu gya Taata, Omwana, n’Omwoyo Mutukuvu mu Matayo 3:16-17 awakanyizaawo ensomesa yonna ewakanya Obusatu bwa Katonda (Trinity). N’olw’ekyo, edaala erisooka kwekusoma Bayibuli era okukebera ensomesa yonna ngokozesa ebwandiikibwa kyebigamba.

Yesu yagamba, omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. (Matayo 12:33). Bwoba ononya ebibala, bibino ebintu ebisatu byolina okukebera eri oyo yenna asomesa okulaba obutuufu bw’ebyo byasomesa.

1) Omusomesa ayoera kki ku Yesu? Mu Matayo 16:15-16, Yesu abuuza, “Naye mmwe mumpita mutya? Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu. Okuddamu Petero kweyaddamu, Yesu agamba Petero nti “ oli wamukisa.” Mu 2 Yokaana 9, tusoma, “Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana.” Kitegeeza nti Yesu Kristu n’omulimu gwe ogw’okulokola mukulu nnyo; wekuume omuntu yenna agaana nti Yesu yenkana ne Katonda, omuntu anafuya saddaka ya Yesu, oba awakana nti Yesu yajja mu mubiri. Okusooka, Yokaana 2:22 egamba, “Omulimba ye ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.”

2) Omusomesa ono abuliira enjiri? Enjiri emanyiddwa nga amawulire amalungi ag’okufa, okuzikibwa, n’okuzuukira kwa Yesu okusinziira ku byawandiikibwa (1 Abakkolinso 15:1-4). Newankubadde nga ebigambo, “Yesu akwagala”, “Katonda ayagala okuliisa abayala”, “Katonda ayagala okuggaggawaza”, eyo ssi ye njiri. Nga Pawulo bwelabula mu Baggalatiya 1:7, “si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo.” Tewali muntu yenna wadde abuliira alina lukusa kukyusa bubaka Katonda bweyatuwa. “Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga.”(Abaggaliya 1:9).

3) Omusomesa alaga embala egulumiza Katonda? Mu kwogera ku basomesa ab’obulimba, Yudda 11 agamba, “Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babulira mu kuwakana kwa Koola.” Kitegeza nti, omusomesa omukyamu alabibwa olw’amalage (Kayini yagaana enteekateeka ya Katonda), amululu (Balamu alagulira olw’sente), n’okujeema kwa Koola (Koola yeyimusa okusukkuluma Mussa). Yesu agamba nti twewale abantu abalinga abo era nti tuja kubategeerera ku bibala byabwe. (Matayo 7:15-20).

Olw’okweyongerayo okusoma, soma wetegereze naddala ebitabo ebyawandiikibwa okulwanyisa ba nnabbi n’abasomesa ab’obulimba mu Kanisa: Abaggalatiya, 2 Petero, 1 Yokaana, 2 Yokaana 2, ne Yudda. Ebiseera ebisinga kiba kizimu kutegeera bannabi n’abasomesa ab’obulimba. Sitaani yeraga nga Malayika w’omusana (2 Abakkolinso 11:14), era n’abaweereza be beraga nga abaweereza ab’obutukirivu (2 Abakkolinso 11:15). Ngatutegedde amazima, wetunasobola okutegeera obulimba.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ntegeera ntya omusomesa ow’obulimba oba nnabi ow’obulimba?
© Copyright Got Questions Ministries