settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala omulokole asobola okukwatibwa emizimu? Kisoboka omukkiriza okuzula

Okuddamu


Newankubadde nga Bayibuli telina welaga oba omukristaayo asobola okujjula emizimu, ebyawandiikibwa ebikwatagana ku nsoga eno bilaga mu bujuvu nti omukristaayo tasobola kukwatibwa oba kutulibwamu dayimooni.Waliwo enjawulo wakati w’okutulibwamu oba okwatibwa dayimooni n’okutawanyizibwa oba dayimooni okuletera omuntu okukola ekintu. Okutulibwamu dayimooni kitegeeza dayimooni okuba ng’efuga butereevu ebirowoozo n’ebikolwa by’omuntu (Matayo 17:14-18; Lukka 4:33-35; 8:27-33). Okutawanyizibwa dayimooni kilimu dayimooni okulumba omuntu mu mwoyo nezimuletera okukola ebikolwa eby’ekibi. Bwe wetegereza, mu Ndagaano empya, ebyawandiikibwa ebyogera ku lutalo lw’omwoyo, tewali bilagiro byonna byakugoba dayimooni okuva mu bakkiriza. (Abaefeeso 6:10-18). Abakkiriza balagirwa okuziyizenga sitaani (Yakobo 4:7; 1 Peteero 5:8-9), si kumugoba.

Abakristaayo bajuzibwa Omwoyo Mutukuvu (Abaruumi 8:9-11; 1 Abakkolinso 3:16; 6:19). Amazima gali nti Omwoyo Mutukuvu tasobola kukkiriza kutuula mu muntu yomu mwatudde. Tekilowoozeka Katonda omu ku baana be, gweyagula n’omusaayi gwa Kristu (1 Peteero 1:18-19) era namufuula ekitonde ekigya (2 Abakkolinso 5:17), okutuulibwamu era okukozesebwa dayimooni. Kituufu, ng’abakkiriza, tulwana ne sitaani ne dayimooni ze, wabula tetulwana nazo nga zitudde muffe. Omutume Pawulo agamba , “Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi.” (1 Yokaana 4;4). Ani ali muffe? Omwoyo Mutukuvu. Ani ali munsi? Sitaani ne dayimooni ze. N’olwekyo, omukkiriza awangudde ensi ya zi dayimooni era dayimooni tezilina wezisangibwa mu Bayibuli nga zitudde mu mukkiriza.

N’obujulizi obwamanyi okuva mu Bayibuli obulaga nti omukkiriza tasobola kutulibwako zi dayimooni, Abasomesa ba Bayibuli balina endowooza era nti Dayimooni zisobola okufuga omukristaayo. Abamu bagamba nti newankubadde ng’omukristaayo tasobola kutulibwako dayimooni, dayimooni zisobola okumufugira ddala.

Okukyusa ebigambo tekikyussa mazima nti dayimoon tesobola kutuula era okufugira ddala mukristaayo. Okukozesebwa dayimooni oba dayimooni okuleterera omukritaayo kulabwa mu Bakristaayo, era tewali kubusabusa mu nsonga eyo. Wabula tekili mu bayibuli okugamba nti omukristaayo asobola okutuulibwamu dayimooni okufugibwa ddala dayimooni.

Okulowooza okusinga okuli ku ndowooza enga nti omukkiriza asobola okujuzibwa dayimooni kuva ku kulaba omuntu amanyiddwa “okuba omukristaayo” ng’afugibwa dayimooni. Kikulu wabula nnyo wabula obutakkiriza ebyo byetuyitamu oba byetulaba kuvuunula bayibuli ku lwaffe. (2 Timoseewo 3:16-17). Wabula tulina okusengejja ebyo byetuyitamu okuyita mu byawandiikibwa. Okulaba omuntu gwetusuubira okuba omukristaayo ng’alaga obubonero bw’okukozesebwa emizimu kilina okutuletera ebibuuzo ku kukkiriza kwe oba nga kutuufu. Tekilina kukyusa ntegera yaffe ku nsonga y’omukristaayo okutulibwamu dayimooni oba okufugibwa ddala dayimooni. Osanga omuntu oyo Mukristaayo wabula nga atawanyizibwa dayimooni oba nga alina ekizibu ku mutwe. Ebyo byetuyitamu tulina okubikebera nga tukozesa ebyawandikibwa wabula si kubera byawandiikibwa nga okusinzira ku ebyo byetuyitamu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala omulokole asobola okukwatibwa emizimu? Kisoboka omukkiriza okuzula
© Copyright Got Questions Ministries