settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala tulimu ebitundu bisatu? Tulina omubiri, emeeme, n’omwoyo oba omubiri, emeeme-omwoyo? Ebitundu bibiri oba bisatu?

Okuddamu


Oluberyeberye 1:26-27 eraga nti Katonda yatonda omuntu nga wanjawulo ku bitonde ebirala. Ebyawandiikibwa bisomesa bulungi nti kyali kigenderere omuntu okuba n’enkolagana wamu ne Katonda era y’ensonga lwaki Katonda yatonda omuntu ng’alina ekitundu eky’omubiri(ekilabibwako), n’ekitalabibwako (eky’omwoyo). (Omubuulizi 12:7, Matayo 10:28, 1 Abakkolinso 5:5, 2 Abakkolinso 4:16; 7:1, Yakobo 2:26). Ekitundu ky’omuntu kirabibwako era ekikwatibwako tekibererea mirembe gyonna kubanga kiggwaawo: era gwe mubiri. Ekitundu ekitalabibwako era tekikwatibwako: emeeme, omwoyo, okutegeera, okwagala, endowooza, ebisaasaazi, bebirala. Bino bisigalawo ng’omubiri gufudde.

Abantu bonna balina enkula, ekitundu, oba kubo eekikwatibwako (ekilabibwako), n’ekitakwatibwako (eky’omwoyo). Buli muntu alina omubiri. Wabula, ekitundu ekitakwatibwako, ekitalabibwa eky’omuntu kikubaganyizibwako ebirowoozo. Ebwawndiikibwa byogera kki ku nsonga eno? Oluberyeberye 2:7 egamba nti omuntu yatondebwa “ng’omukka omulamu.” Okubala 16:22 eyita Katonda okuba “Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri” Engero 4:23, etugamba, “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu.” Abaruumi 12:2 eyogera ku manyi agakyusa agava mu ndowooza ediziddwa obuggya. Ebywandiikibwa bino nebirala bingi byogera ku bintu bingi ebikwata ku kitundu eky’omwoyo eky’omuntu. Tulina ekitundu ekikwatibwako era n’ekitakwatibwako era byonna bw’obigatta, byebikola omuntu.

Emeeme, omwoyo, ebisasaazi, endowooza, okwagala(will), ebilowoozo, bikwatagana era bikolera wamu. Osanga emeeme-omwoyo birimu ebintu ebyo byonna ebitakwatibwako eby’omuntu. Bwetuba bakugenda n’endowooza eno, omuntu aba alina ebitundu bibiri oba bisatu? Mu bigambo ebirala, ddala ebitundu bibiri (Omubiri-Omwoyo-Emeeme) oba tulina bisatu (Omubiri, Emeeme, Omwoyo)? Tekisoboka kukwala ndowooza yonna kwezo zombi. Abasomi era abasomesa ba Bayibuli bawukanye ku nsonga eno okumala ebyasa n’ebyasa era tewabangawo kusalawo nsonga kki ntuufu ku zombi.

Abo abalowooza nti ebywandiikibwa bisomesa nti omuntu alina ebitundu bibiri balowooza nti omuntu alina ebitundu bibiri: omubiri, n’omwoyo. Ensomesa esooka egamba nti omuntu agatiddwa wamu mu mwoyo n’omubiri era byombi awamu birina emeeme. Emeeme y’omuntu gwe mwoyo n’omubiri ebigattiddwa awamu okukola omubiri. Endowooza eno ewagirwa Oluberyerye 2:7; Okubala 9:13; Zabbuli 16:10; 97:10; ne Yona 4:8. Endowooza eno egamba ekigamba ky’olwebbulaniya nephesh (soma nefeesi) mu byawandiikibwa bino kitegeeza emeeme, omuntu omulamu ebigattidwa awamu. Era nga mu byo, mulimu omubiri, n’omwoyo. Kirina okutegerebwa nti Bayibuli eyogera ku ruachi (“omukka, empewo, oba omwoyo”) okwawulibwa ku Mubiri, omuntu aba ayawuliddwa(amenyeddwa mu) — afudde (Soma Omubuulizi 12:7; Zabbuli 104:29; 146:4).

Endowooza ey’okubiri ku nsonga y’omuntu okuba nga alina ebintu bibiri egamba nti omubiri n’emeeme byebimu nga birina amanya agenjawulo.Endowooza eno egamba nti omwoyo n’emeeme bikozesebwa wamu (Lukka 1:46-47; Isaaya 26:9; Matayo 6:25; 10:28, 1 Abakkolinso 5:3, 5 era birina okutegeerebwa ng’ebifaanagana era ebiraga ekitundu eky’omwoyo omuntu kyalina. N’olwekyo, ensonga egamba nti omuntu agattiddwa mu ebitundu bibiri. Omuntu mwoyo na mubiri ekikola ebikola emeeme oba omubiri, emeeme-omwoyo wamu.

Abo abakkiriza nti ebyawandiikibwa bisomesa nti akolebwa ebitundu bisatu balaba omuntu okuba nga alina ebitundu ebyenjawulo bisatu. Omubiri, emeeme n’omwoyo. Bayimirira ku 1 Abassesasonika 5:23 n’Abaebbulaniya 4:12, ebirabika okuba nga biraga enjawulo wakati w’omwoyo n’omubiri. Abalowooza nti omuntu akolebwa ebitundu bibiri bawakanya endowooza eno nga bagamba nti, 1 Abassesalonnika 5:23 bwebwa esomesa nti omuntu akolebwa ebitundu bisatu, mu nzivuunula yeemu, Makko 12:30 nayo eba esomesa nti omuntu akolebwa ebitundu bisatu?

Ddala kikulu nnyo okutuuka ku kusalawo wakati w’ensomesa esooka(egamba nti omuntu akolebwa ebitundu bibiri) n’ensomesa eyokubiri egamba nti omuntu akolebwa ebitundu bisatu? Osanga ssi kikulu: wabula etulina okuba n’obwegendereza. Kubanga endowooza agamba nti omuntu akolebwa ebitundu bisatu ewakanya obumu bw’obuntu (omubiri, Omwoyo, emeeme), abasomesa abamu basomesa mu bukyamu nti Katonda ayogera mu ngeri eyenjawulo eri emyoyo gyaffe nayita ku ndowooza zaffe. Akanisa ezimu nga zikozesa ensomesa yeemu zisinziira ku nsomesa yemu okusomesa nti Omukkiriza asobola okutulibwamu emizimu. Kino kiva ku nsonga nti balaba emeeme,n’omwoyo okuba ebitundu bibiri eby’omukristaayo. Era basomesa nti ekitundu ekimu kisosobola okujuzibwa omwoyo mutukuvu ekirala nekibamu emizimu oba emyoyo emibi.

Ensomesa eno erina ekizibu kubanga terina musingi gwonna gwa Bayibuli gulaga nti abalina Omwoyo mutukuvu basobola okuba n’emizimu oba zidayimooni.

Oba tukolebwa ebitundu bibiri oba bisatu, ekisinga okuba ekikulu kiri nti fenna wamu; abakkiriza nti omuntu okolebwa ebitundu bisatu oba bibiri, tusobola okusinza Katonda wamu n’omusinza wa Zabbuli; “Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.” (Zabbuli 139:14).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala tulimu ebitundu bisatu? Tulina omubiri, emeeme, n’omwoyo oba omubiri, emeeme-omwoyo? Ebitundu bibiri oba bisatu?
© Copyright Got Questions Ministries