settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku lutalo lw’omwoyo? Nyinza

Okuddamu


Waliwo ensobi bbiri ezikolebwa mu lutalo lw’omwoyo — olukungiriza n’okulunyooma. Abamu batwala buli kibi, buli butategeragana, buli kizibu okuba dayimooni erina okugobebwa. Abalala bebalamiraddala eby’omwoyo namazima agali nti Bayibuli etugamba nti olutalo lwaffe lwa mwoyo. Ekisumuluzo eri okuwangula olutalo lw’omwoyo luli mu kutegeera kki Bayibuli kyegamba. Yesu ebiseera ebimu yagoba dayimooni okuva mu bantu, ebiseera ebirala yawonya abantu nga tayogedde ku dayimooni. Omutume Pawulo elagira ekanisa okulwanagana n’ekibi (Abaruumi 6) era atulabula okuwakana n’enkwe zonna eza sitaani (Abaefeeso 6:10-18).

Abaefeeso 6:10-12 egamba, “ Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge. Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.” Ekyawandiikibwa kino kisomesa amazima amakulu: tuba bamanyi nga tuyimiridde mu manyi ga Kristu, byakulwanyisa bya Katonda byokka byetukuuma, era olutalo lwaffe luli ku abafuzi ab’omukizikiza abafugira ku nsi n’ebifo ebyawagulu.

Abaefeeso 6:13-18 enyonyola ebyokulwanyisa eby’omwoyo Katonda bywatuwa. Tulina okuyimirira ngatunywedde natwesibye mu kiwati kyaffe amazima, eky'omu kifuba obutuukirivu, okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe, engabo ey'okukkiriza, sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, er n’okusaba mu Mwoyo. Bino ebyokulwanyisa bitegeeze kki mu lutalo lw’Omwoyo? Tulina okumanya amazima, okukkiriza amazima, era tulina okwogera amazima. Tulina okuwumulira mu mazima nti twalangirirwa okuba abatukirivu olwasaddaka Ya Kristu gyeyawa ku lwaffe. Tulina okubuulira enjiri newankubadde nga tusisinkana okulemesebwa okungi. Tetulina kukyama mu kukkiriza, era tulina okwesiga ebisuibizo bya Katonda nemubulumbaganyi obungi. Obukuumi bwaffe buli mu suubi eriri mu bulokozi bwaffe, esuubi eritasobola kutwalibwa kintu manyi gonna agekizikiza. Ekyokulwanyiza kyaffe kiri mu Kigambo kya Katonda si birowoozo byaffe oba ngeri gyetuwulira. Era tulina okusabira mu era mu kwagala kw’Omwoyo Mutukuvu.

Yesu kyeky’okulabirako kyaffe ekisembayo eky’okuwangula okukemebwa mu lutalo lw’Omwoyo. Tunuulira engeri Yesu gyeyakwatamu obulumbaganyi bwa sitaani bweyali mu ddungu (Matayo 4:1-11). Buli kukemebwa kwalanyisibwa na bigambo “kyawandiikibwa” Ekigambo kya Katonda omulamu kyekyokulwanyisa ekikyasinze okuba ekyamanyi eri okukemebwa kwa sitaani. “Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go.” (Zabbuli 119:11).

Ekigambo eky’okulabula ekikwata ku lutalo lw’Omwoyo kiri nti: Erina lya Yesu si manyi agalinga ag’obufuusa agaletera dayimooni okutuduka. Abaana ba Sikeeva kyakulabirako ekiraga kki ekituukawo singa abantu balowooza nti balina obuyinza kyoka nga tebubaweereddwa (Ebikolwa 19:13-16). Ne Mikayiri malayika omukulu teyaboggolera sitaani mu manyi ge wabula yagamba, “… naye yagamba nti Mukama akunenye.” (Yuda 1:9).Bwetutandiika okwogera ne sitaani, tugwa mu katyabaga akokukyamizibwa nga Kaawa keyagwamu (Oluberyeberye 3: 1-7). Esira lyaffe lirina kuba ku Katonda, si dayimooni; twogera na Katonda, ssi dayimooni.

Mu kuwumbawumba, ebisumuluzo ku kuwangula olutalo lw’Omwoyo byebiruwa? Tulina okwesigama ku manyi ga Katonda ssi agaffe. Tulina okwamba ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda. Tesigama ku manyi ag’ebyawandiikibwa— Ekigambo kya Katonda ky’ekitala ky’Omwoyo. Tulina okusaba nga tunyiikira era mu butukuvu, nga tusaba eri Katonda. Tulina okuyimirira nga tunywedde (Abaefeeso 6:13-14); tulina okukakanira Katonda; tulina okuwakanya emirimu gya Katonda (Yakobo 4:7), nga tumanyi nti Mukama w’amajje yemukuumi waffe. “Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nnyo.” (Zabbuli 62:2).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku lutalo lw’omwoyo? Nyinza
© Copyright Got Questions Ministries