settings icon
share icon
Ekibuuzo

Netegekera ntya obufumbo?

Okuddamu


Netegekera ntya obufumbo?

Okuddamu:

Netegekera ntya obufumbo?

Okwetegekera obufumbo mu ngeri entuufu eya Bayibuli kyekimu n’okwetegekera obulamu mu ngeri endala yonna. Waliwo enkola erina okufuga buli nsonga yonna ey’obulamu bwaffe nga Abalokole: “Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.” (Matayo 22:37). Kino si kiragiro kya kusaaga. Ky’ekinyusi ky’obulamu bwaffe nga Abakkriiza. Kwekusalawo okuteeka essira ku Katonda era ku kigambo kya Katonda n’omutima gwaffe gwonna okusobozesa omwoyo gwaffe n’ebirowoozo bwaffe okujjula ebintu ebimusanyusa.

Enkolagana gyetulina ne Katonda okuyita mu Kristu yeteeka enkolagana endala zonna mu bifo byazo. Enkolagana ey’obufumbo esinziira ku kifaananyi kya Kristu n’ekanisaye (Abaefeeso 5:22-23). Buli kitundu mu bulamu bwaffe kifugibwa okusalawo kwaffe nga Abakkiriza okutambula okusinziira ku biragiro n’amateeka ga Katonda. Okugonda kwaffe eri Katonda n’eri ekigambo kye kituwa amanyi okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaffe mu bufumbo n’emunsi obwatuweebwa Katonda. Era obuvunanyizibwa bwa buli mukkiriza kwekuwa Katonda ekitiibwa mu bintu byonna. (1 Abakkolinso 10:31).

Okusobola okwetegekera obufumbo, okatambula nga osaniide okuyitibwa kwo mu Kristu Yesu, era okuba n’omukwano ne Katonda okuyita mu Kigambo kye (2 Timoseewo 3:16), teeka essira ku kugondera Katonda mu buli kintu. Tewai nteekateeka nyangu esobozesa omuntu okutambulira mu kugendera Katonda. Kusalawo kwetulina okukola buli lunaku okuteeka ebbali entegeera ez’ensi netugoberera Katonda. Okutambula nga tusaanidde Kristu kwe kwewaayo mu bwetowaze eri Ekubo lyokka, eri Amazima gokka, eri Obulamu bwokka nga ye Kristu buli lunaku olukya, era buli kaseera. Okwo kwe kwetegeka buli Mukkiriza kwalina okuba nakwo nga yetegekera ekirabo ekinene eky’obufumbo.

Omuntu omukulu mu mwoyo era nga atambula wamu ne Katonda aba alina enkolagana ennungi ne Katonda. Nga wetegekera obufumbo, teeka essira ku kukkiriza Katonda okukolamu omuntu gwayagala obeere (Abaruumi 12:1-2). Bwewewaayo gyali, egenda kukuyamba okweteekatekera obufumbo lunaku olwo bwelunatuuka.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Netegekera ntya obufumbo?
© Copyright Got Questions Ministries