settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kibi okwematizaokusinzira ku Bayibuli?

Okuddamu


Bayibuli teyogera ku kwematiza oba okugamba nti kibi oba nedda. Ekyawandiikibwa ekisinga okwesigamwako ensonga y'okwematiza lwe lugero lwa Onani mu Oluberyeberye 38:9-10. Abamu bavuunula ekyawandiikibwa kino nti "okuyiwa amazzi agazaala wansi" kibi. Wabula kino ekyawandiikibwa si kyekigamba. Katonda tanenya Onani kuyiwa mazzi agazaala wansi, naye amunenya lwakuba Onani yali mujeemu. Onani yagaana okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe obw'okuba omusika wa muganda we eyali affude. Olugero terukwata ku kwematiza wabula okutukiriza obuvunanyizibwa obwamuweebwa famile.

Ekyawandiikibwa eky’okubiri ekikozesebwa ng'obujulizi obulaga nti okwematiza kibi ye Matayo 5:27-30. Yesu atugaana okuba n'ebirowoozo eby'obwenzi era agamba "Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule" Newankubadde nga waliwo akakwate wakati w'ebirowoozo eby'obwenzi n'okwematiza, Yesu yali tayogera ku kibi ky'okwematiza mu kyawandiikibwa kino.

Tewali Bayibuli weyogera nti okwematiza kibi, wabula kimanyiddwa nti ebintu ebiletera omuntu okwematiza byona kuba kwonoona. Okwematiza ebiseera ebisinga kuva mu birowoozo bikyamu eby'obwenzi, okwekwatirira, era/oba okulaba ebintu eby'obuseegu. Bino ebizibu byebilina okukolebwako. Ebibi omuli okwaaka, ebirowoozo ebikyamu, n'okulaba ebintu eby’obuseegu bwebilekebwa, okwematiza kuba tekukyaali kizibu n'okukemebwa.

Abantu bangi batawaana n'okuwulira omusango oguva mu kwematiza, kyoka nga mu mazima bandibadde beenenya ebibi ebibaletera okwematiza.

Ekyo nga kyogeddwa, okwematiza kibi ku lwakyo? Newankubadde Bayibuli teddamu kibuuzo kino buterevu, waliwo enkola eza Bayibuli ezitusobozesa okutunuurira ensonga eno.

1. "Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda." (1 Abakolinso 10:31). Ekintu bwekiba nga tekiwa Katonda kitiibwa, tetulina kukikola.

2. "...Na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi."(Abaruumi 14:23) Bwetuba nga tetukakasa nti kyetwagala okukola tekiwa Katonda kitiibwa, kiba kibi

3. "Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? Nammwe temuli ku bwammwe; kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe."( 1 Abakolinso 6:19-20). Emibiri gyaffe gyanunulibwa era gya Katonda. Amazima gano amakulu galina okuba n'enkizo kwebyo byetukola n'emibiri gyaffe. Bwetutunulira ensonga zino, abamu bamaliriza bagambye nti okwematiza kibi. Okwematiza kuliko ebibuuzo, okusinga—oba kuyinza okuwa Katonda ekitibwa; oba kusobola okukolebwa n'obukakafu obw'enkomeredde nti kituufu, era nti kusobola okuwa Katonda nanyini mibiri gyaffe ekitiibwa.

Bwekuba nga kukoleddwa awatali kwaaka, oba birowoozo bikyamu, oba bintu bya buseegu, ng'omuntu amatidde nti kyakola kituufu era kirungi, nga yebaaza Katonda olw'esanyu lyekuleeta (laba 1 Abakolinso 10:30), era kuba kubi? Kyetusobola okugamba kiri nti kuyinza obutaba kwonoona oba kubi. Wabula tubusabusa oba nga ekyo wagulu kisoboka okubaawo oba nga gyekiri mu buliwo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kibi okwematizaokusinzira ku Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries