settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku kwegatta mu mukwano nga tonawasa oba nga tonafumbirwa?

Okuddamu


Tewali kigambo mu lw'ebbulaniya oba Oluyoonani mu Bayibuli ekyogera ku kwegatta ng'omuntu tanafumbirwa oba tanawassa. Bayibuli egaana okwegatta wabweru w'obufumbo n'obukaba, naye Okwegatta nga tonafumbirwa oba nga tonawasa nakyo kibi? Okusinziira ku 1 Abakolinso 7:2, "yee!!".Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye. Mu lunyiriri luno, Pawulo agamba nti obufumbo ly'edagala ly'obukaba. Okusoka Abakolinso 7:2 egamba nti kubanga abantu tebasobola kwefuga era bangi benyigira mu nsonga z'omukwano wabweru w'obufumbo, abantu balina okufumbirwa. Awo basobole okutukiriza okukwagala kw'emibiri gyabwe mu ngeri entuufu.

Obanga 1 Abakolinso 7:2, ng'enyonyola obwenzi oba obukaba etwaliramu okwegatta nga tonawasa oba tonafumbirwa, kitegeeza nti ebyawandiikibwa ebigaana obukaba kubanga bubi era bitwaaliramu okwegatta nga tonafumbirwa oba nga tonawasa okuba ekibi. Waliwo ebyawandiikibwa bingi ebitwaala okwegatta nga temunafumbiriganwa okuba ekibi (Ebikolwa 15:20; 1 Abakolinso 5:1; 6;13, 10:8; 2 Abakolinso 12:21; Abagalatiya 5:19; Abaefeeso 5:3; Abakolosaayi 3:5; 1 Abasessaloniika 4:3; Yuda 7). Bayibuli ewagira okulinda okwenyigira mu by'omukwano okutuusa lw'ofuna obufumbo obutukuvu. Okwegatta wakati w'omwami n'omukyala abagattidwa mu bufumbo obutukuvu kwokka Katonda kwakkiriza.(Abaebbulaniya 13:4)

Emirundi egisinga, tuteeka esira ku "kwesanyusa" okuli mu kwegatta, netulemwa okutunulira ensonga endala — ey’okuzaala. Okwegatta mu bafumbo kujudde esanyu, era Katonda yakukola bwatyo. Katonda ayagala abantu okunyumirwa okunyumya omukwano wakati mu bufumbo obutukuvu. Oluyimba lwa Sulemaani n'ebyawandiikibwa ebirala (ebyawandiikibwa nga Engero 5:19) biraga esanyu eliri mu kunyumya omukwano. Wabula, abaagalana balina okumanya nti ekigendererwa kya Katonda mu bantu okwegatta kirimu okuzaala abaana. Kitegeeza nti, abagalana okwenyigira mu kwegatta nga tebali mu bufumbo butukuvu kibi—kubanga banyumirwa esanyu elitali lyabwe, era bagezako okuzaala omuntu wabweru w'enkola entuufu eya Famile katonda gye yagenderera buli mwana aberemu.

Singa bayibuli byelagira ku kwegatta nga toli mufumbo byali bigonderwa, wandibaddewo endwadde ez'obukaba, ntono nnyo, embuto ezigyiddwamu ntono nnyo, ba Maama abatali bagatte mu bufumbo obutukuvu batono nnyo, embuto ezitali nteketeke ntono nnyo, n'abaana batono abakula nga tebalina omu ku bazadde mu bulamu bwabwe. Okulindilira ye nkola ya Katonda yokka ku nsonga z'okwegatta nga tonafumbirwa oba nga tonawasa. Okulinda okwegatta kukuuma obulamu, kukuuma abaana, era kuwa ensonga y'okwegatta amakulu amatuufu, n'okusingira ddala, kuwa Katonda ekitiibwa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku kwegatta mu mukwano nga tonawasa oba nga tonafumbirwa?
© Copyright Got Questions Ministries