settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogela ki ku Basajja n'abakazi abamawanga ag'enjawulo okufumbiriganwa?

Okuddamu


Endagaano enkadde eragira Abayisirayiri obutawasa oba okufumbirwa abamawanga amalala. (Ekyamateeka 7:3-4) Wabula ensonga y'ekiragiro kino teri ku kala ya lususu, oba obuwangwa. Ensonga ya bwaKatonda. Ensonga lwaki Katonda yagaana okuwasa abamawanga amalala eri nti, abamawanga amalala baali basinza bakatonda abalala. Abayisirayiri bandibadde bakyamizibwa singa baawasa oba baafumbirwa abantu abasinza ebifaananyi oba abatakkiriza Katonda. Kino kyekyatuukawo mu Yisirayiri okusinziira mu Malaki 2:11.

Enkola yemu ey'omwoyo omulongoofu eragibwa mu Ndagaano empya, naye tekwatagana ku gwanga muntu lyavaamu."Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza?" (2 Abakolinso 6:14). Nga abayisirayiri (Abakkiriza mu Katonda omu era omutuufu) bwe balagirwa obutawasa basinza bifaananyi, n'abakkiriza (abakkiriza mu Katonda omu omutuufu) balagirwa obutawasa abatakkiriza. Bayibuli tegambangako nti okuwasa abamawanga amalala kibi era oyo akugaana akikola nga tayina buyinza kuva mu Bayibuli.

Nga Martin Luther Jr., yagamba, "omuntu alina okulowoozebwako okusinzira ku bikolwa oba ku mbala ye so si langi ya lususu lwe." Tewali kwekubiira eri buwangwa kulina kuba mu bulamu bw'omukukristaayo (Yakobo 2:1-10). Endowooza okuva mu Bayibuli eri nti waliwo egwanga limu —elya bantu bonna, buli muntu eyava mu Adamu ne Kaawa mwaava. Omukristaayo bwaba alonda owokuwasa, alina okulonda oyo eyalokoka nga akkiriza Yesu (Yokaana 3:3-5). Okukkiriza mu Kristu, so si mu langi y'olususu, yenkola ntuufu eya Bayibuli ey'okulonda omubeezi. Okuwasa oba okufumbirwa abamawanga amalala tekyekwasa ku gwanga kki etuufu oba eritali tuufu, wabula ku magezi, okubikkulirwa, n'okusaba.

Abantu babiri nga balowooza okwewasa balina okulowooza ensonga nyingi. Newankubadde enjawukana mu langi y'olususu terina kulekebwa bbali, terina kuba nga yesalawo oba abantu abo ababiri balina okufumbiriganwa. Abafumbo abava mu mawanga agenjawulo basobbola okusanga okuganiibwa oba okuyisibwaamu amaso, naye balina okwetegeka okwaŋŋanga okuganiibwa, n'okukyayibwa kuno mu ngeri eya Bayibuli. "Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira:( Abaruumi 10:12). Ekanisa etatunuulira langi y'abantu era/oba obufumbo obulimu abantu ab'amawanga agenjawulo, busobola okuba ekifaanayi ekirungi ekiraga nti ffena mu Kristu twenkana.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogela ki ku Basajja n'abakazi abamawanga ag'enjawulo okufumbiriganwa?
© Copyright Got Questions Ministries