settings icon
share icon
Ekibuuzo

Yesu okufa mu kifo ky’abonoonyi kitegeeza ki?

Okuddamu


Ebyawandiikibwa bisomesa nti abantu bonna bonoonyi.(Abaruumi 3:9-18,23). Ekibonerezo ky’obwonoonyi kufa. Abaruumi 6:23 egamba, “Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”

Olunyiriri luno lusomesa ebintu bingi. Ewatali Kristu, tugenda kufa era tumalire mu geyeena nga tusasulira ebibi byaffe. Okufa mu byawandiikibwa kitegeeza “kwawukana”. Buli muntu agenda kufa, wabula abamu bagenda kubeera mu Gulu, ate abalala bagenda kubeera mu geyeena emirembe gyonna. Okufa okwogwerwako wano kutegeeza kumala bulamu mu geyeena. Wabula, eky’okubiri olunyiriri luno kyelutusomesa kiri nti, waliwo okuyita mu Kristu Yesu. Kuno kwe kufa kwa Kristu mu kifo kyaffe olw’ebibi byaffe.

Yesu yafa mu kifo kyaffe bwe yafa ku musalaba bweyakomererwa ku musalaba. Ffe twali tusaana okukomererwa ku musalaba kubanga ffe tutambulirira mu bulamu obw’ekibi. Wabula Kristu yattika ekibonereza mu kifo kyaffe—Yatwala ekifo kyaffe era anyita mw’ekyo kyetwali tugwanira. “Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.”

“eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya.” (1 Peetero:2:24). Wano era tulaba nga Kristu yettika ebibi byetwakola okusasula omutango gwaffe. Bwoyongera okusoma wansi, osoma nti, “Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;(1 Peetero 3:18). Enyiriri zino tezitusomesa busomesa ngeri Yesu gyeyawanyisa ekifo kyaffe, wabula zitusomesa nti Ye yali omutango, ekitegeza nti yasasula omuwendo gwonna ogwali gubanjibwa omuntu olw’ebibi bye.

Ekyawandikibwa ekirala ekyogera ku kuwanyisa kwa Kristu kiri mu Isaaya 53:5. Ekyawandikibwa kino kyogera ku Kristu alifa ku musalaba olw’ebibi byaffe. Obunabbi bulambuluddwa bulungi era okukomererwa kwa Kristu kwatukawo nga bwekwali kuwandikiddwa. “Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.” Laba okuwanyisa. Wano era tulaba nga Kristu asasula ebanja kyaffe.

Engeri yokka gyetusobola okusasula ebanja ku lwaffe kwekubonerezebwa era okuteekebwa mu geyeena emirembe gyonna. Wabula omwana wa Katonda, Yesu Kristu, yajja kunsi okusasula omuwendo ogw’ebibi byaffe. Kubanga yakikola kino, tulina omukisa okusonyiyibwa ebibi byaffe n’okumala obulamu obutaggwaawo naye mu Gulu. Okusobola okutuuka ku kino, tulina okuteeka okukkiriza mu mulimu Krsitu gweyakola ku musalaba. Tetusobola kwelokola; twetaaga ekifo kyaffe okuwanyisibwa. Era okufa kwa Yesu kwekuwanyisa okwasasula omuwendo gwetwalina okusasula.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Yesu okufa mu kifo ky’abonoonyi kitegeeza ki?
© Copyright Got Questions Ministries