settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki abantu abali mu Oluberyeberye bawangaala emyaka mingi?

Okuddamu


Kyewunyisa lwaki abantu abali mu suula ezisooka ez’Oluberyebrye bawangaala emyaka emyaka mingi. Waliwo endowooza nyingi ezitekededdwawo abasomi ba Bayibuli. Ebiwandikiddwa ku kukuzaalibwa mu Oluberyeberye 5 kulaga abaana ba Seezi—olunyiriri olwavaamu omulokozi. Katonda kirabika yawa olunyiriri emyaka mingi osanga olw’okwagala kwebalina eri Katonda n’okumugondera. Newankubadde nga eno enyinyonyola elabika nga y’entuufu, Bayibuli telina welaga nti okuwangaala kwali kwa lunyiriri olwogerwako mu Oluberyeberye lwoka. Nekirala, ng’ogyeko Enosi, Oluberyeberye 5 telwogerako ku muntu mulala eyali ayagala Katonda.Kisoboka okuba nga buli muntu yenna ku mulembe ogwo yawangaala emyaka mingi. Ensonga eziwerako zisobola okuba nga zezabaletera okuwangaala.

Waliwo ekyatuukawo ku mataba ekyakendeeza emyaka omuntu gyeyawangaala. Gerageranya emyaka abantu gyebawangaala ng’amataba teganaba (Oluberyeberye 5:1-32), n’egyo abantu gyebawangaala oluvanyuma lw’amataba (Oluberyeberye 11:10-32). Oluvanyuma lw’amataba, emyaka gyakendeera mbagirawo era negyeyongera okukendeera. Ensonga eyinza okuba mu Oluberyeberye 6:3: “Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” Abantu abamu basonga ku “myaka kikumi mu abiri” okuba ekomo eryatekebwa ku myaka omuntu gyalina okuwangaala. Mu biseera bya Musa (eyawangaala emyaka 120) obuwangaazi bwali bukendedde. Oluvanyuma lwa Musa, tetulina muntu yenna gwetulaba awangala kusukkuluma myaka 120.

Endowooza abantu abamu gyebalina lwaki abantu abali mu Oluberyeberye Bawangaala emyaka egyo eva ku nsonga nti waliwo amazzi agaali getolodde ensi. Okusinziira ku ndowooza y’amazzi ago agaali “waggulu mu bbanga” (Oluberyeberye 1:7) oba waggulu w’ebire, gakugira ekyongezamasoboza ag’enjuba (radiation from the sun) kakano agatuuka ku nsi buterevu, ekyabaletera okubeera n’obulamu obulungi. Ku kaseera k’amataba, amazzi ago gayiibwa ki nsi mu kaseera akamataba (Oluberyeberye 7:11), era embeera ennungi n’ekoma. Endowooza y’amazzi agaali mu banga erekeddwa abasomi bangi abakkiriza mu kutondebwa kw’ensi.

Endowooza endala eri nti, mu mirembe egyasooka oluvanyuma lw’okutondebwa kw’ensi, olukusiko lw’obuzaale bw’omuntu (soma human getic code), lwali lufunye ebirwadde. Adamu ne Kaawa batondebwa nga batukkiridde. Era baali tebasobola kulwala. Abaana babwe bandisiziddwa embeera eno, newankubadde nga yandibadde nafu. Wabula akaseera bwekeyongera okuyita, olw’ekibi, olukusiko lw’obuzaale bw’omuntu lweyongera okuyononeka, era abantu nebeyongeera okulwaala era n’okufa. Kino kisobola okuba nga y’ensonga eyaletera obuwangaazi okukendeera.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki abantu abali mu Oluberyeberye bawangaala emyaka mingi?
© Copyright Got Questions Ministries