settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okusoma ku Katonda okusengekeddwa kwekuliwa?

Okuddamu


“Okulambika” kitegeeza okusengeka ekintu obulungi. Siyologye omulambike obulungi n’olwekyo, kwekusengeka siyologye oba okusoma ku Katonda mu nambika ennyonnyoddwa obulungi. Okugeza, ebitabo bingi mu bayibuli byogera ku Bamalayika. Tewali kitabo kyogera ku bamalayika mu ngeri emala. Siyologye omulambike akwata buli kimu ekyogerwa ku bamalayika mu Bayibuli nakigatta wamu mu ngeri enambike obulungi ennambike eyitibwa enjolologye (Soma angelology) oba essomo elikwata ku bamalayika. Ekyo siyologye omusengeke oba omulambike kyategeeza—asengeka ensomesa za bayibuli mu ngeri enambike obulungi.

Paterologye kwe kusoma ku Katonda, Kristologye kwekusoma ku Katonda omwana, Yesu Kristo. Numatologye kwekusoma Katonda Omwoyo Mutukuvu. Bibiliyologye kitegeeza okusoma ku Bayibuli, Soteriyologye kwekusoma ku Bulokozi. Ekileziyologye kitegeeza ku Kanisa, Dayimonologye kitegeeza okusoma ku dayimooni okusinziira ku ntegeera y’ekristaayo, Ansulopologye ey’ekristaayo kwekusoma ku buntu mu ngeri ey’ekristaayo. Kamatologye kitegeeza okusoma ku kibi. Siyologye emulambike obulungi wamugaso mu kutuyamba okutegeera era okusomesa Bayibuli mu ngeri ensengeke obulungi.

Ngosaseko siyologye omulambike obulungi, waliwo engeri endala siyologye gyasobola okwawulibwa. Siyologye owa Bayibuli kitegeeza okwekenenya ekitabo (oba ebitabo) bya Bayibuli n’okukkatiiriza ensonga za siyologye ekitabo ekyo zekyogerako oba zekitekako essira. Okugeza, enjiri ya Yokaana eyogera nnyo ku bwakatonda bwa Kristo n’olwekyo esomesa ku Kristologye (Yokaana 1:1, 14, 8:58; 10:30; 20:28). Siyologye owebyafaayo kwekusoma ku nsomesa ezenjawulo n’engeri gyezize zikulamu okuyita mu mirembe egy’enjawulo egy’ekanisa. Siyologye ow’ensomesa kuba kusomesa ku nsomesa ezenjawulo ez’ebiwayi ebimu ebigezezako okusengeka ensomesa Siyologye wa Kaluviini ne siyologye akwata ku ngeri Katonda gyeyakwasaganyamu abantu mu ngeri eyenjawulo okuyita mu bilo oba ebiseera ebyenjawulo. Siyologye ebiro bino kwekusoma ku nsomesa ezibalusewo mu biro bino oba ebyemabegako. Tewali nsonga ku siyologye ki esomeddwa, ekikulu kiri nti siyologye asomebwa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okusoma ku Katonda okusengekeddwa kwekuliwa?
© Copyright Got Questions Ministries