settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala okusabira awamu kikulu? Ddala kwamanyi okusinga okusaba nga ndi nzekka ?

Okuddamu


Okusabira awamu kitundu kikulu ku bulamu bw’ekanisa, wamu n’okusinziza awamu, ensomesa entuufu, okumenya omugaati, n’okukuɲɲaana. Ekanisa eyasooka yakuɲɲaana obutayosa okusoma ensomesa y’abatume, okumenya omugaati,n’okusabira awamu (Ebikolwa 2:42). Bwetusabira awamu n’abakkiriza abalala, ebivamu biba birungi nnyo. Okusabira awamu kutuzimba era kutuggata kubanga tuba tugabana okukkiriza kumu. Omwoyo Omutukuvu atuula mu buli mukkiriza aletera emitima gyaffe okusanyuka bwetuwulira amatendo ga Mukama waffe era omulokozi waffe, era atugatta wamu mu mukago egwenjawulo ogwokutabagana ogutali wantu walala wonna mu bulamu.

Eri abo abayinza okuba nga bali bokka era nga batawaana n’obulamu, okuwulira nga abantu abalala babayimusa eri namulondo ey’ekisa kusobola okubazaamu amanyi. Era kituyamba okutuzimba mu kwagala nga tufa kw’ebyo ebifa ku banaffe nga twegayirira kulwabwe eri Katonda.. Mu kaseera ke kamu, okusabira awamu kulaga emitima gy’abantu abakwenyigiramu, Tulina okugya eri katonda mu buwombeefu( Yakobo 4:10), amazima (Zabbuli 145:18), mu bugonvu (1 Yokaana 3:21-22), mu kwebaza (Baffirippi 4:6) mu buvumu (Abaebbulaniya 4:16). Ekyenaaku, okusabira awamu gusobola okuba omukutu eri abantu nga bbo ebigambo byabwe tebabyolesa eri Katonda wabula eri nga babyolesa eri ababawulira. Yesu yatulabula eri enkola eyo mu Matayo 6:5-8 nga atuzaamu amanyi obutaba bantu berabisa , abaleekanira wagulu oba bananfuunsi mu kusaba, wabula nga tusaba mu kyama mu bisenge byaffe okusobola okwewala okukemebwa okukozesa esaala mu ngeri ey’ekinanfuusi.

Tewali wantu wonna ebyawandiikibwa webitulaga nti okusabira awamu ‘kwamanyi okusinga’ era kusobola okuleteera Katonda okukola okusinga okusaba nga oli wekka. Abakkiriza bangi bagerageranya okusaba okwenkana “n’okujja ebintu mu mukono gwa Katonda”, era okusabira awamu nekaba akaseera ak’okwogera ebyo byetwagala okuva eri Katonda. Okusaba okusinziira ku Bayibuli kulina ebika bingi era nga kutwaliramu okwagala okuyingira mu kuberawo kwa Katonda atukkiridde, omutukirivu. Katonda okuba nti asobola okutega okutuku kwe eri ebyetaago by’ebitonde bye kiretera amatendo n’okusinza kuyiika okuyiika mu bungi (Zabbuli 27:4; 63:1-3), kireeta okwenenya era n’okwetonda okuva mu mutima (Zabbuli 51;Lukka 18: 9-14), era kireteera obwesimbu mu kwegayirira ku lwabantu abalala ( 2 Abassesalonika 1:11; 2:16).

Okusaba, olwo, kuba kukolagana ne Katonda okusabola okuleeta enteekateeka ze okubaawo, wabula ssi kumunyoola asobole okusinkana okwagala kwaffe. Bwetuleka okwagala kwaffe, tusobole okukkakanira oyo amanyi embeera zaffe okusinga ffe, era amanyi ebyetaago byaffe “nga tetunaba na kumusaba” (Matayo 6:8), okusaba kwaffe olwo lwekutuuka wagulu ennyo. Esaala esabiddwa mu kukkakanira okwagala kwa Katonda, kitegeeza nti kuddibwamu, nga kusabiddwa omuntu omu oba abantu lukumi.

Endowooza egamba nti esaala ezisabiddwa awamu zikwata nnyo ku Katonda eva mu kuvuula Matayo 18:19-20 okukyamu, “ Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.” Enyiriri zino ziva mu kitundu kitundu kyebyawandiikibwa ekinene ekyogera ku nkola elina okugoberwa ekanisa singa waliwo memba w’ekanisa aba ayononye. Bwezivuunulwa ng’ezisuubiza abakkiriza okubawa ebyo byonna byebakkiriziganyako okusaba eri Katonda, newankubadde nga biva mu kibi oba byakisiru, tekontana bukontanyi kwokka n’enkola y’ekanisa, tekikwatagana na byawandiikibwa birala naddala ebyogera ku Katonda okuba nga alina eddembe n’obuyinza okukola kyonna kyayagala nga tawaliriziddwa.

Ensonga endala eri nti, okukkiriza nti “ababiri oba abasatu bwebwakuɲɲaana” okusaba, waliwo amannyi agenjawulo gagattibwa ku saala zaffe tekuwagirwa Bayibuli. Amazima gali nti Yesu aberawo abantu babiri oba basatu bwebwakuɲɲaana okusaba, wabula, aberawo mu ngeri yemu nga omukkiriza omu asaba yekka, omuntu oyo nebwaba ng’ali mayiro lukumi nemunne. Okusabira awamu kukulu kubanga kuleeta obumu (Yokaana 17:22-23), era nsonga nkulu nnyo eri abakkiriza okwezaamu amannyi (1 Abasessaloniika 5:11) era okwekubiriza mu kwagalana n’emubikolwa ebirungi. (Abaebbulaniya 10:24).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala okusabira awamu kikulu? Ddala kwamanyi okusinga okusaba nga ndi nzekka ?
© Copyright Got Questions Ministries