settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okunyonyola ebirooto nmu Bukristaayo? Ebiroota byaffe bivva wa Katonda?

Okuddamu


GotQuestions.org si mukutu gnyonyonyola birooto by’Abakristayo. Tetunyonyola birooto. Tukiririza ddala nti ebirooto by’omuntu n’amakulu gabyo gali wakati woyo omuntu ne Katonda bokka. Edda, olumu Katonda yayogera nga eri abantu okuyita mu birooto. Okugeza Yusufu mutabani wa Yakobo (olubereberye 37:5-10); Yusufu, omwami wa Malyamu (Matayo 2:12-22); Sulemani (1 Kings 3:5-15); n’abalala bangi (Daniyeri 2:1; Matayo 27:19) Waliwo obunabbi obwa nabbi Yoweri (Yoweri 2:28), Kyogerebwako Omutume Peteero mu Bikolwa byabatume

Naye, tulina obuteerabira nti Bayibuli yemalirira era ejjudde, kubanga etulaga buli kimu kye twetaaga okuva kati okutuusa kunkomerero. Kino tekitegeeza nti Katonda takyakola byamagero oba takyayogera okuyita mu birooto kati, naye buli Katonda kyayogera oba okuyita mu birooto, mu kwolesebwa, mu birabisibwa, oba “mu ddoboozi ettono ekkakamu,” bikwataganira ddala n’ebyo kyeyayogera mu kigambo kye. Ebirooto tebigyawo buyinza bwa byawandikibwa.

Bwoba olina ekirooto ng’osuubira Katonda ye yakikuwadde, okuyita mu kusaba kebera ekigamo kya Katonda era okakase nti ekirooto kikwataganira ddala n’ebyawandikibwa. Bwe kiba kikwatagana, okuyita mukusaba lowooza ku Katonda kyakusuubira okukola okusinzira ku kirooto kyo (Yakobo 1:5). Mu byawandikibwa buli omuntu lwe yafuna ekirooto okuva ewa Katonda, Katonda yabategeeza nga amakulu g’ekirooto ekyo, okuyita mu muntu oyo yenyini oba, okuyita mu malayika, oba okuyita mu muntu omulala atumiddwa (Oluberyeberye 40:5-11; Daniyeri 2:45; 4:19). Katonda bwayogera gye tuli, akakasa nti obubaka bwe tubutegeerera ddala

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okunyonyola ebirooto nmu Bukristaayo? Ebiroota byaffe bivva wa Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries