settings icon
share icon
Ekibuuzo

Abakristaayo balowoozaki ku kunywa sigala? Okunywa sigala kibi?

Okuddamu


Bayibuli teyogera butereevu ku kunywa sigala. Wabula waliwo enkola ezisobola okukozesebwa okumanya ensonga eno ey’okunywa sigala. Okusokera ddala, Bayibuli etugaana okukkiriza emiribi gyaffe okufugibwa ekintu kyonna. “ Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.”(1 Abakkolinso 6:12). Okunywa sigala tekyegaanika kukwata era kuzibu okuvaako. Mu maaso eyo tugambibwa nti, Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe; kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe” (1 Abakkolinso 6:19-20). Okunywa sigala kyabulabe eri obulamu bwo era kumanyiddwa okulwaaza amawugwe n’omutima.

Ddala okunywa sigala kisoboka okuba “eky’omugaso” (1 Abakkolinso 6:12)? Okunywa sigala kusobola okwogerwako ng’okuwa okuwa Katonda ekitiibwa n’omubiri gwo(1 Abakkolinso 6:20) ? Omuntu ddala asobola okunywa sigala olw’ekitiibwa kya Katonda ( 1 Abakkolinso 10:31)? Tukkiriza nti ekyokuddamu eri ebibuuzo bino byonna kiri “nedda!.” Olw’ensonga eyo, tukkiriza nti okunywa sigala kibi, era tekirina kukolebwa abakkiriza mu Yesu.

Abamu bagaana ennsonga eno nga basonga ku mazima nti abantu bangi balya emere etali nongoofu, era nga gusobola okuba omuze era nga nakyo kikyamu eri omubiri. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi tebasobola kukola kintu kyonna nga tebanywedde ku kaawa kumakya. Newankubadde kino kituufu, kiretera kitya okunywa sigala okuba okutuufu? Tukkiriza nti Abakkiriza balina okwewala okulya enyo ekitasaanidde wamu n’okulya emeere etali nongoofu. Yye, Abakristaayo bananfuuzi ebiseera ebimu kubanga bakkiriza ekibi ekimu ate nebagaana ekirala, wabula kino nakyo tekiretera kunywa kigala kuba nti kuweesa Katonda ekitiibwa.

Endowooza endala awakanya obutanywa sigala eri nti, abasajja banji aba Katonda baali banyi ba taaba, ng’omubuulizi w’enjiri omubaptist C.H Spurgeon (soma C. H. Sipagiyoni). Era tetukkirza nti empoza eno erinamu egumba. Tukkiriza nti Sipagiyoni yali mukyamu okunywa sigala. Ddala yali musajja wa Katonda era nga mubuulizi wa njiri omulungi? Mazima! Kino ddala kifuula ebikolwa bye byonna okuba ebiweesa Katonda ekitiibwa? Nedda.

Mu kugamba nt okunywa sigala kikyamu, tetugamba nti abanywi ba sigala bonna si balokole. Waliwo abakkiriza bangi mu Yesu Kristu abanywa sigala. Okunywa sigala tekulemesa muntu yenna kuba mulukole. Era tekuleteera muntu yenna kufiirwa bulokole. Okunwa sigala nakwo kusonyiyibwa ng’ebibi ebirala byonna, oba nga kukolebwa omuntu akyuuka okufuuka omukristaayo oba Omukristaayo eyenenya ebibi bye eri Katonda. (1 Yokaana 1:9). Mu Kaseera kekamu, tukkiriza nti okunywa sigala kibi ekirina okulekebwa era nga Katonda okuyambye, ekirina okuwangulwa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Abakristaayo balowoozaki ku kunywa sigala? Okunywa sigala kibi?
© Copyright Got Questions Ministries