settings icon
share icon
Ekibuuzo

Tunasobola okumanya emikwano gyaffe n’abenŋanda zaffe nga tuli mu Gulu?

Okuddamu


Abantu abamu bagamba nti ekintu ekisooka kyebagala okukola bwebanatuuka mu Gulu kwekulaba ab’emikwano n’abagalwa baabwe ababasooka okufa. Mu bulamu obutaggwaawo, wagenda kubaawo obudde bungi okulaba, okumanya, n’okumala akaseera n’abemikwaano n’abenŋanda zaffe. Wabula, ekyo ssi kyetugenda okuteekako essira erisooka mu Gulu. Tugenda kwemalira nnyo mu kusinza Katonda n’okunyumirwa ebyewunyisa ebiri mu Gulu. Ensininkano n’abagalwa baffe elowozebwa okuba ng’egenda kusinga kubaamu kujukira kisa kya Katonda ekitiibwa kye mu bulamu bwaffe, okwagala kwe okwewunyisa, n’emirimu gye egyamanyi. Tujja kusanyua nnyo kubanga tujja kusobola okusinza Katonda n’okutendereza Katonda wamu n’abakkiriza abalala, okusingira ddala abo betwagala ku nsi.

Bayibuli eyogera kki ku nsonga oba tunasobola okumanya abantu mu bulanu obugya? Kabaka Sawulo yasobola okutegeera Samwiri; Omulogo we Endoli bweyalinyisi Samwiri okuva mu baffu.(1 Samwiri 28:8-17). Omwana wa Dawudi omuto bweyafa, Dawudi yagamba, “Naye kaakano ng'amaze okufa, nandisiibidde ki? nnyinza okumukomyawo? nze ndigenda gy'ali naye ye talikomawo gye ndi.”(2 Samwiri 12:23). Dawudi yalowooza nti alisobola okutegeera mutabani we newankubadde nga affude akyali muwere. Mu Lukka 16:9-31, Ibulayimu, Lazaalo, n’omusajja omuggaga bona bali basobola okutegerebwa nga bamaze okufa. Ku kukyusibwa kwa Yesu, Musa, Eliya bona baali basobola okutegerebwa (Matayo 17:3-4). Mu byokulabirako bino, Bayibuli teraga nti oba tunasobola okutegeerebwa nga tumaze okufa.

Bayibuli egamba nti bwetunatuuka mu Gulu, “tulifaanana nga ye[Yesu]; kubanga tulimulaba nga bw'ali.” (1 Yokaana 3:2). Nga emibiri gyaffe ku nsi bwegyali egya Adamu eyasooka, emibiri gyaffe ogy’okuzuukira gyiriba ng’ogwa Kristu (1 Abakkolinso 15:47). “Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu... Kubanga oguvunda guno, kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.” (Abakkolinso 15:49, 53). Abantu banji basobola okutegeera Yesu ng’amaze okuzuukira (Yokaana 20:16,20; 21:12; 1 Abakkolinso 15:4-7). Bwaba nga Yesu yali asobola okutegeerebwa mu mubiri bwe yali ayambadde omubir ogw’ekitiibwa, naffe tujja kusobola okutegerebwa mu mibiri gyaffe egy’ekitiibwa. Okusobola okulaba abagalwa baffe ky’ekimu ku bintu eby’ekitiibwa eby’Egulu, wabula Egulu lisinga kukwata ku bintu ebikwata ku Katonda okusinga ebikwata ku ffe. Nga kiriba kya sanyu okusisinkana abagalwa baffe netusinza Katonda wamu nabo emrembe n’emirembe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Tunasobola okumanya emikwano gyaffe n’abenŋanda zaffe nga tuli mu Gulu?
© Copyright Got Questions Ministries