Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku kukwatibwa emizimu? Okukwatibwa emizimu kukyaliyo lero? Bwekiba nga kukyaliyo, obubonero bw’omuntu akwatiddwa emizimu bwebuliwa
Okuddamu
Bayibuli ewa ebyokulabirako eby’abantu abawatiddwa era abakozesebwa emizimu. Okuva ku by’okulabirako bino, tusobola okulaba obubonero obulaga omuntu akwatiddwa era akozesebwa emizimu era netulaba engeri emizimu gyegikwata omuntu. Bino byebimu ku byawandiikibwa : Matayo 9:32-33; 12:22; 17:18; Makko 5:1-20; 7:26-30; Lukka 4:33-36; Lukka 22:3; Ebikolwa 16:16-18. Mu byawandiikibwa ebimu wagulu, dayimooni zireteera omuntu okulemererwa okwogera, okukwatibwa ensibu, okuziba amaaso n’obubonero obulala. Mu byokulabirako ebirala Zi dayimooni ziretera omuntu okukola ebikolwa ebubi, Yudda nga kyekyokulabirako ekikulu wano. Mu Bikolwa 16:16-18, omwoyo gwaletera omuwala obusobozi okumanya ebintu ebisukkuluma kw’ebyo byeyali alina okumanya. Omusajja ow’egerasene, ayalina dayimooni eyalina lijooni ya dayimooni oba dayimooni nga nyingi, yalina amanyi manyi okusukkuluma kwago omuntu galina okuba nago, era yabeeranga bwereere mu ntaana. Kabaka Sawulo, ng’maze okujeemera Katonda, yatawanyizibwa emyoyo emibi (1 Samwiri 16:14-15; 18:10-11; 19:9-10) era gyamuletera okunakuwazibwa nokwagala okutta Dawudi.
Nolwekyo, waliwo ebyogerwa bingi ebikwata ku kukwatibwa dayimooni, nga okulemala okutava ku bulwadde bwa bwongo, embeera z’omuntu okukyuka neyeralikira oba okukwatibwa ekiruyi, amanyi amangi agasukkuluma ku bantu, obutakwatibwa nsonyi, okulemererwa okubeera wamu n’abantu abalala osanga n’okumanya ebintu ebiri wagulu w’okumanya kw’omuntu. Kikulu okumanya nti ebisinga oba osanga obubonero bwonna wagulu bulina ebibuleeeta ebirala. N’olwekyo kikulu obutalowooza ku buli muntu alina embeera ezikyuse-katugeze anakuwadde oba alina ensimbu okuba ne dayimooni. Ekirala, Amawanga ag’ebuvanjuba tegatwaala kukwatibwa dayimooni kuba kintu kikulu oba ekyamanyi.
Ku bubonero obwo wagulu, omuntu asobola okugatako embeera z’omwoyo eziraga omuntu afugibwa dayimooni. Kuno kwekuli okugaana okusonyiwa (2 Abakkolinso 2;10-11) era okukkiriza era okusaasanya ensomesa enkyamu, naddala ewata ku Yesu Kristu n’omulimu gweyakola ku musaalaba (2 Abakkolinso 11:3-4, 13-15; 1 Timoseewo 4:1-5; 1 Yokaana 4:1-3).
Ku nsonga y’omukristaayo okokuzesebwa emizimu, Omutume Petero kifaananyi kirungi okulabirako(Matayo 16:23). Abamu batwala Omulokole okezesebwa emizimu oba dayimu okuba nga alimu “emizimu”, wabula tewali mu byawandiikibwa kyakulabirako kiraga mukkiriza ngalina emizimu. Abasomi ba Bayibuli abasinga bakkiriza nto Omukkiriza tasobola kutulibwamu mizimu kubanga alina Omwoyo Mutukuvu atudde muye. (2 Abakkolinso 1:22; 5:5; 1 Abakkolinso 6:19), era Omwoyo wa Katonda tasobola kugabana nyumba na dayimooni.
Tetubuulilwa ngeri kki omuntu gyeyeggula omuzimu gusobole okumuyingira. Ekyokulabirako ya Yudda bwekiba nga kyekituufu—ye yakkiriza omululu okutuula mu mutima gwe (Yokaana 12:6). Kisoboka okuba ekituufu nti omuntu bwakkiriza okufugibwa ekibi, aba ayaniriza omuzimu okuyingira. Okusinziira kw’ebyo abaminsani bye balaba, emizimu gyiyingira omuntu olw’okusinza bakatonda oba balubaale n’okusamira. Ebyawandiikibwa biddiŋŋana bulungi nti okusinza ebifanaanyi kuba kusinza dayimooni (Abaleevi 17:7; Ekyamateeka 32:17; Zabbuli 106:37, 1 Abakkolinso 10:20), era tekyewunyisa nti okwenyigira mu kusinza ebifaananyi kuleetera omunti okutulibwamu emizimu.
Okusinziira ku byawandikibwa wagulu, ebintu ebimu abaminsane byebayitamu, tusobola okuwunzika nti abantu abamu bagulawo obulamu bwabwe okuyingirwamu emizimu nga benyigira mu kibi, oba okusamira (nga bamayi oba nga tebamanyi). Ebyokulabirako musobola okubamu obuseegu, ebitamiiza(omwenge, enjaga) ebikyusa entegeera y’omuntu, okujeema, obukaawu, n’okusindikiriza ebirowoozo mu nsi y’omwoyo mu ngeri yekisamize.
Waliwo ekirala ekilina okulowoozebwako. Sitaani nebamalayikabe tabakola kintu kyonna Katonda kyatabakkiriza kukola (Yobu 1-2). Olwokubanga eno y’ensonga, Sitaani okulowooza nti atukiriza enteekateeka ze mu mazima aba atukiriza nteekateeka za Katonda. Nga bwekyali ku Yudda okulyamu Mukama waffe Yesu olukwe. Abantu abamu batwaliba omutima eri obusamize n’ebintu by’emizimu. Kino si kyamagezi era Bayibuli tekiwagira. Bwetunoonya Katonda, bwetwambala eby’okulwanyisa eby’Omwoyo era netwesigama ku Manyi ge (Abaefeso 6:10-18), tetulina kuba na kyakutya eri amasitaani kubanga Katonda afuga buli kimu!
English
Bayibuli eyogera kki ku kukwatibwa emizimu? Okukwatibwa emizimu kukyaliyo lero? Bwekiba nga kukyaliyo, obubonero bw’omuntu akwatiddwa emizimu bwebuliwa