settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okukwakulibwa kunatuuka ddi okusinzira ku kaseera ak’okubonaabona?

Okuddamu


Akugeraageranya akaseera ak’okukwakulibwa okusinzira ku kaseera ak’okubonaabona ky’ekimu ku bintu ebikyasinze okuwakanirwako mu kanisa leero. Ensonga eziwakanirwa zezino wamanga;

1. Okukwakulibwa kulituukawo ng’akaseera ak’okubonaabona tekanatuuka

2. Okukwakulibwa kulituukawo mumassekati oba kumpi n’amassekati g’akaseera ak’okubonaabona

3. Okukwakulibwa kulituukawo ng’akaseera ak’okubonaabona kawedde.

4. Ensonga ey’okuna egamba nti okukwakulibwa kunatuukawo ng’busungu tebunaba kuyibwa ekyukamu katono ku nsonga no.2

Okusooka, kikulu okutegeera obulungi ekigendererwa ky’akaseera ak’okubonaabona. Okusinzira ku Daniyeeri 9:27, waliwo emyaka okusanvu egirigya. Obunnabbi bwa Daniyeeri obwa musanvu emirundi nsanvu (Daniyeeri 9:20-27) bwogera ku nsi ya Isirayeeri. Ke kaseera kateeka katekeramu essira ku nsi ya Isirayeeri. Newankubadde nga kino tekitegeeza nti ekanisa telina kubaawo, kituletera okubuuza ekibuuzo lwaki elina yetaagisa okubaawo mu kaseera kano.

Ekyawandiikibwa ekikulu ku kukwakulibwa kiri mu 1 Abasessalonika 4:13-18. Kigamba nti abakkiriza bonna abalibeera abalamu wamu naabo abaafa, balisisinkana Mukama wafe Yesu mu bire era baliba naye emirembe gyonna. Okukwakulibwa kitegeeza Katonda okuja abantu be okuva ku nsi. Enyiriri eziddako 1 Abasessalonika 5:9,Pawulo agamba “Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.” Ekitabo ky’Okubikkulirwa, ekikwata ennyo ku kaseera ok’okubonaabona, bubaka bwa bunnabi obukwata ku ngeri Katonda gyaliyiwa obusungu bwe eri ensi mu kaseera ak’okubonaabona. Kuba kwekontana Katonda okusuubiza abakkiriza nti tebaliraba busungu bwe ate nabaleka kunsi okubonaabona olw’obusungu obw’akaseera ak’okubonaboona. Olw’okubanga Katonda yasuubiza okuwonya Abakristaayo obusungu bwe nga yamala okusubiza okuja abantu be ku nsi kiletera ebiseera ebyo okuba ewamu oba okukwataggana.

Ekyawandiikibwa ekirala ekikulu ku kaseera akukwakulibwamu kiri mu Kubikkulirwa 3:10, nga Kristu asubiza okulokola abakkiriza eri “kiseera eky'okukemebwa” ekirija eri ensi. Kino kisobola okutegeeza ensonga biri. Kristu alikuuma abakkiriza mu masekkati g’okugezesebwa, oba alibalokola okuva mu kugezesebwa. Gonna gaba makulu matuufu ag’ebigambo “okuva mu” ebivuunulwa okuva mu lw’Ebbulaniya.

Wabula, kikulu okutegeera kiki abakkiriza kyebasubizibwa okuwonyezebwa. Si kukemebwa oba kugezesebwa kwoka, wabula “ekiseera” eky'okukemebwa. Kristu asubiza okukuuma abakkiriza eri akaseera akalimu okugezesebwa akayitibwa akaseera ak’okubonaabona. Ekigendererwa ky’akaseera ak’okubonaabona, era ekigendererwa ky’okukwakulibwa, nga ge makulu ga 1 Abasessalonika 5:9, era nga y’enzivuunula y’Okubikkulirwa 3:10 byonna biwagira okukwakulibwa ng’aseera ak’okubonaabona tekanatuuka. Bayibuli bweba ng’evuunuddwa nga bweri era ng’ogoberedde nsonga ku nsonga, okukwakulibwa ng’akaseera ak’okubonaabona tekanatuuka y’enzivuunula eya Bayibuli esinga okuba entuufu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okukwakulibwa kunatuuka ddi okusinzira ku kaseera ak’okubonaabona?
© Copyright Got Questions Ministries