settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okukwakulibwa kw’ekanisa kyeki?

Okuddamu


Ekigambo kukwakulibwa tekilimu mu Bayibuli. Ekigamba kisibuka mu kigambo ky’Olulatini ekitegeeza “okutwalibwa, entabula, oba okunyakula” Okutwalibwa oba okukwakulibwa kusomesebwa bulungi mu Bayibuli. Kukukwakulibwa kw’ekanisa, Katonda aliggya abakkiriza bonna okuva ku nsi okusobola okusala omusango gw’obutukirivu eri ensi mu kaseera ak’okuboonaboona. Okukwakulibwa kwogerwako okusingiridala mu 1 Abassesalonnika 4:13-18 na Abakkolinso 15:50-54. Katonda alizuukiza abakkiriza bonna abaafa, era alibawa emibiri egy’ekitiibwa era olwo alyoke abatwale okuva ku nsi wamu n’abakkiriza abaliba abalamu nga nabo bawereddwa emibiri egy’ekitibwa akaseera ako. “Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.”(Abassesalonika 4:16-17).

Okukwakulibwa kulimu okuweebwa emibiri egitusobozesa okubeera mu bulamu obutaggwaawo. “Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alirabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali.” (1 Yokaaana 3:2). Okukwakulibwa kulina okwawulwa ku kudda kwa Yesu. Kukukwakulibwa, Mukama alija mu bire okutusisinkana (1 Abassesalonika 4:17). Ku kudda, Mukama aka ku nsi era ayimirira ku Lusozi lw’emizayituuni, ekirireeta okukakana kw’ensi okunene era ekinaddilirwa okuwangulwa kw’abalabe ba Katonda (Zakariya 14:3-4).

Ensomesa y’okukwakulibwa teyasomesebwa mu Ndagaano enkadde, era y’ensonga lwaki Pawulo egiyita ‘ekyama” ekibikkuliddwa kakano. “ Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. (1 Abakkolinso 15:51-52).

Okukwakulibwa mukolo gwa kitiibwa gwetulina okulindilira mu sanyu. Bwetulikwakulibwa, tulina tuwonye ekibi. Tuliba mu kuberawo kwa Katonda emirembe gyonna. Waliwo okusika omuguwa kungi ku makulu g’okukwakulibwa era biki ebikulimu. Kino si kyekigendererwa kya Katonda. Wabula, ensomesa y’okukwakulibwa erina kutubudaabuda era erina kutujjuza suubi. Katonda ayagala “twezengamu amanyi n’ebigambo bino” (1 Abassesalonika 4:18).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okukwakulibwa kw’ekanisa kyeki?
© Copyright Got Questions Ministries