settings icon
share icon
Ekibuuzo

Omukristaayo akkirizibwa okukola duyiro? Bayibuli eyogera kki ku bulamu?

Okuddamu


Nga ebintu ebirala mu bulamu, waliwo ebintu ebimu ebisukka mu kukola duyiro. Abantu bamu bateeka esira ku by’Omwoyo nebeerabira emibiri gyabwe. Abalala bateeka esira ku ngeri gyeafaanamu neberabira okukula mu mwoyo. Bino byonna tebiraga kutuukira nga Bayibuli bweyogera. 1 Timosewo 4:8 etugambe, “For physical training is of some value, but godliness has value for all things, holding promise for both the present life and the life to come.”wetegeree nti Bayibuli tegaana kukola duyiro, Wabula Bayibuli egamba nti okukola duyiro kyamugaso wabula egamba nti okukola duyiro kyamugaso ng’egamba nti obwakatonda bwamugaso nnyo.

Omutume Pawulo era ayogera ku kutendeka omubiri nga alaga ekifaananyi ku mazima ag’omwoyo mu 1 Abakkolinso 9:24-27. Afaananya obulamu bw’omukristaayo ku kudduka emisinde “okuwangula ekirabo”Wabula empeera gyetunoonya y’engule etagwawooba etayonooneka oba okusiwuuka, Mu 2 Timoseewo 2:5, Pawulo a gamba, “ ” “Naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.” Pawulo era akozesa omuddusi w’emisinde 2 Timoseewo 4:7 “Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye” Newnkubadde nga ebyawandiikibwa tebikwata ku kukola duyiro, olw’okuba nga Pawulo akozesa ekifaananyi ky’omuddusi w’emisinde okusomesa ku mazima ag’omwoyo kitegeeza nti Pawulo yalaba okukola duyiro oba n’okuwakanya, okuba ekintu ekirungi. Ffena tuli ba mwoyo era ba mubiri. Newankubadde nga omwoyo gwaffe gwa mugaso nnyo, tetulina kulekerera bintu bya mwoyo oba eby’omubiri ku bulamu bwaffe.

N’olwekyo, tewali kikyamu ku kukola duyiro. Mumazima, bayibuli eraga bulungi nti tulina okulabirira emibiri gyaffe (1 Abakkolinso 6:19-20). Mu kaseera ke kamu, Bayibuli erabula obutaliimu (1 Samwiri 16:7; Engero 31:30; 1 Petero 3:3-4). Ekigendererwa kyaffe mu kukola duyiro tekilina kuba kya kwongera mutindo ku mibiri gyaffe abantu abalala basobola okutulaba era batwegombe. Wabula, ekigendererwa kirina kuba kubeera na mibiri miramu okusobola okuba n’amanyi tusobole okwenyika mu bigendererwa byaffe ebyomwoyo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Omukristaayo akkirizibwa okukola duyiro? Bayibuli eyogera kki ku bulamu?
© Copyright Got Questions Ministries