settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala kikirizibwa okusabira ekintu ekimu emirundi egiddiriŋŋana oba tulina kusabira ekintu omulundi gumu?

Okuddamu


Mu Lukka 18: 1-7. Yesu akozesa olugero okulaga amakulu agali mukufubira mu saala. Anyumya olugero olw’omukazi namwandu eyaja eri omulamuzi ataali mwenkanya ng’ayagala omulamuzi amulamule n’emulabe we. Olw’okulemerako kwe mu kusaba, omulamuzi yakkiriza nasala omusango. Ensonga Yesu gyeyali ategeeza eri nti, bwaba omulamuzi asobola okukkiriza okusaba kw’omuntu alemeddeko mu kusaba obwenkanya, Katonda tasingewo okuddamu essala za —“abalonde be” (7) — singa banyikiira mu kusaba? Olugero terusomesa ng’abalala bwebalowooza nti bwetunyiikira okusabira ekintu, Katonda atekeddwa okukituwa. Wabula, Katonda asuubiza okuwoolera ababe, akubawolereza, okusonyiwa ensobi zabwe, okusala omusango ogw’obwenkanya, era okubalokola eri abalabe babwe. Akikola kubanga mwenkanya, mutukuvu, era akyawa ekibi. Mu kuddamu esaala, atuukiriza ebisuubizo bye era araga amanyi ge.

Yesu awa eky’okulabirako ekirala eky’esaala mu Lukka 11:5-12. Okufaanana ku lugero lw’omulamuzi ataali mwenkanya, obubaka bwa Yesu buli nti singa omuntu bweyerekereza asobole okuwa oyo eyetaaga, Katonda ajakukola ku byetaago bye n’okukirawo, olw’okubanga ye tewali tewali kusaba kwonna mumumalako mirembe. Wano era, ekisuubizo tekiri nti tuja kufuna byonna byetusaba bwetweyongerayongera okubisaba. Ekisuubizo kya Katonda eri abaana be kiri ku kutuuwa ebyo byetwetaaga wabula ssi ebyo byetegala. Era amanyi ebyo byetwetaaga okusinga bwetubimanyi. Ekisuubizo kyekimu kiddibwamu mu Matayo 7:7-11 ne Lukka 11:13, nga “ekirabo ekirungi” kyogerwako okuba omwoyo omutukuvu.

Ebyawandiikibwa bino byombi bituzaamu amanyi okusaba era okweyongerayongera okusaba. Tewali nsobi kusaba kintu emirundi egiddiriŋŋana. Kasita oba nga kyosaba kiri mu kwagala kwa Katonda (1 Yokaana 5:14-15), sigala ng’osaba okutuusa nga lwaddamu okusaba esaala yo oba lwajawo ekyo kyoyaga ku mutima gwo. Ebiseera ebisinga Katonda atusindiikiriza okulindirira okuddibwamu kwesaala zaffe okusobola okutusomesa obuguminkiriza n’okulemerako. Ebiseera ebimu tusaba ekintu nga ssi kekaseera ka Katonda keyateekateeka. Ebiseera ebimu tusaba ekintu nga si kwekagala kwa Katonda eri obulamu bwaffe olwo Katonda naddamu ne “nedda.” Esaala ssi kutwaala byetaago byaffe eri Katonda; wabula kutwaala kuwaayo okwagala kwa Katonda eri emitima gyaffe. Sigala ng’saba, sigala ng’konkona, sigala ng’ononya okutuusa Katonda lwaddamu okusaba kwo oba lwakumatiza nti okusaba kwo tekuli mu kwagala kwe gyoli.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala kikirizibwa okusabira ekintu ekimu emirundi egiddiriŋŋana oba tulina kusabira ekintu omulundi gumu?
© Copyright Got Questions Ministries