settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Kikyamu abagalana okubeera awamu bombi nga tebanafumbiriganwa?

Okuddamu


Ddala Kikyamu abagalana okubeera awamu bombi nga tebanafumbiriganwa?

Okuddamu:

Eky’okuddamu eri ekubuuzo kino kisinziira ku kiki kyotegeeza bwogamba “okubeera awamu bombi” Bwebaba nga “okubeera awamu” kitegeeza kubeera mu nju emu, nga tebenyigira mu kikolwa kya kwegatta, awo tekiba kikyamu. Ssi kikyamu. Amazima gali nti tewali kibi kiba kikoleddwa abagalana bwebaba nga babeera mu nju emu singa baba tebenyigira mu kikolwa kya kwegatta.

Wabula, kino ssi kyekitegeezebwa emirundi egisinga omuntu bwayogera ku “kubeera bombi” ekintu ebiseera ebisinga ekiteegeza “okunyigira mu bikolwa eby’okwegatta nga tebanafumbiriganwa” Okubeera awamu kitegeeza “okubeera mu nju emu okusobola okwenyigira mu bikolwa eby’omukwano” Kisumbirwa nti okunyumya omukwano kubeerawo abagalana bombi bwebabeera bombi.

Olw’ekigendererwa ky’emboozi eno, tugenda okutwala okubeera awamu okutegeeza “okubeera mu nju emu okusobola okwenyigira mu kikolwa ky’omukwano. Bwetukozesa amakulu gano nga tutegeeza okubeera awamu, kiba kikyamu okubeera awamu. Bayibuli egaana era ewakanya okwegatta mu mukwano nga toli mu bufumbo, wamu n’ebikolwa ebirala byonna eby’obukaba (Ebikolwa 15:20; Abaruumi 1:29; 1 Abakkolinso 5:1; 6:13, 18; 7:2; 10:8; 2 Abakkolinso 12:21; Abaggalatiya 5:19; Abaefeeso 5:3; Abakkolosaayi 3:5; 1 Abasessaloniika 4:3-5; Yudda 1:7). Bayibuli ewagira okuguminkiriza okwenyigira mu mukwano singa oba tonnafumbirwa oba tonnawasa. Okwegatta nga tonnafuna bufumbo butukuvu. Okwegatta nga toli mufumbo kikyamu ng’okukola obwenzi ng’oli mufumbo wamu n’ebikolwa ebirala byonna eby’obukaba kubanga byonna birimu okwegatta n’omuntu gwotanawasa oba gwotanafumbiriganwa naye.

Tubeera mu nsi eyeyongedde ennyo okuwagira abantu okubeera awamu nga tebanafumbiriganwa. Okusinziira Burna 2016 (soma Bana eye 2016), ekintu ekisinga okwekwasibwa kwekulaba nga abantu basobola okukwatagana (ebitundu 84 ku 100); ebintu ebirala mulimu okuseevinga ku sente z’okupangisa (ebitundu 5 ku kikumi), n’ensonga endala (ebitundu 9 ku kikumi) (www.barna.com/research/majority-of-americans-now-believe-in-cohabitation, accessed 9/15/21). Okukkiriza okubeera awamu kuno kusangibwa ne mu Bakristaayo, nga ebitundu 41 ku kikumi bagamba nti okubeera awamu nga temunnafumbiriganwa “kirowoozo kirungi” (ibid). Mu 2019, abanonyereza aba Pew Research basanga nga ebitundu 58 ku 100 ku balokole abazungu bakkiriza okubeera awamu nga tebannafumbiriganwa bwebaba nga abagalana balina enteekateeka z’okufumbiriganwa (obisanga ku www.crosswalk.com/family/marriage/christians-and-cohabitation-what-you-need-to-know.html, accessed 9/15/21). Newankubadde nga lero abantu abasinga bawagira okubeera awamu, obubaka bwa Bayibuli busigala bwebumu: Katonda agaana okwenyigira mu kwegatta nga temuli bafumbo.

Waliwo ensonga endala ezamanyi eziretera okubeera awamu nga tonnafumbirwa oba nga tonnawasa zosobola okugatta ku kulunŋŋamizibwa kwa Bayibuli. Ekirowoozo ky’okubeera awamu okuba ekirungi olw’okuba nti “kigezesa enkolagana oba enekola” ng’omuntu tanasalawo kuyingira mu bufumbo obunamuswaza. Okwawukana ku magezi agabulijjo, okubeera awamu nga temunafumbirwaggana tekufuula tekuletera bufumbo kuba bwamanyi. Okumu okumu kwazuula nti abagalana abali babaddeko bombi balina emikisa 46 ku kikumi okwawukana okusinga abagalana abalala. (DeMaris, A., and Rao, K. V., “Premarital Cohabitation and Subsequent Marital Stability in the United States: A Reassessment,” Journal of Marriage and Family 54, 1992, based on the National Survey of Families and Households, 178–190). Okunonyereza okulala okwafulumira mu Rutgers University(Soma Lutigaasi Yunivasite) kwazuula nti okubeera awamu nga temunnafumbiriganwa kwabulabe eri okuwangalira mu bufumbo era nekiwabula nti abagalana abatali bafumbo bewale okubeera bombi nadala singa baba nga balina abaana olw’ebintu ebingi ebitukaawo nga tebiteekeddwateekeddwa n’obusambatuko obutukaawo olw’okubeera awamu nga temuli bafumbo. (Popenoe, D., and Whitehead, B. D., “Should We Live Together? What Young Adults Need to Know about Cohabitation before Marriage,” The National Marriage Project, the Next Generation Series, Rutgers, the State University of New Jersey, 1999).

Eri abagalana ababeera awamu wabula nga tebenyigira mu kikolwa kya kwegatta, nayo waliwo ebizibu ebituukawo.

1) Ebiseera ebisinga, waberawo obukaba. Tulina okulowooza ku bujulizo bwaffe eri abatakkirza mu nsi nga tukiikirira Kristu. Abantu abamu balowooza nti omukazi n’omusajja ababeera awamu benyigira mu kikola ky’okwegata. Nebwebaba nga ssi batuufu mu ndowooza zabwe, bwekirabika. Katonda atuyita nga abakkiriza okuwanika omutindo. “Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu” (Abaefeeso 5:3). Okubeera awamu kisonga ku bwenzi emirundi gyonna.

2) Okubeera mu nju emu nga temuli bafumbo kireeta okukemebwa okungi okwenyigira mu bikolwa byobwenzi. Abagalana ababeera awamu singa basalawo okulinda okwegatta beeteka mu kifo webasobola okukuusakuusa era n’okukkiriza sitaani okubakema. Bayibuli etugamba okwewala obwenzi obukaba, era obuteteeka mu kukemebwa (1 Abakkolinso 6:18).

3) Tulina obuvunanyizibwa eri baganda baffe mu Kristu. Bayibuli etugamba nti tetulina kwesitaza muntu yenna (Abaruumi 14:19-19) Tekimala kugamba nti “Tetulina kikyamu kyetukola”, “Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.”(Olnyiriri 19).

4) Abagalana bwebaba nga babeera wamu wabula nga tebanafumbiriganwa, waliwo ebintu bisatu kwebalina okulonda: (1) basigale nga babeera bombi; (2) buli omu afune enju yye; oba (3) bafunmbirigane kati. Abagalana bangi balondawo okufumbirigana amangu mu kooti, nebakola emikolo egy’omunda okubasobozesa okukola ebintu mu “mateeka” olwo oluvanyuma nebalyoka bagenda mu Kanisa okubagatta. Ku kulondako ku bintu bisatu ebiri wagulu, namba (2) ne (3) kwe kulondawo oba okusalawo okuweesa Katonda ekitiibwa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Kikyamu abagalana okubeera awamu bombi nga tebanafumbiriganwa?
© Copyright Got Questions Ministries