settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okubatiza kulina mugaso kki?

Okuddamu


Okubatiza kwekumu ku biragiro ebibiri Yesu byeyalagira ekanisa. Nga tanaba kulinya mu Ggulu, Yesu yagamba "Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo"(Matayo 28:19-20). Ebiragiro bino biraga nti ekanisa erina obuvunanyizibwa okusomesa ekigambo kya Katonda, okufuula bayigirizwa, n'okubatiza abayigirizwa abo. Ebintu bino bilina okukolebwa buli wamu ("Mu mawanga gonna") "okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo." Bwekuba nga kukoledwa, okubatiza kulina omugaso kubanga Yesu yakulagira.

Okubatiza kwakolebwa ng'ekanisa tenatandika. Abayudaaya babatizanga abantu abakyuukanga okufuuka abayudaaya nga akabonero akalaga okulongosebwa kw'abakyuusiddwa. Yokaana omubatiza yakozesa okubatiza okutekateka ekkubo lya Mukama ng'alagira abantu bonna wabula si bamawanga bokka, okubatizibwa kubanga buli omu yali yetaaga okwenenya. Wabula okubatiza kwa Yokaana omubatiza, kwali kutegeeza okweneenya si kwekubatiza kw'abakritaayo, nga bwe kwali mu Ebikolwa 18:24-26 ne 19:1-7. Okubatiza kw'abakristaayo kulina omugaso ogweyongera ebuziba.

Okubatiza kulina okukolebwa mu linnya lya Kitafe, omwana, n'omwoyo omutukirivu—era kino kyekikufuula okubatiza kw'abakristaayo. Okuyita mu nkola eno, omuntu akkirizibwa okuyingira mu kus'ekimu ne Kanisa. Bwetulokoka, "tubatizibwa" n'omwoyo okuyingira omubiri gwa Kristu, nga ye Kanisa. 1 Abakolinso 12:13 egamba,"Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu." Okubatiza kw'amazi, kwekukakasa okubatiza kw'omwoyo.

Okubatiza kw'ekikristaayo y'engeri omuntu gyalangirila mu lujjudde okukkiriza kwe n'obuyigirizwa. Mu mazzi ng'omuntu abatizibwa, ayogera mu lujjudde awatali kwatula bigambo nti,"Njatula okukkiriza kwange mu Kristu; Yesu annaazizako ekibi kumwoyo gwange, era kakano nina obulamu obuggya obwokutukuzibwa.

Okubatiza kw'ekikristaayo kulaga, okuffa, okuziikibwa, n'okuzuukira kwa Kristu. Mu ngeri yemu, era kulaga okufa kwaffe eri ekibi, n'obulamu obuggya mu Kristu. Omwonoonyi bwayatula Yesu okuba Omulokozi we, affa eri ekibi (Abaruumi 6:11) era azuukizibwa mu bulamu obuggya (Abakkolosaayi 2:12). Okunnyikibwa mu Mazzi kuteegeza okuffa eri ekibi, era okunnyululwa mu mazzi kutegeeza obulamu obulongoseddwa, obutukkirivu, obugobererwa obulokozi. Abaruumi 6:4 egamba, "Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya."

Okubatiza mu byangu, bwebujulizi obulabibwa wabweru obujulira okukyusibwa okutuseewo munda, mu bulamu bw'omukristaayo. Okubatizibwa kikolwa kyakugondera Mukama waffe omuntu kyakola ng'amaze okulokoka. Newankubadde ng'okubatiza kukwatagana n'okulokoka, si kwekuleta okulokoka. Bayibuli eraga emirundi mingi ensengekeka entufu.

1) Omuntu akkiriza Mukama waffe Yesu.

2) Nabatizibwa.

Ensengeka eno erabibwa mu Bikolwa 2:41,"Awo abakkiriza ekigambo kye (ekigambo kya Petero) ne babatizibwa: (Era laba Ebikolwa 16:14-15).

Omuntu eyakakkiriza Yesu Kristu alina okwagala okubatizibwa mangu ddala. Mu Bikolwa 8, Firipo ayogera "amawulire amalungi agakwata ku Yesu eri Omuwesiyopya omulaawe. Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa? (Enyiriri 35-36). Amangu ago, bayimiriza amagaali, era Firipo nabatiza omusajja.

Okubatiza kulaga omukkiriza okusa ekimu n'okuffa, okuziikibwa, n'okuzuukira kwa Kristu. Buli wamu enjiri webuliirwa abantu ne bakkiriza Kristu, balina okubatizibwa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okubatiza kulina mugaso kki?
© Copyright Got Questions Ministries