settings icon
share icon
Ekibuuzo

Manya ntya oba nga ndi mu mukwano?

Okuddamu


Manya ntya oba nga ndi mu mukwano?

Okuddamu:

Omukwano gwa manyi. Gufuga era guletera enkyukakyuka nyingi mu bulamu bwaffe. Tukola okusalawo kungi okukulu nga twesigamye ku ngeri gyetuwuliramu, era netuyingira obufumbo kubanga tuwulira nga “tuli mu mukwano”. Eno esobola okuba nga yensonga lwaki obufumbo bungi bukomerera busattuluddwa. Bayibuli etusomesa nti okwagala okutuufu ssi mpulira oba ebisaasaazi ebija nebigenda wabula kusalawo. Tetulina kwagala bwagazi abo abatwagala; tulina okwagala naabo abatukyawa, mu ngeri yemu Kristu gyeyagalamu abao abatayagalika (Lukka 6:35). “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; kwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.” (1 Abakkolinso 13:4-7)

Kyangu “okugwa mu mukwano” n’omuntu yenna, wabula waliwo ebibuuzo byetulina okwebuza nga tetunasalawo oba kyetuwulira kwagala kutuufu. Okusookera ddala, omuntu oyo Mukristaayo, oba ddala yawa obulamu bwe eri Kristu? Ddala akkiriza Kristu olw’obulokozi?. Era, bwoba olowooza okuwaayo omutima n’empulira yo eri omuntu oyo omu, olina okwebuuza oba osobola okukkiriza omuntu oyo wagulu w’abantu bonna era okuteeka enkolagana okuba ey’okubiri kw’eyo gyolina ne Mukama. Bayibuli etugamba nti abantu babiri bwebafumbiriganwa, bafuuka omubiri gumu (Oluberyeberye 2:24; Matayo 19:5).

Ekintu ekirala kyolina okulowoozako kiri nti, omuntu oyo ddala asaana okuba omwagalwa wo? Ddala atadde Katonda ku mwanjo era okuba nga yasooka mu bulamu bwe? Ddala asobola okuwaayo amanyi ge, obudde bwe okusobola okuzimba enkolagana mu bufumbo enabeerera emirembe gyonna? Tewali kipima kisobola kutubuulira oba tuli mu mukwano n’omuntu yenna, wabula kikulu okukebera n’etutegera oba tugoberera mpulira yaffe oba bisaasaazi byaffe oba tugoberera kwagala kwa Katonda eri obulamu bwaffe. Okwagala okutuufu tekuwulirwa buwulizi kyoka wabula era kuba kusalawo. Okwagala kwa Bayibuli kwekwagala omuntu ebiseera byonna wabula ssi lwetuwulira lwoka nga tuli “mu mukwano”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Manya ntya oba nga ndi mu mukwano?
© Copyright Got Questions Ministries