settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki Katonda yalonda Israeli okuba amabntu be abalonde?

Okuddamu


Mu kwogera ku nsi ya Israeli, Ekyamateeka 7:7-9 etugamba “Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna:8 naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n'engalo ez'amaanyi, n'abanunula mu nnyumba y'obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri.Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi;”

Katonda yalonda ensi ya Israeli okuba abantu Kristu mwanayita okusobola okuzaalibwa—okuba otulokole okutujja mu kibi n’okufa. (Yokaana 3:16). Katonda yasooka kusuubiza mulokozi nga Adamu ne Kaawa bamaze okw’onoona (Oluberyeberye 3). Katonda oluvanyuma yalaga nti omulokozi agenda kuva mu lunyiriri lwa Yiburayimu, Isaaka, ne Yakobo (Oluberyeberye 12:1-3). Yesu Kristu y’ensonga enkulu lwaki Katonda yalonda Israeli okuba abantu be abalonde. Katonda yali teyeetaga kuba na bantu balonde, wabula yasalawo okukikola bwatyo. Yesu yalina okuva mu gwanga erimu era Katonda kyeyava alonda Israeli.

Wabula, ensonga lwaki Katonda yalonda Israeli teyali ya kuzaala Mulokozi kyokka, Katonda yayagala Israeli egende esomese ebikwata ku Katonda. Israeli lyali lirina kuba gwanga lya Bakabona, ba Nnabbi, era abaminsane eri ensi. Ekigendererwa kya Katonda kya Katonda kyali nti Israeli ebeere egwanga ely’enjawulo erisongera abalala eri Katonda n’ekisuubizo kye eky’omununuzi,era omulokozi. Ebiseera ebyasinga Israeli yalemererwa ekkatala lino. Wabula ekigendererwa kya Katonda— okuleeta omulokozi mu nsi—kyatuukirizibwa bulungi okuyita mu Yesu Kristu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki Katonda yalonda Israeli okuba amabntu be abalonde?
© Copyright Got Questions Ministries