Ekibuuzo
Kitegeeza ki nti Katonda Kwagala?
Okuddamu
Katulabe engeri Bayibuli gyenyonyola okwagala, era awo tulyoke tulaba engeri ezimu Katonda bwalabisibwa nga (Katonda) kwagala. “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna:”(1Abakkolinso 13:4-8a). Katonda bwati bwonyonyola okwagala, era kubanga Katonda kwagala, (1 Yokaana 4:8), ekyo kyali.
Kwagala (Katonda) teyekakatika ku muntu yenna. Abo abagya gyali bagya kubanga baba bawulidde era nga bategedde okwagala kwe. Kwagala (Katonda) alaga ekisa eri bonna. Kwagala (Yesu) yagenda akola ebulungi eri buli muntu nga talina kyekubiira. Kwagala (Yesu) teyegoomba bintu abalala byebaalina, yabeera mu bulamu obwawansi era teyemulugunya. Kwagala (Yesu) teyeraaga olw’ekyo kyeyali mu mubiri, newankubadde nga yandiwangudde buli omu gweyasanga. Kwagala (Yesu) takaka bantu kumogendera. Katonda teyakaka mwana we kumugondera, wabula Yesu yasalawo kyeyagalire okugondera Kitaawe mu Gulu. “naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.” (Yokaana 14:31). Kwagala (Yesu) yali/era ebiseera byonna teyelowoozaako tekka.
Okwagala kwa Katonda tusinga kukulaba mu Yokaana 3:16. “Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.” Abaruumi 5:8 eyogera obubaka bwebumu. “Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.” Tulaba okusinzira mu nyiriri zino nti Katonda ayagala nyo tumwegatteko mu nyumba ye ey’emirembe n’emirembe, mu Gulu. Akubye ekubo ffe okudda gyali bwasasude ebanja ely’ebbi byaffe. Atwagala kubanga yasalawo okutwagala ng’ekikolwa okusalawo kwe. Okwagala kusonyiwa. “ Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.” (1 Yokaana 1:9).
Kitegeeza kki Katonda okuba Kwagala? Okwagala mbala ya Katonda. Okwagala mbala ya Katonda, buntu bwe. Okwagala kwa Katonda tekukontana butukirivu, butukuvu, obwenkanya, oba obusungu bwe. Embala za Katonda zonna zikolela wamu. Buli kimu Katonda kyakola akikolera mu kwagala era mu bwenkanya era ba mutuufu. Katonda kyakulabirako ekitukiridde okyokwagala okutuufu. Ekyewunyisa, Katonda awadde abo bonna abakkiriza omwana we okubeera omulokozi wabwe obusobozi okwagala nga bwayagala, okuyita mu manyi g’Omwoyo mutukuvu. ( Yokaana 1:12; 1 Yokaana 3:1, 23-24).
English
Kitegeeza ki nti Katonda Kwagala?