settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala geyeena yaddala era yamirembe gyonna?

Okuddamu


Geyeena, yaddala, yalubeerera eyogerwako mu Kubikkulirwa 20:11-15 era kwekusala omusango okusembayo nga abaabula tebanakasukibwa mu nyanja y’omuliro. Tumanyi okuva mu Kubikkulirwa 20:7-15 nti omusango guno guja kubaawo oluvanyuma lw’ekyaasa era oluvanyuma nga sitaano akasukiddwa mu nyanja y’omuliro ensolo ne nabbi w’obulimba gyebali (Okubikkulirwa 19:19-20; 20: 7-10). Ebitabo ebibikkuliddwa (Okubikkulirwa 20:12) birina ebiwandiiko ebikwata ku buli kimu omuntu kyeyali akoze, ekibi oba ekirungi kubanga Katonda amanyi byonna ebyali bikoleddwa, byogeddwa, oba ebyali birowoozeddwa era alisasula n’okubonereza buli omu okusinziira ku bikolwa bye (Zabbuli 28:4; 62: 12; Abaruumi 2:6; Okubbikulirwa 2:23; 18:6; 22:12).

Kyewunyisa nti abantu abasinga obungi bakkiriza mu gulu okuba erya ddala wabula ssi mu geyeena. Okusinziriza ku Bayibuli, gweyeena yaddala nga egulu bweliri erya ddala. Bayibuli esomesa bulungi nti geyeena gyeri era ky’ekifo ababi gyebasindikibibwa oluvanyuma lw’okufa. Ffena twayonoona eri Katonda (Abaruumi 3:23). Ekibonerezo ekitugwaana kya kufa (Abaruumi 6:23). Olw’okuba ebibi byafe byonna biri eri Katonda (Zabbuli 51:4), era olw’okuba nti Katonda takoma era tagwaawo, ekibonerero ky’ekibi, nga kwe kufa, kirina okuba nga tekigwaawo era nga kyaluberera. Geyeena yaluberera era okufa kwa luberera kwetwafuna olw’ekibi kyaffe.

Ekibonerezo ky’ababi abafa mu geyeena kyogerwaako mu byawandiikibwa nga “muliro ogutaggwaawo”(Matayo 25:41), “omuliro ogutazikira”( Matayo 3:12), “ensonyi n'okunyoomebwa okutaggwaawo.”(Daniyeeri 12:2), “ensonyi n'okunyoomebwa okutaggwaawo.”(Makko 9:44-99), ekifo ewali “okulumizibwa n’omuliro” (Lukka 16:23-24), “okuzikirira emirembe n'emirembe” (2 Abassesaloniika 1:9), ekifo awali enyanja eyaka “ n’omuliro n'ekibiriiti”(Okubikkulirwa 14:10-11), “omuliro n'ekibiriiti”, ababi “banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.” (Okubikkulirwa 20:10).

Ekibonerezo ky’ababi mu geyeena tekikoma era kiringa esanyu eriri mu butukukirivu mu gulu. Yesu yenyini agamba nti ekibonerezo mu geyeena kyalubeerera g’obulamu mu gulu (Mathew 25:46). Ababi bolekedde obusungu bwa Katonda n’ekiruyi emirembe gyonna. Bonna abali mu geyeena balimanya nti ekibonerezo kyabwe kyabwenkanya era nti omusango gubasinga (Ekyamateeka 32:3-5). Yye, geyeena yaddala. Yye, geyeena kifo kyakubonyabonyezebwa era kiriba emirembe gyonna nga tekikoma Yebaazibwe Katonda, okuyita mu Yesu, tusobola okuwona ekibambulira kino eky’emirembe n’emirembe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala geyeena yaddala era yamirembe gyonna?
© Copyright Got Questions Ministries