settings icon
share icon
Ekibuuzo

Esaala zange ziyinza zitya okuddibwamu?

Okuddamu


Abantu bangi bakkiriza nti asaala okuddibwamu kitegeeza Katonda kubawa ebyo ebimusabiddwa. Ebisabiddwa bwebitaweebwa oyo asabye, abantu abo bakirabanga nga esaala etaddiddwaamu. Wabula ntegeera nkyamu ey’esaala. Katonda addamu esaala buli saala esabiddwa.Ebiseera ebimu Katonda addamu ne “Nedda” oba “Lindako.” Katonda asuubiza okuddamu esaala zaffe singa tusaba okusinziira mu kwagala kwe. “Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira: era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.” (1 Yokaana 5;14-15).

Kitegeeza kki okusaba okunziira ku kwagala kwa Katonda?Okusaba okusinziira ku kwagala kwa Katonda kitegeeza kusaba ebintu ebigulumiza era ebiweesa Katonda ekitiibwa oba/era okusaba ebyo Bayibuli byeraga nga kwekwagala kwa Katonda. Bwetusaba ekyo ekitagulumiza Katonda oba ekitali kwagala kwa Katonda eri obulamu bwaffe, Katonda taja kutuwa ebyo byetusabye. Tumanya tutya okwagala kwa Katonda? Katonda asuubiza amagezi bwetugasaba. Yakobo 1:5 egamba, “ Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.” Ekifo awalungi awokutandikira wali mu 1 Abasessaloniika 5:12-24, eraga ebintu ebiri mu kwagala kwa Katonda gyetuli. Gyetukoma okutegeera ekigambo kya Katonda, gyetukoma okumanya kki eky’okusabaira (Yokaana 15:7). Gyetukoma okumanya biki eby’okusabira, Katonda gyakoma okudamu esaala zaffe ne Yye!

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Esaala zange ziyinza zitya okuddibwamu?
© Copyright Got Questions Ministries