settings icon
share icon
Ekibuuzo

Entebe ey'obwakabaka ennene enjeru ey’omusango yeki?

Okuddamu


Entebe ey'obwakabaka ennene enjeru ey’omusango eyogerwako mu Kubikkulirwa 20:11-15 era kwekusala omusango okusembayo nga abaabula tebanakasukibwa mu nyanja y’omuliro. Tumanyi okuva mu Kubikkulirwa 20:7-15 nti omusango guno guja kubaawo oluvanyuma lw’ekyaasa era oluvanyuma nga sitaano akasukiddwa mu nyanja y’omuliro ensolo ne nabbi w’obulimba gyebali (Okubikkulirwa 19:19-20; 20: 7-10). Ebitabo ebibikkuliddwa (Okubikkulirwa 20:12) birina ebiwandiiko ebikwata ku buli kimu omuntu kyeyali akoze, ekibi oba ekirungi kubanga Katonda amanyi byonna ebyali bikoleddwa, byogeddwa, oba ebyali birowoozeddwa era alisasula n’okubonereza buli omu okusinziira ku bikolwa bye (Zabbuli 28:4; 62: 12; Abaruumi 2:6; Okubbikulirwa 2:23; 18:6; 22:12).

Era mu kaseera kano, ekitabo ekirala ekiyitibwa ekitabo ky’obulamu kibikulwa, (Okubikkulirwa 20:12). Kino kyekitabo ekisalawo oba omuntu alisikira obulamu obutaggwaawo wamu ne Katonda oba alifuna ekibonerezo eky’emirembe gyonna mu nyanja eyaka n’omuliro. Newankubadde Abakristaayo baliwa embalirira olw’ebikolwa byabwe, basonyiyibwa mu Kristu era amannya gabwe gali mu “kitabo ky’obulamu okuva ku kutondebwa kw’ensi” (Okubikkulirwa 17:8) Era tumanyi okuva mu byawandiikibwa nti ku lunaku lw’omusango luno, abafu lwebalisalirwa omusango olw’ebikolwa byabwe byebakola (Okubikkulirwa 20:12) era nti “Era omuntu yenna ataalabika ng'awandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro.”(Okubikkulirwa 20:15).

Ngeri gyekiri nti wagenda kubaayo omusango ogusembayo eri abantu bonna, ebyawandikibwa bingi byogera nti abatakkiriza wamu nabakkiriza bombi bagenda kiyimirira mu maaso y’omusango. Buli muntu aliyimirira mu maso ga Kristu okusalirwa omusango olw’ebikolwa bye. Newankubadde kiri lwatu nti entebe ennene enjeru ey’omusango y’entebe y’omusango ogusembayo, Abakkiriza tebakkiriza ngeri gyekwatagana ku misango emirala egyogerwako mu Bayibuli, naddala, ani alisalirwa omusango ku ntebe enjeru ennene.

Abakkiriza abamu bakkiriza nti ebyawandiikibwa biraga okusala emisango kwa mirundi esatu. Omusango ogusooka gwe gw’endiga n’embuzi oba okusalira omusango okw’amawanga (Matayo 25: 31-36). Kuno kutuukawo nga akaseera okokubonaaboona kawedde wabula ng’ekyasa tekinatuukawo; ng’ekigendererwa kyakwo kwekumanya abo abanayingira mu bwakabaka obw’ekyasa. Omusango ogw’okubiri kuliba okusala omusango ogw’ebikolwa by’abakkiriza okuyitibwa “entebe y’omusango eya Kristu” (2 Abakkolinso 5:10). Ku kusala omusango kuno, abakkiriza balifuna emitendera egy’enjawulo okusinziira ku bikolwa byabwe n’okuweereza Katonda. Okusala omusango okw’okusatu kwekuliba ku ntebe ennene enjeru ng’ekyasa kiwedde (Okubikkulirwa 20:11-15). Kuno kwesalira omusango abo bonna abatakkiriza nga balisalirwa omusango okusinziira ku bikolwa byabwe era olwo basindikibwe eri ekibonerezo eky’olubeerera mu nyanja eyaka n’omuliro.

Abakkiriza abalala bakkiriza nti emisango gyino gy’onsatule gyogera ku musango gwegumu ogusembayo, wabula si misango esatu egyawukanye. Kwegamba, okusala omusango oba omusango gw’entebe ennene enjeru mu Kubikkulirwa 20:11-15 kuliba kusala musango eri abakkiriza n’abatakkiriza wamu. Abo abalisanga nga amannya gabwe tegali mu kitabo kyabulamu balisalirwa omusango okumanya ekigera ky’ekibonerezo kyebalifuna mu nyanja ey’omuliro. Abo abalowooza bwebati bakkiriza nti Matayo 25:31-46 nyinyolola ndala eraga kki ekigenda okutuukawo ku ntebe ennene ey’omusango enjeru. Bagamba nti ebiva mu kusala omusango kuno bifanagana n’ebyo ebiva mu kusala omusango ku ntebe enjeru ennene mu Kubikkulirwa 20:11-15. Endiga (Abakkiriza) bayingira mu bulamu obutaggwaawo, ate embuzi (Abatakkiriza) bakanyugibwa mu “kuboonaboona okw’emirembe gyonna” (Matayo 25:46).

Endowooza yonna omuntu gyabera nayo ekwataggana ku ntebe ennene enjeru ey’omusango, kikulu obugya maaso ku mazima agali ku musango oba emisango ogyijja. Okusokera ddala, Kristu yaliba omulamuzi, abatakkiriza bonna balisalirwa omusango Kristu,era balibonerezebwa okusinziira ku bikolwa byabwe. Bayibuli eyogera bulungi nti abatakkirza bali mu kweterekera busungu bwa (Abaruumi 2:6). Abakkiriza balisarwa omusango Kristu, wabula, olw’okuba nti obutukirivu bwa Kristu bwatutekebwako era nti amannya gaffe gawandikibwa mu kitabo ky’obulamu, tuliweebwa empeera mu kifo kyekibonerezo okusinziira ku bikolwa byaffe. Abaruumi 14:10-12 egamba nti ffena tuliyimirira mumaaso g’entebe y’omusango eya Kristu era nti buli omu aliwa embalirira eri Katonda.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Entebe ey'obwakabaka ennene enjeru ey’omusango yeki?
© Copyright Got Questions Ministries