settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ku nsomesa y’ekikaluviini n’ekyaminiyani- nsomesa kki entuufu?

Okuddamu


Ekikaluviini n’ekyaminiyani nsomesa ekwata ku Katonda egezaako okunyonyola enkolagana wakati w’obuyinza bwakatonda n’obuvunanyizibwa bw’omuntu mu nsonga z’obulokozi. Ensomesa y’ekikaluviini etandikibwa John Calvin (Yokaana Kaluviini). Omusajja omufalansa aliwo wakati w’omwaka 1560-1609.

Ensonga zombi zisobola okuwumbibwawumbibwa mu butundu butano. Kaluviini agamba nti omuntu yayononeka nnyo era talina kyasobola kukola kulokolebwa. Ate Aminiyaasi agamba omuntu alina ekitundu kyakola kukulokolebwa kwe. Ensomesa ya Kaluviini egamba nti omuntu mwononefu nnyo okubako kyakola kukulokolebwa kwe egamba nti nti omuntu buli kintu kyonna ku muntu kyayononebwa ekibi; era yensonga lwaki omuntu tasobola kuja eri Katonda ku lwabwe. Ensomesa ya Aminiyaasi egamba nti buli kamu ku muntu kayononebwa olw’ekibi, wabula ssi kutuuka ku kigera eky’omuntu eky’omuntu okuba nga tasobola kuteeka kukkiriza kwe mu Katonda ku lulwe. Ensomesa y’Amaniyani eyasooka ewakanya ensomesa egamba nti omuntu alina kyasobola kululwe okulokolebwa era ewagira ensomesa efanaanako ku ya Kaluviini. (newankubadde ekigera ky’okwononebwa “kw’omuntu olw’ekibi” nekyekutegeeza kikyakubaganyizibwako ebirowoozo mu abo abakkiririza mu nsomesa y’Aminiyaasi). Okutwaliza awamu, ab’AbAminiyaasi bakkiriza nti waliwo ekitundu ekyamassekati wakati w’ensomesa ya Kaluviini ne Aminiyaasi. Mu buufu buno, omwononyi aba awalulibwa okusembera Kristo ng’asobozesebwa ekisa ekiwalula omwonoonyi ekiri mu buli muntu yenna alina omubiri, era omwononyi ono asobola obusobozi okulondawo obulokozi.

Ensomesa ya Kaluviini era erinamu enzikiriza egamba nti Katonda okulonda abanalokolebwa tekuliko kakwakkulizo konna, wabula eya Aminiyaasi esomesa nti waliwo akakwakkulizo nga Katonda alonda abalirokolebwa. Ensonga ekkiriza nti waliwo obukwakulizo ku kulonda etegeeza nti Katonda alonda abantu okulokolebwa nga asinzidde ku kwagala kwe kwokka, wabula ssi ku kintu kyonna ekirabika nga ekisaana ku muntu. Okulonda okusinzira ku bukwakkulizo egamba nti Katonda alonda abo abalokolebwa ng’asinziira ku kumanya kwe okwabo abakkiriza Kristo okulokolebwa, kwegamba nti asinziira ku kakwakkulizo nti omuntu alina okulonda Katonda.

Ensomesa ya Kaluviini eraba okufa kwa Yesu ku musalaba olw’ekibi tekwali kwa buli muntu. Kitegeeza kwali kwabo bokka abalonde. Aminiyaasi asomesa nti okufa kwa Yesu kwali kwabuli muntu. Wabula okufa kwe kutandika okuyamba singa omuntu ateeka okukkiriza kwe mu yye(Yesu). Eno y’ensonga ekyasinze okuwakanyizibwako mu nsonga ettano.

Ensomesa ya Kaluviini era egamba nti Ekisa kya Katonda tekisobola kuganiibwa, wabula Aminiyaasi egamba nti omuntu asobola okugaana ekisa kya Katonda. Ensomesa y’ekisa ekitaganika egamba nti Katonda bwayita omuntu okulokoka, omuntu oyo tasobola kugaana kugya eri obulokozi. Ensomesa y’ekisa ekiganibwa esomesa nti Katonda ayita abantu bonna okulokoka, wabula abantu bagaana okuyita kwa Katonda.

Kaluviini asomesa nti Katonda akuuma omuntu alokose era omuntu oyo tasobola kufiirwa bulokozi. Kino kitegeeza nti omuntu alondeddwa Katonda tasobola kwegaana Kristu oba okumuvirako ddala. Aminiyaasi ate ye nasomesa nti okusigala nga oli mulokole kuliko aakwakkulizo. Kino kitegeeza nti omukkiriza mu Kristu asobola okusinziira ku kwagala kwe okuva ku Kristo era asobola okufiirwa obulokozi. Wabula abakkiriza mu nsomesa y ‘Aminiyaasi leero tebakkiriza mu nsomesa eyo wabula bakkiriza nti omuntu alokose asigala mulokole emirembe gyonna.

Kakano ketumaze okulaba enjawulo eri wakati w’ensomesa y’Aminiyaasi ne Kaluviini, ku nsomesa zombi, eruwa entuufu? Kwewunyisa nnyo okutegeera nti mu mubiri gwa Kristo waliwo okutabika kungi okwensomesa ya Kaluviini ne Aminiyaasi. Waliwo Abakkiriza bangi besanga baggatise ensomesa zombi. Enkyenkomerero, tulaba nga ensomesa zombi zigezaako okunyonyola ebitanyonyolekka. Bantu mu buntu bwabwe tebasobola kutegeera nsonga eno kugyivunuuka. Kituufu Katonda alina obuyinza era amanyi buli kimu. Kiyuufu abantu bayitibwa okukola okusalawo okuteeka okukkiriza kwabwe mu Kristo okulokolebwa. Amazima gano gombi galabika nga agakontana mu maaso g’abantu, wabula mu bwongo bwa Katonda gakola amakulu mangi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ku nsomesa y’ekikaluviini n’ekyaminiyani- nsomesa kki entuufu?
© Copyright Got Questions Ministries