settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala esomesa nti ababi abagenda kusanyizibwawo ekkirizibwa Bayibuli?

Okuddamu


Ensomesa eno egamba nti ababi oba abatakkirza tebegenda kuboona boona mu geyeena wabula basanyizibwawo nga bafudde. Eri abasinga, ensomesa eno ebakolera olw’oukambwe obuli mu kumala emirembe gyonna mu geyeena. Newankuadde nga waliwo ebyawandiikibwa ebiwagira ensomesa y’okusanyizibwawo kw’abonoonyi, ensomesa engazi era eyawamu eya Bayibuli egamba nti abatakkiriza bagenda kubonerezebwa emirembe gyonna mu geyeena. Okukkiriza mu kusanyizibwawo kw’abatakkiriza kuva mu butategeera ku nsomesa wamanga oba emu ku zo. 1) Ebyava mu kibi, 2) Obwenkanya bwa Katonda, 3) Geyeena nga bwefaanana.

Ku nsnonga y’enfaanana ya geyeena, abakkiriza mu kusanyizibwawo kw’abatakkiriza tebategeera kki nyanja y'omuliro kyeyali etegeeza. Amazima gali nti omuntu bwasulibwa mu nyanja y’omuliro n’ekibiriti, asanaawo busanyi. Wabula, enyanja y.omuliro yabuliwo era ya mwoyo. Ssi mubiri gwoka gwegusulibwa mu nyanja eyaka n’omuliro, wabula omubiri, omwoyo, n’emeeme. Omwoyo tegusobola kusanyizibwawo na muliro. Kirabika abantu abatanalokoka bazuukira n’omubiri ogutekeddwatekeddwa okubaawo emirembe n’emirembe nga abalokoka. (Okubikkulirwa 20:13; Ebikolwa 24:15). Emibiri gino biba gigenda kibaawo mirembe na mirembe nga tegisaanawo.

Abakkiriza mu kusanyizibwawo kw’ababi tebategera nsonga y’okuba abalamu emirembe n’emirembe. Batufunti ekigambo ky'oluyonaani aionion (soma ayiyoniyoni), ekivunulwa “emirembe n’emirembe” tekitegeeza “mirembe na mirembe oba lubeerera . Wabula kiragibwa bulungi nti endagaano empya ng’ekigambo aionion kikozesebwa okutegeeza emirembe n’emirembe oba embanga eritakoma. Okubikkulirwa 20:10 ayogera ku sitaani, ensolo, n’ebannabi ab’obulimba okukanyugibwa mu nyanja y’omuliro era okubonyabonyezebwa emisana n’kiro emirembe n’emirembe. Kiragibwa ulungi bano abasatu tebamalibwa oba tebasanyizibwawo olw’okusasukibwa mu nyanja y’omuliro. Entuuko y’abo abattakkiriza mu Kristo lwaki yo ebeera yanjawulo(Okubikkulirwa 20:14-15)? Obukakafu obusinga okumatiza ku nsonga y’okubeera emirembe n’emirembe mu geyeena bwe bwa Matayo 25:46, “Ne bano baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.” Mu lunyiriri luno, ekigambo kyekimu eky’oluyonaani kikozesebwa okutegeeza okuteegeza entuuko y’ababi n’abalungi. Bwebaba nga ababi bagenda kuboonaboona kumala akaseera akagere, kitegeeza nti n’abalungi bagenda kumala akaseera akagere mu kwesiima. Abakkiriza bwebaba bagenda kumala emirembe n’emirembe mu Ggulu, kitegeeza nti n’ababi bagenda kumala emirembe n’emirembe mu geyeena.

Okuwakanya okulala eri okumala emirembe n’emirembe mu geyeena eri abo abalowooza mu kusanyizibwawo kw’ababi kuli nti Katonda aba ssi mwenkanya okubonereza ababi mu geyeena emirembe n’emirembe olw’ebibi byebakoze mu kaseera akatono kebamaze ku nsi. Okuddamu kuli nti ekibi kivaanmu ebibonerezo byalubereera kubanga kikolebwa eri Katonda atagwaawo.. Kabaka Dawudi bweyayenda era natta yagamba, “Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala.” (Zabbuli 51:4). Dawudi yali yanoona eri Baseba ne Uliya, Lwaki Dawudi agamba nti yali ayonoonye eri Katonda yekka? Dawudi yali yakkitegeera ekibi kyonna kikolebwa eri Katonda. Katonda abeerera lubeerera era taggwaawo. Olw’ensong’eyo, ebibi byonna ebikolebwa eri ye bigwaana ekibonerezo yalubeerera. Ensonga ssi banga lyetumaze nga twonoona, wabula embala ya Katonda gwetwononye.

Endowooza endala ekwata ku kumalibwawwo kw’ababi eri nti tuyinza obutabeera basanyufu mu ggulu singa tuba tumanyi abantu baffe abagalwa baboonaboona mu geyeena emirembe gyonna. Wabula, bwetulituuka mu gulu. Okubikkulilwa 21:4 etugamba, “ naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo.” Abagalwa baffe bwebalia nga tebali mu gulu wamu naffe, tuliba tukkiriganya wamu nti tabalina kuba mu gulu era nti bavunanibwa olw’okugaana okukkiriza Yesu okuba omulokozi wabwe. (Yokaana 3:16; 14:6). Si kyangu kutegeera kintu kino, wanula obutabeera bwabwe mu gulu tebugya kutunakuwaza. Essira lyaffe tetulina kuliteeka ku ngeri gyetunyumirwamu egulu nga tetuli wamu nabagalwa baffe, wabula ku ngeri gyetusobola okuyamba abagalwa baffe okutegeera Kristu era okumuteeka obwesige okubeera omulokozi wabwe basobole okuba wamu naffe.

Geyeena yemu ku nsonga osanga lwaki Katonda yasindika Yesu okusasulira omutango gw’ekibi. Okumalibwawo nga tufudde si kyekintu kyetulina okutya, wabula tulina kutya okumala emirembe n'emirembe mu geyeena. Okufa kwa Yesu kwali kufa kwa mirembe na mirembe, era kwesasula ebanja ly’ekibi tusobole obutalisasulira mu geyeena (2 Abakkolinso 5:21) Bwetuteeka okukkiriza kwaffe mu Yesu, tulokolebwa, tusonyiyibwa, tunazibwa, era tusubizibwa okubeera mu gulu emirembe n’emirembe. Wabula bwetugaana ekirabo kya Katonda eky’obulamu obutagwaawo, tugabana ku kibonerezo eky’oluberera olw’okusalawo kwaffe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala esomesa nti ababi abagenda kusanyizibwawo ekkirizibwa Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries