settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku njiri ey’okuggagawala?

Okuddamu


Mu njiri ey’okuggagawala, era ng’emanyikiddwa nga “ ekisinde eky’ekigambo ky’okukkiriza” omukkiriza agambibwa okukozesa Katonda, kyoka nga amazima ga Bayibuli gatugamba kirala. Katonda yakozesa omukkiriza. Ensomesa eno ekozesa omwoyo Omutukirivu nga amannyi omukkiriza gasobola okukozesa okukola buli kyayagala. Ekisinde ky’enjiri ey’okuggaggawala kyefanaanyirizaako ebiwayi ebirala ebyayingira mu Kanisa eyasooka. Pawulo omutume n’abatume abalala tebakkiriza era tebawagira abasomesa obulimba abalinga abo oba okuteesa nabo. Babasongako ng’abasomesa ab’obulimba era balagira Abakristaayo okubewala.

Pawulo alabula Timoseewo eri abasajja abalinga abo mu 1 Timossewo 6:5, 9-11. Abasajja abalina ebirowoozo ebyonoonese balowooza nti obutuukkirivu bulina kukozesebwa lwa byanfuna era okwegomba kwabwe okw’okuggagawala gwali mutego ogwabaletere "okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.” (1 Timoseewo 6:9). Okunoonya obuggaga kintu kya bulabe nnyo eri Omukristaayo era Katonda atulabula: “Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.” Singa eby’obuggaga byali bikulu eri omuntu wa Katonda, Yesu yandibadde abyetanira. Wabula teyakikola, nasalawo okuba nga talina nawateeka mutwe (Matayo 8:20) era nasomesa abayigiriza be okukola ekintu ky’ekimu. Kirina okujukirwa nti omuyigirizwa ajjukirwa okuba n’obuggaga yali Yudda.

Pawulo yagamba nti okwegomba kuba kusinza bifaananyi(Abaefeso 5:5) era nalagira Abaefeeso okwewala omuntu yenna aleeta obubaka bwonna obw’obukaba oba okwegomba (Abaefeeso 5:6-7).Ensomesa y’okuggagawala eremesa Katonda okukola ku lulwe, ekitegeeza nti Katonda ssi ye Mukama eri abantu bonna kubanga tasobola kukola okujako nga tumusindise okukola. Okukkiriza, okusinziira ku nsomesa y’ekigambo eky’okukkiriza, ssi kukkakana era ssi kwesiga Katonda; okukkiriza nkola jetukozesa okukyusakyusa amateeka ag’omwoyo abasomesa okuaggagawala gebakkiriza nti gegafuga ensi. Ng’ekigambo “Ekigambo ky’okukkiriza” bwekitegeeza, ekisinde kino kisomesa nti okukkiriza ky’ekigambo kyetwogera wabula ssi ani gweukkiriza oba mazima kki getwekuteko era getukkiriza mu mitima gyaffe.

Ebigambo abasomesa okuggagawala byebasinga okukozesa kwe “kweyatulirako ebirungi.” Kino kitegeeza nti ebigambo byokka bilina amannyi agatonda. Ekyo kyoyogera, abasomesa bagamba nti kyekikutuukako. Ebyo byeweyatulirako, okusingira ddala okuganja kwokanda okuva eri Katonda byonna birina okwogerwako nga toleker’awo. Awo Katonda kimuletera okukuddamu(nga kiringa nti omuntu alina ekintu kyonna kyabanja Katonda). Kitegeeza nti amannyi ga Katonda okutuwa omukisa gesigamye ku kukkiriza kwaffe. Yakkobo 4:13-16 awakanya ensomesa eno. “Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisa amagoba: naye nga temutegeera bya nkya Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo” Twogera ebintu okubaawo mu biseera ebijja nga tetumanyi kki olunaku lw’enkya kyelunaleeta oba tunabeera balamu.

Mukifo ky’okukkattiriza amakulu g’okuggagawala, Bayibuli erabula okwagala okuggagawala. Bakkiriza naddala abawereza mu Kanisa (1 Timoseewo 3:3), balina okwewala okwagala sente (Abaebbulaniya 13:5). Okwagala sente kuleeta obubi obwabuli kika (1 Timoseewo 6:10). Yesu alabula, “N'abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.”(Lukka 12:15). Mu kwawukana ennyo ku nsomesa y'okuggagawala eteeka essira ku kufuna sente, Yesu yagamba, “Temweterekeranga bintu ku nsi kwe byonoonekera n’ennyenje n'obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba:”(Matayo 6:19) Okwawukana okunnene okuli wakati w’ensomesa y’okuggagawala n’enjiri ya Mukama waffe Yesu Kristu esobola okuwumbibwawumbibwa n’ebigambo bya Yesu mu Matayo 5:24, “Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku njiri ey’okuggagawala?
© Copyright Got Questions Ministries