settings icon
share icon
Ekibuuzo

Enjawulo ki eri wakati w’emeeme n’omwoyo?

Okuddamu


Emeeme n’omwoyo by’ebitundu ku muntu ebitakwatibwako ebywandiikibwa byebyogerako. Kibuzaabuza okugezo okwawula enjawulo wakati webitundu bino. Ekigambo omwoyo kikwata ku ludda ku muntu olutakwatibwako. Abantu abalina omwoyo, wabula bo si myoyo. Wabula, mu byawandiikibwa, abakkiriza bebokka bebagambibwa okuba abalamu mu mwoyo.(1 Abakkolinso 2:11; Abaebbulaniya 4:12; Yakobo 2:26), kyoka abatakkiriza bbo bafu mu mwoyo (Abaefeeso 2:1-5, Abakkolosaayi 2:13). Mu mpadiika ya Pawulo, oludda olw’omwoyo lweludda olutambuza obulamu bw’omukkiriza (1 Abakkolinso 2:14; 3:1; Abaefeeso 1:3; 5:19; Colossians 1:9; 3:16). Omwoyo ky’ekitundu ku buntu ekituyamba okuba n’enkolagana ne Katonda. Ekigambo “omwoyo”buli lwekikozesebwa, kitegeeza oludda olw’omuntu olutakwatibwaako olukwatagana ne Katonda, nga yye mwenyini mwoyo (Yokaana 4:24).

Ekigambo “meeme” kisobola okutegeeza oludda lw’obuntu olukwatibwako wamu n’olutakwatibwako. Ngojeeko abantu okuba nga balina omwoyo, abantu meeme. Mu makulu g’ekigambo “emeeme” agasokerwako, ekigambo emeeme kitegeeza “bulamu”. Wabula bayibuli etwala amakulu gano ebuziba era eyogera ku meeme mu ngeri nyingi. Engeri esooka y’engeri omuntu gyeyesuunga okwonoona (Lukka 12:26). Omuntu mwonoonyi nnyo mu buntu era emeeme zaffe zakyafuwazibwa olw’ekibi. Obulamu bugyibwako ku muntu ku kaseera k’okufa kw’omubiri (Oluberyeberye 35:18; Yeremiya 15:2). Emeeme, nga bwekiri ku mwoyo, yefuga ebintu by’omwoyo wamu n’ebirowoozo omuntu byayitamu (Yobu 30:25; Zabbuli 43:5; Yeremiya 13:17). Buli kaseera ekigambo meeme lwekikozebwa, kisobola okutegeeza omuntu yenna, omulamu oba eyafa.

Emeeme n’omwoyo bikolera wamu, wabula byanjawulo ( Abaebbulaniya 4:12). Emeeme bw’ebuntu, kyetuli. Omwoyo lweludda lw’obuntu olukolagana ne Katonda.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Enjawulo ki eri wakati w’emeeme n’omwoyo?
© Copyright Got Questions Ministries