settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okubuulira enjiri abantu abali mu nzikiriza ez’obulimba oba ediini enkyamu?

Okuddamu


Ekintu ekisinga obukulu kyetusobola okukola eri abantu abali mu nzikiriza ez’obulimba, kwekubasabira. Twetaaga okubasabira Katonda akyuse emitima gyabwe era egule amaaso gabwe eri amazima(2 Abakkolinso 4:4). Tulina okubasabira Katonda abasongere ku ngeri gyebetaaga obulokozi. Okuyita mu Yesu Kristu (Yokaana 3:16) Ewatali manyi ga Katonda n’okulumirizibwa kw’Omwoyo mutuku, tetusobola kubawangula eri mazima. (Yokaana 16:7-17).

Tulina oku nga tutambulira mu bulamu obw’Ekristaayo, okusobozesa abo abli mu nzikiriza ez’obulimba okulaba enkyukakyuka Katonda gyakoze mu bulamu bwaffe (1 Petero 3:1-2). Tulina okusaka atonda atuwe amagezi okusobola okuwereza gyebali mu manyi. (Yakobo1:5). Byonna nga biwedde, tulina okuba abavumu mu ngeri gyetubuuliramu enjiri. Tulina okubuulira obubaka obw’obulokozi okuyita mu Yesu Kristu (Abaruumi 10: 9-10). Tulina okuba abeetegefu okulwanirira okukkiriza (1 Petero 3:15), wabula okukikola mu bugonvu era nga tuwa abantu ekitibwa. Tusobola okusomesa obulungi, netuwangula olutalo lw’ebigambo, wabula nefuuka omuziziko olw’obusungu bwaffe n’okulaga nti ffe abasinga.

Ekisembayo, tulina okulekera abo betuuulira enjiri Katonda. Mannyi era kisa kya Katonda kyekirokola abantu ssi manyi oba kufuba kwaffe. Newankubadde nga kikulu okuba abeteegefu mu mannyi okulwanirira era n’okumanya enzikiriza enkyamu. Engeri entuufu gyetusobola kwe kubasabira, okubabuliira enjiri, era n’okutambulira mu bulamu obw’Ekristaayo, era nga tukkiriza nti Omwoyo mutukuvu anakola omulimu gw’okubasembeza, okubamatiza, era n’okubakyusa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okubuulira enjiri abantu abali mu nzikiriza ez’obulimba oba ediini enkyamu?
© Copyright Got Questions Ministries