settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera ki ku Kimu eky'ekkumi?

Okuddamu


Abakristaayo banji batawaana n'ensonga y'ekimu eky'ekkumi. Mu makanisa agamu, okuwaayo kwogerebwako nyo. Mu ngeri yemu, abakristaayo bangi bagaana okugondera okuwaayo eri Katonda ng'ebyawandiikibwa bwe biragira. Okuwaayo ekiwebwayo oba ekimu eky'ekkumi kulina kubaamu esanyu era kwa mukisa. Eky'enaku kiri nti ebiseera ebisinga eyo si y'ensonga.

Okuwayo ekimu eky'ekkumi nkola ya ndagaano nkadde. Kyali kiragiro mu mateeka Abayisirayiri okuwaayo ebitundu kumi ku kikumi ku makungula ag'ebimera n'ensolo ze balundanga eri Yekaalu(Abaleevi 27:30; Okubala 18:26; Ekyamateeka 14:24; 2 Ebyomumirembe 31:5). Mu mazima, endagaano enkadde yabalagira okuwayo ebimu eby'ekumi ebiwerako—ekimu eky'ekkumi eky'abaleevi, ekimu eky'ekkumi ekya yekaalu n'embaga ezakolebwanga ez’okujaguza, era n'ekimu eky'ekkumi eky'abaavu ababeeranga mu nsi eyo— era omugatte nga gwenkanankana n'ebitundu 23.3 ku kikumi. Abamu bategeera ekimu eky'ekkumi mu ndagaano enkadde okuba ng'omusolo okusobozesa Bakabona okufuna byebetaaga wamu n'Abaleevi okuyita mu nkola eyasaddaka.

Endagaano empya terina weragira oba okuwagira, nti Abakristaayo bagondere enkola ey'amateeka ag'ekimu eky'ekkumi. Tewali ndagaano mpya wesalira muntu yenna muwendo gwalina kuwayo, wabula egamba ebirabo birina okuwebwaayo okusinziira ku nfuna y'omuntu (1 Abakolinso 16:2). Amakanisa agamu gatwaala ebitundu ekkumi okuva mu ndagaano enkadde okuba omuwendo omuteme ogusembayo obutono abalokole gwebalina okuwaayo.

Endagaano empya eyogera ku mugaso ogw'okuwaayo eri Katonda. Tulina okuwaayo ng'obusobozi bwaffe bwebuli. Ebiseera ebimu kitegeeza okuwaayo okusukuluma ebitundu kkumi ku kikumi, era kitegeeza nti ebiseera ebimu mu busobozi bwaffe, tulina kuwayo ebitundu munana oba musanvu. Okuwaayo kusinziira ku busobozi bw'omulokole, n'ebyetaago by'omubiri gwa Kristu. Buli Mukristaayo alina okusaba Katonda amuluŋŋamye ku nsonga z'ebimu eby'ekkumi oba omuwendo ogw'okuwaayo (Yakobo1:5). Okusingira ddala, ebimu eby'ekkumi n'ebiweebwayo byonna birina okuwebwayo n'ebigendererwa ebituufu era n'okwagala okusinza Katonda n'okuwereeza omubiri gwa Kristu."Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu."(2 Abakolinso 9:7).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera ki ku Kimu eky'ekkumi?
© Copyright Got Questions Ministries