settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku kigendererwa ky’obulamu?

Okuddamu


Bayibuli eraga bulungi ekigenderwa ky’obulamu ky’eki. Abasajja mu ndagaano empya n’enkadde banonya era ne bazuula ekigenderwa ky’obulamu. Sulemaani, omusajja akyasinze okuba omugezi ku nsi yabalamu yazuula obutaliimu obuli mu bulamu singa omuntu abutambuliramu nga aloowoza ku byansi byokka. Awa emmaliriza mu kitabo ky’Omubuulizi: “ Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri.

Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.” (Omubuulizi 12:13-14). Sulemaani agamba nti ekigendererwa ky’obulamu kwekugulumiza Katonda n’ebiroowozo byaffe, n’obulamu bwaffe era nga tuukuma amateeka ge, kubanga olunaku lumu tugenda kuyimirira musaaso ge okusalirwa omusango. Ekigendererwa ky’obulamu ekimu kwekutya Katonda n’okumugondera.

Ekitundu ekirala ku kigendererwa ky’obulamu kwekulaba obulamu kunsi kuno n’ekifaananyi ekituufu. Obutafaananako abo abateeka ebirowozo byabwe ku bulamu buno, Kabaka Dawudi yanoonya okukkusibwa kwe mu bulamu obuligya. Yagamba, “Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri.

Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.” (Zabbuli 17:15). Eri Dawudi, okumattizibwa okujjude mu bulamu kugenda kugya olunaku lwanazukuka (mu bulamu obuligya) nga alaba obwenyi bwa Katonda (mu kuba awamu naye) era ng’amufaanana (1 Yokaana 3:2).

Mu Zabbuli 73, Kabaka Asafu ayogera ku ngeri gyeyakemebwa okukwatibwa obugya ababi abataalina mitawaana era abazimba oby’obuggaga ku migongo gyabo bebakozesanga, wabula naatunuulira enkomerero ywabwe. Okwawukana kw’ekyo kyebali banonya, ayogera mu lunyiriri 25 ekisinga okuba okikulu gyali: “Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe”. v.25.

Omutume Pawulo yayogera kw’ebyo byeyali atukiriza mu diini nga tanaba kusisinkanibwa Kristo eyazuukira, era yamaliriza gambye nti ebyonna byeyali atuukiriza byali bisasiro bw’obigererageranya n’obulungi obuli mu kumanya Kristu Yesu. Mu Baffiripi 3:9-10 Pawulo agamba nti talina kyayagala okusinga okumanya Kristo “n’okusangibwa mu yye” okuba n’obutuukirivu n’okutambulira mu mu kukkiriza mu yye nebwekiba kiteegeza kuboonaboona n’okufa. Ekigenderera kya Pawulo kyali kya kumanya Kristo, kuba n’obutuukirivu obuva mu kukkiriza mu Yye, n’okuba awamu naye nebwebiba nga bigya n’okuboonaboona (1 Timoseewo 3:12). Ekisembayo, yali alindirira akaseera lwanabeera ekitundu “ku kuzuukira kw’abafu”.

Ekigendererwa kyaffe mubulamu, nga katoda bwe yasookera ddala okutonda omuntu, kye 1) okugulumiza Katonda n’okunyumirwa okusa ekimu naye, 2) okubeera n’enkolagana n’abalala, 3) okukola, ne 4) okubeera n’obufuzi kunsi. Naye olw’okugwa kw’omuntu mu kibi, okusa ekimu ne Katonda kwa menyebwawo, enkolagana yaffe nabalala yanuulibwa, okukola kulabika okumenya buli kiseela, nomuntu afuba okukuuma buli kifanana nga obuyinza kubutonde. Okugyako nga tuzizaawo enkolagana yaffe ne Katonda, okuyita mukukiririza mu Yesu Kristo, ekigendererwa kyaffe mubulamu bwe tuyinza okukifuna natte.

Ekigendererwa kyomuntu kwe kugulumiza Katonda no kumunyumirwa luberera. Tugulumiza Katonda nga tumutya era nga tumugondera, nga tukuumira amaaso gaffe kumaka agomumaaso ago mugulu,era nga tumumanyira ddala. Tunyumirwa Katonda nga tugoberera ekigendererwa kyalina eri oulamu bwaffe, ekituyamba okuyita mu sanyu erya mazima era eriwangaala_obulamu obungi watwagaliza ffe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku kigendererwa ky’obulamu?
© Copyright Got Questions Ministries