settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kitegeeza kki omuntu okuba nga yatondebwa mu kifanaanyi kya Katonda (Oluberyeberye 1:26-27)?

Okuddamu


Ku lunaku olwasembayo mu kutondebwa kw’ensi, Katonda yagamba, “Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe”(Oluberyeberye: 1:26). N’olwekyo, yamaliriza emirimu gye n’ekyo “ekimukwatako.” Katonda yakola Adamu okuva mu nfuufu era namuwa obulamu ng’agabana omukka gwe ogw’obulamu wamu naye. (Oluberyeberye: 2:7). Y’ensonga lwaki omuntu wanjawulo ku bitonde byonna katonda byeyatonda kubanga alina omubiri wamu n’omwoyo.

Okuba mu “kifaananyi” oba mu “ngeri”ya Katonda kitegeeza, mu byangu nti twatondebwa okufanaana Katonda. Adamu teyafanaana Katonda mu mungeri y’omubiri n’omusaayi. Ebwawandiikibwa bigamba nti, “Katonda Mwoyo” (Yokaana 4:24) era talina mubiri. Wabula, omubiri gwa Adamu gwafanaana obulamu bwa Katonda kubanga yatondebwa nga alina obulamu obutukkiridde era yali tasobola kufa.

Ekifanaanyi kya Katonda (mu lulatini- imago dei) kitegeeza oludda lw’omuntu olutakwatibwako. Kino kiteeka omuntu okuba owenjawulo ku bisolo, era kimuteeka wagulu mu bufuzi eri ensi (Oluberyeberye: 1:28), era nekisobozesa okukuŋŋaana ne Katonda. Kuba kumufanaana mu ndowooza oba entegeera, mpisa, n’engeri gyeyeyisaamu wamu banne.

Mu bwongo, omuntu yatondebwa okuba nga alowooza bulungi era nga ayawula ensonga, nga aina okwagala (will). Kino kitegeeza nti omuntu alowooza era alondawo. Kino kifanaanyi kyamagezi, n’eddembe lya Katonda okulondawo kyayagala. Buli kaseera omuntu lwakola ekyuma oba masiii (soma machine), lwawandiika ekitabo, lwasiiga ekifanaanyi ky’ensozi, emigga, n’ebitonde ebirala, bwanyumirwa enkuba enungi ey’ebivuga, bwatuuma ensolo z’ewaka amannya, aba alangirira amazima nti twatondebwa mu kifanaanyi kya Katonda.

Mu mpisa, omuntu yatondebwa mu butukuvu era yali tamanyi kibi, ekifaananyi ky’obutuku bwa Katonda. Katonda yalaba byonna byeyali akoze (omuntu nga kwomutadde) nga “birungi nnyo” (Oluberyeberye. 1:31). Endowooa zaffe, oba “endowooza ku empisa ezikirizibwa nezitakkirizibwa” kabonero akalaga embera gyetwalimu nga tetunayonoona. Buli muntu lwawandiika etteka, lwadduka obubi, lwatendereza ekintu oba eneyiisa ennungi, lwawulira omusango, aba asonga ku mazima nti twaondebwa mu kifanaanyi kya Katonda.

Mu nkolagana n’abantu abalala, omuntu yatondebwa okukuŋŋaana. Kino kifaananako obumu bwa Katonda mu busatu(trinity) n’okwagala kwe. Mu nimiro ya Edeni, omuntu enkolagana ye eyali esinga okuba enkulu yali ne Katonda (Oluberyeberye. 3:8 etegeeza nkolagana na kukuŋŋaana ne Katonda era Katonda yatonda omukazi eyasooka kubanga “ssi kirungi omuntu okuba yekka” (Oluberyeberye. 2:18). Buli kaseera omuntu lwawasa, lwafuna obwa sseruganda, lwafuna oba lwawa omwana akafuba, lwakuŋŋaana mu Kanisa, aba ayolesa amazima nti twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.

Ekitundu ku kutondebwa mu kifanaanyi kya Katonda kwe Adamu okuba nga sobola okulondawo nga takakkiddwa. Newankubadde nga bawebwa embala eyobutukirivu, Adamu ne Kaawa bakola okulondawo okwali okubi era n’ebajeemera Omutonzi wabwe. Mu kukola ekyo, bayonoona ekifaanyi kya Katonda mu bbo era nebasikiza ekifaananyi ekyo ekyali kyononese ku baana babwe (Abaruumi 5:11). Olwaleero, tukyalina ekifaananyi kya Katonda (Yakobo 3:9), wabula era tulina enkovu ez’ekibi. Mu bwongo, mu mpisa, mu kukolagana awamu n’abantu abalala, mu ndabika, tulaga ebyatukaawo oba obubonero bw’ekibi.

Amawulire amalungi gali nti, Katonda bwalokola omuntu, atandika okuza buggya ekifaananyi ekyasooka ekya Katonda, olwo ng’ atonda “… omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima” (Abaefeeso 4:24). Okulokolebwa okwo tukufuna lwa kisa kya Katonda kyoka okuyita mu kukkiriza Yesu Kristo ng’omulokozi eri ekibi ekitwawula ne Katonda (Abaefeeso 2:8-9). Okuyita mu Kristo, tufuulibwa bitonde biggya mu kifaananyi kya Katonda (2 Abakkolinso 2:17).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kitegeeza kki omuntu okuba nga yatondebwa mu kifanaanyi kya Katonda (Oluberyeberye 1:26-27)?
© Copyright Got Questions Ministries