settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibli eyogera kki ku kibonerezo eky’okutibwa?

Okuddamu


Amateeka g’endagaano enkadde galagira okuttibwa singa oba okoze emisango egimu katugeze okutta (Okuva 21:12), okuwamba (Okuva 21:6), okwegatta n’ebisolo (Okuva 22:19), obwenzi (Abaleevi 20:10), ebisiyaga (Abaleevi 20:13), okua nabbi ow’obulimba (Ekyamateeka 13:5), obwamalaaya n’okukwata abakazi(Ekyamateeka 22: 4), n’emisango emirala mingi. Wabula, Katonda yalaganga ekisa mu kaseera ak’okufuna ekibonerezo. Dawudi yayenda era natta, kyoka Katonda teyalagira bulamu bwe okutwalibwa (2 Samwiri 11:1-5, 14-17; 2 Samwiri 12:13). Eky’enkomerero, buli kibi kyetukola kirina kusasulibwa na kufa kubanga empeera y’ekibi kufa (Abaruumi 6:23). Mukama yeazibwe kubanga atulaga okwagala kwe nga tatusalira musango (Abaruumi 5:8).

Abafalisaayo bwebaleeta omukazi eyali akwatibwa mu bwenzi eri Yesu nebamubuuza oba balina okubuka amayinja, Yesu yaddamu, “Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja.

8 N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka.”(Yokaana 8:7). Kino tekitegeeza nti Yesu yagaana ekibonerezo oky’okufa eri emisango gyonna. Yesu yali alaga obunanfuusi bw’Abafalisaayo. Abafalisaayo bali bakema Yesu okulaba nga amenya eteeka ly’Endagaano enkadde, era bali tebafaayo ku mukazi bwa akubibwa amayinja (Omusajja oba yali luddawa gwebamukwata naye?). Katonda yeyeteekawo ekibonerezo eky’okufa. “Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw'omuntu, omusaayi gwe guyiyibwenga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu.”(Oluberweberye 9:6). Yesu yandikkiriza ekkibonerezo ky’okufa ku misango. Yesu era yalaga ekisa mu kaseera ekibonerezo ky’okufa bwekyali kigenda okuwebwa. (Yokaana 8:11). Omutume Pawulo yakkiriza amanyi gavumenti gerina okutuukiriza ekibonerezo ky’okufa we kyali kigwaana (Abaruumi 13:1-7).

Omukristaayo alina kulaba atya ekibonerezo ky’okufa? Okusooka, tulina okumanya nto Katonda yeyateekawo ekibonerezo ky’okufa mu kigambo kye; n’olw’ekyo, gaba malala okulowooza nti tusobola okuteekawo enkola esinga eya Katonda. Enkola za Katonda ziri wagulu okusinga ez’omuntu yenna eyali abadde kunsi. Katonda atuukiridde. Kino tekikwata ku ffe ffeka wabula ne ku Katonda. N’olw’ekyo, Alina okwagala okutakoma, era alina ekisa ekitakoma. Era tulaba nga alina ekiruyi ekitakoma era nga embala ezo zonna azifuga mu ngeri etuukiridde.

Eky’okubiri, tulina okukkiriza nti Katonda yawa abafuzi obuinza okulaba ddi ekibonerezo eky’okufa lwekyetaagisa (Oluberyeberye 9:6; Abaruumi 13:1-7). Endowooza egamba nti Katonda awakanya ekibonerezo ky’okufa eri emisango gyonna ssi ya Bayibuli. Abakristaayo tebalina kusanyuka nga ekibonerezo kyakufa kikolebwa, wabula era Abakristaayo tebalina kulwanyisa dembe lya Gavummenti kutta abakozi bemisango egisinga okuba egyannagomola.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibli eyogera kki ku kibonerezo eky’okutibwa?
© Copyright Got Questions Ministries