settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ekibi kyeki?

Okuddamu


Ekibi mu Bayibuli kyogerwako ng’okwonoona eri Katonda (1 Yokaana 3:4), okujeerera Katonda (Ekyamateeka 9:7; Yoswa 1:18). Ekibi kyatandiika ne sitaani, era nga yali malayika eyali akyasinga obulungi n’amanyi mu bamalayika bonna. Bwatamatira kifo kye, yegomba okuba wagulu wa Katondaera ekyo ky’kyamuretera okugwa, era yeyali entandikwa y’ekibi. (Isaaya 14:12-15). Yatumibwa Sitaani, yaleeta ekibi eri omwana w’omuntu mu nimiro y’Edeni, eyo gyeyakemera Adamu ne Kaawa bweyabagamba nti “basobola okuba nga Katonda” Oluberyeberye 3 enyonyola okujeema kwa Adamu ne Kaawa eri ekiragiro kya Katonda. Okuva akaseera ako, ekibi kyasikizibwa okuva ku mulembe ogumu okutuuka ku mulembe omulala, era naffe, abaana ba Adamu, twasikira ekibi kuva ku yye. Abaruumi 5:12 etugamba nti okuyita mu Adamu, ekibi kyayingira mu nsi, era okufa kwaja eri abantu bonna abalina omubiri kubanga “empeera y’ekibi kufa”(Abaruumi 6:23).

Okuyita mu Adamu, okwagala kw’ebibi okw’omuntu kwayingira omuntu era abantu nebafuuka abanoonyi. Adamu bweyayonoona, embeera y’e ey’buntu yakyuusibwa ekibi eky’okujeema, ekyamuletera okufa n’okwonoonebwa mu mwoyo era okufa n’okwonoonebwa okwo kwasikizibwa abo bonna abaava mu Adamu. Tetuli bonoonyi kubanga twonoona, wabula twonoona kubanga tubanga tuli bononyi. Okwononeka kuno kwetwasikira kwekuyitibwa ekibi. Nga bwetusikira enfaanana y’abazadde baffe, tusikira embala ey’ekibi okuva ku Adamu.. Kabaka Dawudi yakungubagira embala eno ey’ekibi mu Zabbuli 51:5; “Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.”

Ekika ky’ekibi ekirala kiyitibwa “ekibi ekiweebwa obuweebwa”. Nga kikozesebwa mu nsonga z’eby’ensimbi n’ezamateeka, kitegeeza ekibi ekibi ky’omuntu omu okutekebwa ku mulala. Amateeka nga teganaweebwa, ekibi kyali tekitekeddwa ku muntu, newankubadde omuntu yali mwonoonyi olw’ekibi ekisikire ekya Adamu. Oluvanyuma lw’okuweebwa kw’ekibi, ebibi ekilobwa mu kumenya amateeka byabalibwa oba byatekebwa ky’oyo aba abiziza. (Abaruumi 5:13). Nga ebibi ebikwatagana n’okumenya amateeka tebinaba kuteekebwa ku muntu, empeera y’ekibi (okufa) yali weeri (Abaruumi 5:14). Abantu , okuva ku Adamu okutuuka ku Musa baali balina okufa, ssi lwakuba baali bamanye amateeka ga Musa (gebaali tebalina), wabula olwembala ey’ekibi gyebali basikira. Oluvanyuma lwa Musa, abantu bonna baalina okufa olw’embala ey’ekibi ekisikire okuva ku Adamu, n’olw’ekibi ekibabalilwako olw’okumenya amateeka ga Katonda.

Katonda akozesa enkola eno ey’okuteekebwako ekibi okusobola okuyamba omuntu bweyateeka ekibi kyabakkiriza ku Yesu, eyasasulira empeera ey’ekibi ekyo—nga kwekufa—ku Musaalaba. Okuteeka ekibi kyaffe ku Yesu, Katonda yamuyisa ng’omwonoonyi, newankubadde nga teyali mwonoonyi, namuleteera okufa olw’ebibi by’ensi yonna (1 Yokaana 2:2). Kikulu okutegeera nti ekibi kyamuteekebwako buteekebwa era teyakisikira kuva ku Adamu. Yetwaala ekibonerezo ky’ekibi wabula ye teyali mwononyi. Ebala ye etukkiridde teyakwatibwaako kibi. Yayisibwa nga eyalina omusango gw’ebibi byonna abyali bikoleddwa abantu okuva ku Luberyeberye, newankubadde nga teyalina musango gwonna era teyalina kibi kyonna. Mu kuwanyisa, Katonda yateeka obutukirivu bwa Yesu ku Bakkiriza era natufuula batukirivu, nga

Ekika ky’ekibi eky’okusatu ky’ekibi kyabuli munru nga yye, ekibi ekikolebwa buli lunaku. Olw’okuba nga twasikira embala y’ekibi eya Adamu, tukola ebibi eby’obuntu nga ffe, okutandikira ku kulimbira mu butamanya okutuuka ku kutta. Abao bonna abatanateeka kukkiriza kwabwe mu Yesu Kristu balina okusasulira empeera y’ebibi ebyo, wamu n’ekibi ekisikirewamu n’ekibi ekitekebwa ku muntu olw’okumenya amateeka. Wabula, abakkiriza basumululwa ku mpeera y’ekibi ey’emirembe gyonna—nga ye geyeena n’okufa mu mwoyo—era nga kakano tulina amanyi okugaana ekwonoona. Kakaano tusobola okulondawo okukola ebibi ebikolebwa buli lunaku kubanga tulina amanyi okuyita mu mwoyo mutukuvu atuula mu ffe, atukkusa era atulumiriza ebibi byaffe bwetubikola (Abaruumi 8:9-11). Bwetutwatula ebibi byaffe eri Katonda netusaba okusonyiyibwa, tuddizibwa mu nkolaggana wamu naye ey’omuggundu. “Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.” (1 Yokaana 1:9).

Omusango gutusinga emirundi esatu olw’ekibi ekisikire, ekitutekebwaako, n’ekyo kyetukola buli lunaku. Ekibonerezo ekiri mu bwenkanya kyokka kwekufa (Abaruumi 6:23), ssi kufa mu mubiri kwoka wabula okufa mu Mwoyo. (Okubikkulirwa 20:11-15). Ekisinga okuba ekirungi kiri nti ekibi ekisikire, ekitutekebwako olw’okumenya amateeka ga Katonda, n’ebibi byetukola buli lunaku byonna byakomererwa ku musaalaba gwa Yesu, era kakano okuyita mu kukkiriza mu Yesu ng’omulokozi waffe, “eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli,” (Abaefeeso 1:7).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ekibi kyeki?
© Copyright Got Questions Ministries