settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala abantu abali mu Gulu basobola okutunuula wansi nebatulaba ffe abakyaali kunsi?

Okuddamu


Ddala abantu abali mu Gulu basobola okutunuula wansi nebatulaba ffe abakyaali kunsi?

Okuddamu:

Abantu abamu bafuna mu Abaebbulaniya 12:1 ekirowoozo nti abantu abali mu basobola otunula wansi nebatulaba: “kale naffe, bwe tulina olufu lw'abajulirwa olwenkana awo…” “Abajulirwa” bebazira b’okukkiriza abogerwako mu Abaebbulaniya 11, era olw’okubanti “twetoloddwa” bbo kiretera abawandiisi abamu okulowooza nti abazira (oba n’abantu abalala) batunula wansi gyetuli okuva mu Gulu.

Ekirowoozo ekigamba nti abantu batunula wansi okuva mu gulu okula biki byetukola kyatiikirivu mu mawanga agamu. Wabula, ne bwetwandiyagadde ekirowoozo ekigamba nti abagalwa baffe abatugendako okuba nga batulaba nga bali mu gulu, Abaebbulaniya 12:1 si kyesomesa. Ng’ezimbira ku Abaebbulaniya 11, omuwandisi atandika okusomesa (y’ensoga lwaki Esuula eye 12 etandika ne “Kale naffe”)” “Abajulirwa” be bantu Katonda basanyukira olw’okukkiriza kwabwe mu suula eye 11, era bangi mu gulu. Ekibuuzo kiri nti, bajulirwa my ngeri kki?

Enzivuunula ye Abaebbulaniya 12:1 eri nti abasajja n’abakazi abakola “olufu olunnene olw’abajulirwa” bajulirwa eri omuwendo oguli mu bulamu oguli mu kutambulira mu bulamu obw’okukkiriza. Ebibawandiikibwako mu ndagaano enkadde biwa obujulizi eri omukisa oguli mu kulondawo okukkiriza mu kifo ky’okutya. Mu ngeri y’okukozesa ebigambo ebirala, Abaebbulaniya 12:1 egamba, “olw’okuba tulina eby’okulabirako bingi eby’abantu abagezeseddwa n’ebazuulibwa nga batuufu…” N’olwekyo, tekiri nti abantu bali mu gulu batulaba (gyoli nti obulamu bwaffu bwakabi nnyo oba nti tebalina kisinga kyebasobola kukola!), wabula kiri nti abagenda okutusooka bataddewo eky’okulabirako ekinnene gyetuli. Ebyabawandiikibwako bilina obujulizi eri okukkiriza, eri Katonda, neri amazima.

Abaebbulaniya 12:1 eyongera n’egamba, “twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe,” Olw’okukkiriza n’okuguminkiriza kw’abakkiriza abagenda okutusooka, tusobola okulemera ku lugendo lwaffe olw’obulokozi. Tugoberera eby’okulabirako bya Ibrayimu ne Musa ne Lakabu ne Gidiyooni wamu nabalala.

Abantu abamu basonga ku muggaga ayogerwako mu Lukka 16:28 olw’engeri gyeyayogera ku baganda be; ng’obukakafu obulaga nti emyoyo gy’abo abaafa (wakiri egiri emagombe) gisobola okulaba ebigenda mumaso ku nsi. Wabula, ekyawandiikibwa ekyo tekigamba nti omusaja omuggaga yali asobola okulaba baganda be; yali manyi nti alina baganda be, era yali manyi yali nti si bakkiriza. Abantu abamu bakozesa Okubikkulirwa 6:10 ng’obukakafu obulala: battibwa mu kaseera ak’okubonabonyezebwamu nga basaba Katonda okuwolera olw’okufa kwabwe. Wabula ekyawandiikibwa kino tekyogera kintu kyonna ku bajulizi oba abattibwa okuba nti balaba abantu abali ku nsi; kigamba nti baali bamanyi nti bagwaana obwenkanya era nga bagala Katonda abeeko kyakola.

Bayibuli teyogera butereevu nti abantu abali mu gulu tebasobola kutunula wansi nebatulaba, tetusobola kusomesa kintu ekyo. Wabula, kisoboka okuba nti tebasobola. Abantu mu gulu balabika nga abalina ebyokukola ng’okusinza Katonda, n’okunyumirwa ekitiibwa ekiri mu gulu.

Oba abantu abali mu gulu batulaba oba tebatulaba, tutambula lugendo lwabwe. Tetusuubira kubasaba lukusa oba okuwulira nga nga batukubira mu ngalo. Abaebbulaniya 12:2 etuyamba okuteeka amaaso gaffe wegaina okuba. “nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;”(Tito 2:13).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala abantu abali mu Gulu basobola okutunuula wansi nebatulaba ffe abakyaali kunsi?
© Copyright Got Questions Ministries