settings icon
share icon
Ekibuuzo

Egulu eliggya n’ensi empya byebiliwa?

Okuddamu


Egulu eliggya n’ensi empya byebiliwa?

Okuddamu:

Ensi empya kiriba kyifo eky’okuberamu ekyoluberera ekyabakiriza mu Yesu Kristu. Ebyawandiikibwa bituwa bitono nyo ku bikwata ku nsi empya n’egulu eriggya.

Ensi n’egulu ebiriwo kaakano bimaze ebanga ddene nga byakolimirwa Katonda olw’ekibi ky’omuntu. Ebitonde byonna “…ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.”(Abaruumi 8:22) nga birindirira okutuukirizibwa kw’enteekateeka za Katonda wamu no “okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda.” (19). Egulu n’ensi biriggwaawo (Makko 13:31), era biri wanyisibwa n’egulu epya n’ensi empya. Mu kaseera ako, Katonda, ng’atudde ku namulondo ye agamba, “byonna mbizzizza buggya.” (Okubikkulirwa 21:5). Mu kitonde ebiggya, ekibi kigya kugibwaawo kyonna era “So teribaayo nate kikolimo:” (Okubikkulirwa 22:3)

Egulu eliggya n’ensi empya byogerebwako mu Isaaya 65:17; 66:22, ne Petero 3:13. Petero atugamba nti egulu eliggya n’ensi empya buliba ebifo “obutuukirivu mwe butuula.” Isaaya agamba nti “so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.” Ebintu biriba biggya, enkola y’ebintu ebikadde, wamu n’enakku n’obuyinike obubijjirirako, eriba egenze.

Enso empya eriba terina kibi, bubi, ndwadde, kuboonaboona, n’okufa. Eriba efaanana n’ensi gyetulimu, wabula nga terina kikolimo ky’ekibi. Eriba ensi Katonda gyeyateekateeka okuba. Eriba enimiro ya Edeni ng’eddiziddwa buggya.

Ekintu ekimu ekinaaba mu nsi empya kiriba Yerusalemi empya. Yokaana ekiyita “...ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.” Ekibuga ekitukuvu, n’enguudo zakyo eza zaabu n’enjiji oz’omuwendo, zirisangibwa mu nsi empya ey’ekitiibwa. Omuti ogw’obulamu gulibaayo (Okubikkulirwa 22:2). Ekibuga kino kikyikirira ekifo ekisembayo abanunule gyebanaaba, emirembe gyonna wamu ne Katonda. “eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe:… n'abaddu be banaamuweerezanga, era banaamulabanga amaaso ge” ( Okubikkulirwa 21:3; 22:3-4).

Mu gulu eriggya n’ensi empya, ebyawandiikibwa bigamba nti, waliwo ebintu musanvu ebimanyi okuba nti tebigenda kubeerayo. Ebintu musaanvu ebitalibaayo.

• Tewalibaayo nnyanja (Okubikkulirwa 21:1)

• Tewalibaayo kuffa (Okubikkulirwa 21:4)

• Tewalibaayo nnaku (Okubikkulirwa 21:4)

• Tewalibaayo okukaaba (Okubikkulirwa 21:4)

• Tewalibaayo okulumwa (Okubikkulirwa 21:4)

• Tewalibaayo kikolimo (Okubikkulirwa 22:3)

• Tewalibaayo kiro (Okubikkulirwa 22:5)

Okutondebwa kw’ensi n’egulu eriggya kuleeta ekisuubizo nti Katonda “naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe” (Okubikulirwa 21:4). Kino kigenda kutuukawo oluvanyuma lw’akaseera ak’okubonaaboona, oluvanyuma lw’okudda kwa Mukama, oluvanyuma lw’obwakabaka obw’ekyaasa, oluvanyuma lw’okujeema okusemabayo, oluvanyuma lw’omusango ogusembayo ogwa sitaani, era olunyuma lw’okusala omisango ku Ntebe Ennene Enjeru. Okunyonyola kw’Egulu n’ensi empya kwekututunuzaako mu bulamu obutaggwaawo okusembayo Bayibuli kwetuwa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Egulu eliggya n’ensi empya byebiliwa?
© Copyright Got Questions Ministries