settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki nina okukkiriza mu nzikiriza eziteekeddwateeddwa?

Okuddamu


Ekigambo “ediini” kifananako ku “ kukkiriza mu Katonda oba bakatonda okusinzibwa, ebiseera ebisinga nga kyolesebwa mu neyisa oba emikolo, eba enkola yonna eyokukkiriza,oba okusinza, era nga elina empisa ezigobererwa. Bwetutunulira enyinyonyola eno, Bayibuli eyogera ku diini enteketeke, wabula ebiseera ebisinga, ebigendererwa n’engeri “ediini enteeketeekegyekwata ku bantu tesanyusa Katonda.

Mu Luberyeberye 11, osanga wetusookera eddini etekeddwateekeddwa, ab’enyumba ya Nuuwa bwebeteekateeka okuzimba omunaala bwa Babeeri mu kifo kyokugondera amateeka ga Katonda okukuza ensi. Bakkiriza nti obweggasi bwabwe bwali bukulu nnyo okusinga enkolagana yabwe ne Katonda. Katonda yabilinyamu eggere nakyukyusa ennimi zabwe, era nasattulula ediini gyebali bateeseteese.

Mu Kuva 6 n’esuula eziddako, Katonda, “ateekateeka” ediini kulw’enyumba ya Isirayeri. Amateeka ekumi, amateeka agakwata ku yekaalu, enkola y’okuwaayo saddaaka byonna byalagilwa Katonda era byalina okugobererwa abaana ba Isirayeeri. Byoyongera okwekeneenya endaagano empya, okuzuula nti ekigendererwa kyeddini eno kyali kya kusonga ku bwetaavu bw’omulokozi-era omununuzi (Abaggalatiya 3; Abaruumi 7). Wabula, abangi tebakitegeera kino era bamaliriza nga basinza amateeka, emikolo mu kifo kya Katonda.

Mu byafaayo bya Isirayeeri, entalo ezisinga Isirayeeri gyeyenyigiramu gyali na madiini ateekeddwateetekkedda. Ekyoulabirako kwekuli okusinza Bayaali ( Ekyabalamuzi 6; 1 Bassekabaka 18), Dagoni (1 Samwiri 5), Moleki ( 2 Bassekabaka 23:10). Katonda yawangula abagoberezi bamadiini ago, nabalaga nti yalina okusalawo era alina amanyi okukola byonna.

Mu Njiri, Abafalisaayo n’Abassaddukaayo balabibwa okuba nga bakikirira ediini etekeddwateekeddwa mu kaseera ka Kristu. Yesu yabawakanya nga olw’ensomesa yabwe enkyamu embeera zaabwe ez’obunanfuusi. Mu Baluwa, waliyo amadiini agatabika enjiri wamu n’ebikolwa, n’emikolo. Bateeka akazito ku Bakkiriza okukyuka bakkiriza “ ediini y’Obukristaayo obugattidwako”Abaggalatiya, n’Abakkolosaayi bawa okulabula ku madiini ago. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, amadiini agateekeddwateekeddwa gaja kukola omulimu omunene ng’Omulabe wa Kristu ateekateeka ediini ensi yonna gyeneegoberera.

Ebiseera ebisinga, ebiddilira mu madiini agateeketeeddwa kwe kwonoona ebigendererwa bya Katonda. Wabula, Bayibui eyogera ku Bakkiriza abateekeddwateekedda abali ekitundu ku nteekateeka yye. Katonda ayita Abakkiriza bano abeteeseteese obulungi “ekanisa” Okunyonyola okuva mu kitabo ky’Ebikolwa n’baluwa kilaga nga ekanisa elina okuba ng’eteekeddwateekeddwa era ng’ekwatagana. Okuteekebwateekebwa kuno kuyamba okuteekawo obukuumi, okukola emirimu obulungi, n’okubunyisa enjiri buli wamu (Ebikolwa 2:41-47). Ku lwekanisa, kwandiyitiddwa “enkolagana enteeketeeke”

Ediini kuba kugeezako kwa muntu kubeera ne Katonda. Enzikiriza y’Ekristaayo nkolagana na Katonda olwekyo kyeyakola kulwaffe bweyawaayo Kristu nga saddaaka. Tewali nteekateeka kutuuka eri Katonda (kubanga atuuse gyetuli—Abaruumi 5:8). Tewali malala (kubanga buli kimu tukifuna kwa kisa—Abaefeeso 2:8-9). Tewalina kubaawo kusika muguwa mu bukulembeza (kubanga Kristu ye mukulu—Abakkolosaayi 1:18). Tewalina kubaawo kusosola ( kubanga ffena tuli omu mu Kristu—Abaggalatiya 3:28). Okuteekebwateekebwa si ky’ekizibu. Okuteeka esila ku mateeka n’obulombolombo ky’ekizibu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki nina okukkiriza mu nzikiriza eziteekeddwateeddwa?
© Copyright Got Questions Ministries