settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku Bisolo eby’edda? Ebisolo ebyedda mwebiri mu Bayibuli?

Okuddamu


Omulamwa gw'ebisolo ebyedda(Dinosaurs) oba Dayinaso guli kitundu kw'ebyo ebikubaganyizibwako ebirowoozo mu Bakristaayo ku myaka ensi gyeyakamala, okuvunuula okutuufu okw'Oluberyeberye, era n'engeri entuufu ey'okuvunula obujulizi obuzuulibwa mu bifo ebitwetoloodde. Abo abakkiriza mu nsi enkadde bakkiriza nti Bayibuli teyogera ku Bisolo ebyedda, kubanga okusinziira ku nkula yazo, ensolo zino zaliwo era zaafa emyaka obukadde bungi ng'omuntu tanabeera kunsi. Abantu abawandiika Bayibuli basobola kuba nga bazilaba.

Abo abakkiririza munsi eyayina emyaka emito bakkiriza nti Bayibuli eyogera ku nsolo zino ezedda, wabula tekozesa manya gaazo (Soma Dayinaso). Wabula ekozesa ekigambo eky'olwebbulaniya"Tanniyn"(Soma Taniini), ekivuunulwa mu ngeri ezenjawulo mu nnimi zaffe ng'oluzungu. Tanniyn erabika yali nsolo eyewalula wabula nga nnene okuzaama. Ensolo zinno zogerwaako emirundi nga amakumi asatu mu ndagaano enkadde era zasangibwanga kulukalu ne mu mazzi.

Ngogasseko okwogera ku nsolo zinno enene galikwoleka, Bayibuli eyogera ku nsolo ezimu mu ngeri abasomi bebitabo abakenkufu gyebalowooza okuba nga abawandiisi bali balowooza ku nsolo zino ezedda (Soma Dayinaso). Envubu egambibwa okuba ensolo eyamanyi okusinga ensolo endala zonna ezatondebwa Katonda, ennene ennyo ng'omukira gwayo gufananyizibwa omuti gw'omuvule(Yobbu 40:15). Abasomi bebitabo abakenkufu mu magezi bagezezako okufananya ensolo eyo eyogerwako mu Yobbu okuba Empologoma oba envubu. Abalala bagamba nti emplogoma n'envubu bilina obukira butono nga tebwenkana muti gwa Muvule. Wabulu ezimu ezedda zalinanga agakyira aganene okwenkana omuti gw'omuvule.

Kumpi buli mulembe gulina ebifananyi ebiragibwa ebyensolo ezewalula. Ebifananyi ebibumbibwa n'ebikolebwa ebiri mu mambuka g'America bifanana ebyo ebyogerwa ku nsolo ezedda zi Dayinaso. Ebifanaanyi ebiri ku njazi mu Maserengeta ga Amerika biriko abasajja abebagadde ebisolo byedda, era ekyewunyisa ebisolo ebimanyikiddwa. Ebifananyi ebisiige eby'abaruumi, ebibumbe bye Mayaani, n'ebiseenge bye Babilooni nabyo bujilira ku kwagala kw'omuntu kwalina, okuva mu bitundu ebyenjawulo, eri ebisolo bino ebyedda. Empandiika eyanamaddala ey'abawandiisi nga eya Marco Polo (Soma Mako Polo) mukitabo kye Milione II (Soma Miliyooni) kirimu ekintabuli kye engero z’ebisolo ebijudde eby'obugaga. Ng'ogase ku bujulizi obungyi ennyo obukwata ku nsi gyeyava n'ebyafaayo ebikwata ku nsolo zino ezedda nga zibeera n'abantu, waliwo obujulizi obulabibwako n'okukwatibwako, ng'ebigere by'ensolo zino wezalinnya wamu n'eby'abantu ebyasangibwa mu kifo ky'ekimu mu Mambuka g'Amerika namasekatti g'obugwanjuba bwa Asiya.

Ensolo ezedda mweziri mu Bayibuli? Ensonga enno tenaba kumalirizibwa. Kisinzira engeri gy'ovunulamu obukakafu obuliwo era gyolabamu ensi ekwetolodde. Bayibuli bwoba ogyivunuula nga bweri mu bigambo byayo, ensi ento gyogenda okuzuula, era ekilowoozo kyokuba nti ensolo ezedda n'abantu babeeranga wamu kisoboka okukkirizibwa. Wabula, oba nga ensolo zino ezedda zabeeranga wamu n'abantu, Kkiki ekyatuuka ku nsolo zino zi dayinaso? Newankubadde Bayibuli tekyogerako, ensolo zino zisobola okuba nga zaafa olunavanyuma lw'amataba olw'embeera y'ensi okuba nga yakyuuka mangu era olw'okuba nti zaali ziyiggibwa okumalibwaawo abantu abaliwo ebiseera ebyo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku Bisolo eby’edda? Ebisolo ebyedda mwebiri mu Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries