Ekibuuzo
Ebisolo byetulunda ewaka oba ebisolo byona bigenda mu Gulu?
Okuddamu
Bayibuli terina okusomesa kwankalakalira kwesomesa oba ebisolo birina Ememe oba binabeerayo mu Ggulu. Wabula , tusobola okukozesa enkola Bayibuli zetuwa okunyonyola ensonga eno. Bayibuli egamba nti omuntu (Oluberyeberye 2:7) era n’ebisolo (Oluberyeberye 1:30; 6:17; 7:15, 22), birina omukka ogw'obulamu; kitegeeza nti ensolo n'omuntu byona birina obulamu. Enjawulo wakati w'omuntu n'ensolo eri nti omuntu yatondebwa mu kifaananyi era mu ngeri ya Katonda (Oluberyeberye 1:26-27) okwawukana ku bisolo. Okutondebwa mu kifaananayi era mu ngeri ya Katonda kitegeza nti omuntu alinga Katonda, ngasobola okutegeera enti eby'omwoyo, ng’alina ebiriwoozo, okwagala, era alina ekitundu ku yye ekisigala nga kiramu bwaba nga afudde. Ebisolo bwebiba nga bilina emeeme, oba engeri yonna etalabika, erina okuba nga yanjawulo oba "mutiindo" gwayo nga si gwamamanyi. Enjawulo eyinza okuba etegeza nti emeeme z'ensolo tezisigala nga nnamu ensolo bwezifa.
Ensoga endala eyina okutunuulirwa eri nti, ebisolo biri kitundu ku kutonda. Katonda yatonda ebisolo n'agamba nalaba nti birungi. (Oluberyeberye 1:25). N'olwekyo tewali nsonga lwaki tewabeere nsolo mu nsi empya (Okubikkulirwa 21:1). Amazima wagya kubaayo ensolo mu bwakabaka obwekyaasa. (Isaaya 11:6; 65:25). Tekisoboka kumanywa oba mu nsolo zino munabaamu ebisolo by’omunju byetulina kunsi. Naye tumanyi nti Katonda mwenkanya era bwetunatuuka mu Ggulu, tujja kutegeera era tukkirize bulungi okusalawo kwa Katonda kwona ku nsonga eno.
English
Ebisolo byetulunda ewaka oba ebisolo byona bigenda mu Gulu?