Ekibuuzo
Ebirabo by’Omwoyo ebye byamagero webiri leero? Ebirabo by’omwoyo eby’ebyamagero ddala byakoma?
Okuddamu
Okusooka , kikulu okukitegeera nt ekibuuzo tekiri ku oba Katonda akyakola ebyamagero leero. Kiba kyabusiru era nga tekiva mu Bayibuli okugamba nti Katonda takyawonya bantu leero, takyayogera na bantu leero, era nti takyakola byamagero, bubonero , n’ebyweuunyisa leero. Ekibuuzo kiri nti oba ebirabo by’ebyamagero eby’omwoyo, ebyogerwako mu 1 Abakkolinso 12-14 bikyakola mu Kanisa leero. Kino si kibuuzo kyekimu ne, “ ddala Omwoyo mutukuvu asobola okuwa omuntu yenna ekirabo ky’Okukola ebyamagero. Ekibuuzo kiri inti ddala Omwoyo mutukuvu agaba ebirabo by’okukola ebyamagero leero. Okusingira ddala tukkiriza nti Omwoyo mutukuvu alina eddembe okugaba ebirabo nga bwaba ayagadde okusinziira ku kwagala Kwe. (1 Abakkolinso 12;7:11).
Mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume n’ebaluwa, ebyamagero ebisinga bikolebwa Batume naabo bebali baweereza nabo. Paulo awa ensonga lwaki: “Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.” (2 Abakkolinso 12:12). Singa buli mukkiriza yali awereddwa obusobozi okukola obubonero, ebyamagero, n’ebyewunyisa, obubonero n’ebyamagero tebyandibadde kabonero kalaga oba omuntu Mutume. Ebikolwa 2:22 etugamba nti Yesu “yakkirizibwa” olw’ebyamagero,ebyewunyisa, n’obubonero. Kyekimu n’Abatume nabo balabisibwa okuba abaweereza abatuufu okuva eri Katonda olw’ebyamagero byebakola okuva eri Katonda. Ebikolwa 14:3 enyonyola obubaka bwenjiri okunywezebwa olw’ebyamagero Paulo ne Banabasi byebakola.
Esuula 12-14 eza 1 Abakkolinso eyogera okusingira ddala ku nsonga y’ebirabo by’Omwoyo. Okusinzira ku suula ezo, “Abakristaayo” baweebwa ebirabo okukola ebyamagero (12:8-10, 28-30). Tetubulirwa mirundi kino gyekyalabikako. Okusinziira ku byetuyiga okuva ku byawandiikibwa wagulu, nti Abatume batekebwako akabonero okusobola okulaga oba batuufu, kirabika nga okuwa abantu ba bulijjo obusobozi okukola ebyamagero kyali kirala, era telyali teeka nti Abantu ba bulijjo balina okubeera n’obusobozi okukola ebyamagero. Ng’ogyeko Abatume nebebali bawereza nabo, Endagaano telina weragabantu ba bulijjo nga bakozesa ebirabo by’Omwoyo eby’ebyamagero.
Era kikulu okutegeera nto ekanisa eyasooka teyalina Bayibuli nzijuvu nga bwetulina leero. (2 Timoseewo 3:16-17) N’Olwekyo, ebirabo by’obwanabbi, okumanya, amagezi nebirala byali byakuyamba Kanisa eyasooka okumanya biki Katonda byeyali abagaaza okukola. Ebirabo by’okulagula oba oby’obwanabbi okusobola okwogera mazima amaggya n’okubikkulirwa okuva eri Katonda. Kakano, olw’okuba nga okubbikulirwa kwa Katonda kujudde mu Bayibuli, “ebirabo ebibikula era ebiraga obubonero tebikyetaagisa, oba tebikyetaagisa mu kigera kyekimu nga byebyali mu Ndagaano empya.
Katonda awonya abantu buli lunaku. Katonda ayogera, oba mu ddoboozi eliwulirwa,mu biroowo byaffe,oba mu ngeri gyetuwulira n’ebyo byetulaba. Katonda akyakola ebyamagero ebyewunyisa, obubonero era ebiseera ebimu abikola okuyita mu Mukristaayo. Wabula, ebintu tekitegeeza nti by’ebirabo by’Omwoyo eby’ebyamagero. Ensonga esinga okuba enkulu lwaki ebyamagero byali bikolebwa yali kulaga bukakafu nti enjiri yali ntuufu era nti Abatume bali batumiddwa Katonda. Bayibuli teyogera butereevu oba ebirabo by’okukola ebyamagero byaggwaawo oba byalekeraawo, wabula esima omusinji ogula lwaki bisobola okuba nga tebikolera mu kigera kyekimu nga byali bikola mu Ndagaano empya.
English
Ebirabo by’Omwoyo ebye byamagero webiri leero? Ebirabo by’omwoyo eby’ebyamagero ddala byakoma?