Ekibuuzo
Lwaki Katonda akkiriza ebintu ebibi okutuuka ku bantu abalungi?
Okuddamu
Tubeera munsi erimu obulumi n’okubonaboona. Tewali muntu atakosebwa olw’embera embi ezituukawo mu bulamu, era ekibuuzo “Lwaki ebintu ebibi butuuka ku Bantu abalungi?” kyekimu ku bibuuzo ebikyasinze okuba ebizibu mu nsonga zonna ezikwata ku Katonda. Katonda yemalirira era asalawo ku lulwe, n’olwekyo, buli ekitukawo kiba kikiriziddwa Katonda, oba kiba kyaletebwa Katonda okutukawo. Okusokera ddala tulina okukkiriza nti Abantu , abataberera mirembe gyonna, abakoma, abatamanyi bintu byonna, tebasobola kutegeerera ddala nsonga lwaki Katonda akola nga bwakola, era tebasobola kutegera nkola ze.
Ekitabo kya Yobu kikwata ku nsonga lwaki Katonda akkiriza ebintu ebibi okutuuka ku bantu abalungi. Yobu Musajja mutukirivu(Yobu 1:1), kyoka yaboonaboona mu ngeri etakkirizika. Katonda yakkiriza Sitaani okukola buli kintu kyonna kyayagala eri Yobu okugyako okumutta, era Sitani nakola Yobu obubi bunji nnyo. Yobu yaddamu kki? “Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.”(Yobu 13;15). , “…era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.”(Yobu 1:21).Yobu teyategeera lwaki Katonda yakkiriza Yobu okuyita mw’ebyo byona byeyayitamu. Wabula yali amanyi nti Katonda mulungi era n’olwekyo yeyongera okumuteekaamu obwesige. Nafe mungeri yemu, bye bigambo byetulina okuddamu ng’embeera si nnungi.
Lwaki ebintu ebibi bituuka ku bantu abalungi? Olw’okubanga kizibu okukkiriza, tulina okujjukira nti tewali bantu “balungi” mu mazima g’ekigambo. Fenna twalwazibwa era twadugazibwa ekibi (Omubulizi 7:20; Abaruumi 3:23; 1 John 1:8) Nga Yesu bweyagamba, “Tewali mulungi—okugyako Katonda yekka” (Lukka 18:19). Fenna tukosebwa olw’ekibi mungeri emu oba endala. Ebiseera ebimu bibi bywaffe byebitukosa; ebiseera ebimu bibi byabantu abalala. Tubeera mu sni eyagwa olw’ekibi, era tukosebwa olwebyo ebyatukawo omuntu bweyayonoona mu nimiro ya Eden. Ekimu ku byatukawo ku luberyberye ng’omuntu ayonoonye bwebutali bwenkanya, n’okuboonaboona okungi.
Nga tulowooza lwaki Katonda akkiriza ebinti ebibi okutuukawo ku bantu abalungi, kulungi okutunuulira ebintu ebina wamanga ebikwata ku bintu ebibi ebitukawo.
1) Ebintu ebibi bitukwao eri abantu abalungi munsi eno, wabula ensi eno si yenkomerero. Abakristaayo bamanyi nti waliwo obulamu obutagwawo. “Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo.
Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe;
ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.”
2) Ebintu ebibi bituuka eri abantu abalungi , wabula Katonda akozesa abintu olw’ebigendererwa ebirungi ebiberera. “Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.”(Abaruumi 8:28). Jozefu eyali talina musango gwonna, bweyamala okuyita mu bizibu byonna, yasobola okutegeera entekateka era n’ebigendererwa bya Katonda mu buli kimu kyonna kyakola.(Laba Oluberyeberye 50:19-21).
3) Ebintu ebibi bituuka eri abantu abalungi,wabula ebintu ebibi bituuka ku bantu abalungi okubategeka olw’obuwereeza obunene. “Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo.
Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe;
ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.”(2 Abakkolinso 1:3-5). Abo abalina enkovu ezava mu ntalo basobola okuyamba abo abayita mu ntalo.
4) Ebintu ebibi bituuka eri abantu abalungi, era ebintu ebikyasinze obubi bituuka ku bantu abakyasinze obulungi. Yesu yeyali omuntu akyasinze okubeera omutuukirivu, kyoka yaboonaboona mungeri gyetutasobola na kulowooza. Tulinya mu bigerebye. “Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.
Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye:
ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke:
bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga:” (1 Petero 2:20-23). Yesu amanyi obulumi bwonna bwetuyitamu.
Abaruumi 5:8 egamba, “Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira. Newankubadde abantu bonoonyi, Katonda akyatwagala. Yesu atwagala nyo okutuuka ku kigera ekyokutwala ekibonerezo eky’ebibi byaffe( Abaruumi 6:23). Bwetutwala Yesu okubeera omulokozi waffe, (Yokaana 3:16, Abaruumi 10:9), tusonyiyibwa ebibi byaffe era tufuna ekisuubizo eky’obulamu obutaggwawo mu Ggulu.(Abaruumi 8:1).
Katonda akkiriza ebintu ebii okutukawo olw’ensonga. Oba tutegeera ensonga oba tetugyitegeera, tulina okujjukira nti Katonda Mulungi, wamazima, atwagala,era wa kisa. (Zabbuli 135:3). Ebiseera ebisinga ebintu ebibi bituuka gyetuli nga nokubitegeera tetubitegeera. Tulina okuteekamu Katonda obwesige mu kifo kyokubuusabuusa obulungi bwa Katonda.(Engero 3:5-6). Tutambula lwakukkiriza so si lwakulaba
English
Lwaki Katonda akkiriza ebintu ebibi okutuuka ku bantu abalungi?