settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera ki ku bifaananyi eby’obuseegu?

Okuddamu


Ebifaananyi eby’obuseegu n’ebiringa ebyo byebikyasinze okukeberebwa ku mutimbagano.Ebifaananyi n’obutambi bw’obuseegu bweyongedde nnyo ennaku zino. Osanga okusinga ebintu ebirala byonna , Sitaani awangudde nnyo mukyuusa n’okwonoona ebintu by’okwegatta. Akutte ekirungi era ekituufu (okwagala okwegatta wakati w’omwami n’omukyala abafumbo) nakukuwanyisa n’okwaaka, ebifaananyi n’obutambi bw’obuseegu, obwenzi, okwata omuntu olwe mpaka, n’ebisiyaga. Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ddala lisooka ku kaserengeto k’okweyongerayongera mu bubi n’obuseegu. (Abaruumi 6:19). Engeri okulaba ebifaananyi by’obuseegu gyekukwata omuntu emanyiddwa. Ng’enjaga, omuntu alina okukozesa enyingi oba ey’amanyi okusingako okusobola “okukubibwa” mu ngeri yemu, ebifaananyi by’obuseegu biwalula omuntu okumutwaala ebuziba mu buseegu obusingawo n’okwagala okutali kwa bwakatonda.

Ekibi kyawuddwamu mu ngeri satu nga mwemuli, okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, (1 Yokaana 2:16). Ebifaananyi by’obuseegu bituletera okwegomba omubiri, wamu n’okwegomba kw’amaaso. Ebifaananyi by’obuseegu amazima tebirina kuba kimu ku bintu byetulina okulowoozako, okusinziira ku Bafirippi 4:8. Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kukwaata ( 1 Abakkolinso 6:12; 2 Petero 2:19) era kwonoona (Engero 6:25-28; Ezekyeri 20:30; Abaefeeso 4:19). Okwakira ku bantu abalala mu bwongo bwaffe, nga ky’ekigendererwa ky’ebifaananyi n’obutambi bw’obuseegu, kivve eri Katonda (Matayo 5:28). Omuntu bweyeyongera okwenyigira mu kulaba ebifaananyi n’obutambi bw’obuseegu neyeyongera mu kibi nga tanonyezza buyambi, nga tagezezaako kukomya muze ogwo obwa obutawulira kwagala kuguleka kiraga nti omuntu asobola okuba nga teyalokoka (1 Abakkolinso 6:9-12).

Eri abo abakyenyigira mu kulaba ebifaananyi by’obuseegu, Katonda asobola era agya kubawa obuwanguzi. Wenyigira mu kulaba ebifaananyi by’obuseegu wabula nga wetaaga okuteebwa mu kyo? Bibino byolina okugeberera okufuna obuwanguzi.

1) Yatula ebibi byo eri Katonda (1 Yokaana 1:9).

2) Saba Katonda okunaaza, okuza obuggya, era okukyuusa endowooza yo (Abaruumi 12:2)

3) Saba Katonda okujuza endowooza yo n’ebintu eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa. (Abafiripi 4:8).

4) Yiga okufuga omubiri gwo mu butuukirivu (1 Abasessaloniika 4:3-4).

5) Manya amakulu gali mu kwegatta era wesigame ku mwagalwawo okutuukiriza obwetaavu obwo ( 1 Abakkolinso 7:1-5).

6) Kimanye nti bwotambulira mu mwoyo, togenda kutuukiriza kwegomba kw’omubiri (Abaggalatiya 5:16)

7) Twala eddala okukendeeza emikisa gyolina okulaba ebifaananyi by’obuseegu. Teeka ebintu ebikugira kompyuta yo okulaga ebifaananyi by’obuseegu, kendeeza okula TV ne zi vidiyo, era ofune omukkiriza omulala anasaba wamu naawe era anasobola okusaba embalirira y’obulamu bwo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera ki ku bifaananyi eby’obuseegu?
© Copyright Got Questions Ministries