settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Yesu yagenda mu geyeena wakati ng’afudde era nga tanazuukira?

Okuddamu


Waliwo ebintu bingi ebibuzabuza mu kibuuzo kino. Ekibuuzo kino kiva mu “nzikiriza y’abatume”(soma apostle’a creed) egamba nti “… n'akka e Magombe.” Waliwo era ebyawandiikibwa ebirala ng’okusinziira ku ngeri gyebabivuunula, biraga nga Yesu yagenda emagombe. Mu kusoma ku nsong’eno kilungi okutegera kki Bayibuli kyetegeeza bweyogera ku kifo kya bafu.

Mu byawandiikibwa by’abebbulaniya, ekigambo ekikozesebwa okunyonyola ekifo ky’abafu emagombe (soma Sheol), Kitegeeza “kifo ky’abafu” oba “ekifo ky’emyoyo egyabo abawumula.” Ebyawandiikibwa ebirala mu ndagaano mpya biraga nti amagombe kifo ekitali kyaluberera emyoyo wegyikumirwa nga gyirindirira okuzukira n’omusango. Okubikulirwa 20:11-15 kutuwa enjawulo wakati wa amagombe n’enyanja y’omuliro. Enyanja y’omuliro kifo kyalubeerera era kifo kyamusango eri abo ababula. Amagombe, awo kiba kifo ekitali kyaluberera. Abantu bangi bamanyi enyanja y’omuliro n’amagombe okuba geyeena era kino kireteera obuzabuuzibwa. Yesu teyageenda mu kifo kyakubonabona ngafudde, wabula yagenda mu magombe.

Amagombe kifo ekyawulibwa emilundi ebiri—ekifo ekyomukisa n’ekifo ekyomusango. (Matayo 11:23; 16:18; Lukka 10;15; 16:23; Ebikolwa 2:27-31). Ebifo abaafa nga balokose wamu n’abaafa nga tebalokose byonna biyitibwa “magombe” mu Bayibuli. Ekifo ky’abaafa nga balokose era kiyitibwa “Kifuba kya Yibulayimu oba ku ludda lwa Yibulayimu mu Lukka 16:22 era kiyitibwa “Lusuku lwa Katonda” mu Lukka 23:43. Ekifo kyabo abaafa nga tebalokose kiyitibwa “Geyena oba amagombe mu Lukka 16:23. Abaafa nga balokose n’abaafa nga tebalokose bawuliddwa n’olukonko oluwanvu (Lukka 16:26). Yesu bweyafa , yagenda ku ludda olw’omukisa olw’amagombe, era eyo yagyayo abakkiriza bonna nabatwala mu Ggulu.(Abaefeso 4:8-10). Oludda olw’omusango olw’amagombe lukyaliyo era telukyukanga. Bonna abafa nga tebakkiriza Yesu bagenda eyo nga balindilira okusalirwa omusango. Ddala Yesu yagenda emagombe?, Yye! Okusinzira ku Abaefeeso 4;8-10 ne 1Petero 3:18-20.

Okubuzabuzibwa okumu kuva mu ngeri byawandikibwa nga Zabuli 16:10-11 gyebyavuunulwa mu Zinvunula ya Kabaka Yakobo (King James Version). "Onondaganga ekkubo ery'obulamu: Gy'oli waliwo essanyu erituukirira; Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe”. “Geyeena” si yenzivunula entufu ey’olunyiriri olwo. Enzuvunuula entuufu elina okuba “mu ntaana” oba “mu magombe”. Yesu yagamba omubbi eyakomererwa wamu naye nti, “ Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43); Teyamugamba nti “Tusisinkane mu geeyena.” Ekyembi kiri nti, mu nzivuunula nyinji eza Bayibuli, abavuunula ebigambo geyeena, n’amagombe tebagoberera nsonga nga bavunuula okuva mu lwebbulaniya oba mu Luyonaani.

Abamu balowooza nti Yesu yagenda mu geyeena oba oludda lw’amagombe olw’okuboonaboona okusobola okwongera okubonyabonyezebwa olw’ebibi byeffe. Endowooza eno si ya Bayibuli.

Okufa kwa Yesu ku musalaba kwali kumala okutununula. Okuyiwa omusaayi gwe kumala okutunaazako ebibi byaffe byonna. (1Yokaana 1:7-9). Ng’ali ku musalaba , yetikka obuzito bwebibi by’abantu bonna. Yafuuka ekibi ku lwaffe. “ Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.”(2 Abakkolinso 5:21). Okutekebwako ekibi oba okufuulibwa ekibi kuno kutuyamba okutegeera ensonga lwaki Yesu yali mu nimiro y’Egesemeni nga kute ekipompe eky’ebibi byaffe ekyamuyibwako ku musalaba.

Nga Yesu anateera okufa, Yagamba “Kiwedde”(Yokaana 19:30). Okubonaboona kwe mu kifo kyaffe kwali kumala. Omwoyo gwe gwagenda mu mugombe (ekifo abaafa webabeera). Yesu teyagenda mu geyeena oba mu kifo awali okubonaabona mu Magombe. Yagenda ku ludda lwa Yibulayimu oba ku ludda lw’amagombe olulina omukisa. Okubonaabona kwa Yesu kwakoma ng’afudde. Omutango gw’ebibi byaffe gwali guwedde okusasulwa. Yali alindirila kuzuukira okw’omubiri wamu n’okuda mu kitiibwa ng’alinye mu Gulu. Ddala Yesu yagenda mu geyeena? Nedda!. Ddala Yesu yagenda emagombe? Yye!

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Yesu yagenda mu geyeena wakati ng’afudde era nga tanazuukira?
© Copyright Got Questions Ministries